|
| 1 |
|
| Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'ayimusa amaaso eri eggulu, n'agamba nti: “Kitange, ekiseera kituuse. Gulumiza Omwana wo, Omwana wo alyoke akugulumize, |
|
| 2 |
|
| kubanga wamuwa obuyinza ku bantu bonna, alyoke abawe obulamu obutaggwaawo. |
|
| 3 |
|
| Obulamu obutaggwaawo bwe buno, abantu bonna okukumanya ggwe Katonda omu wekka ow'amazima, n'okumanya Yesu Kristo, gwe watuma. |
|
| 4 |
|
| Nze nkugulumizza ku nsi. Mmalirizza omulimu gwe wampa okukola. |
|
| 5 |
|
| Kitange, kaakano mpa ekitiibwa mu maaso go, kye nalina ng'ensi tennabaawo. |
|
| 6 |
|
| “Nkumanyisizza mu bantu be wampa ng'obaggya mu nsi. Baali babo, n'obampa. Bakutte ekigambo kyo. |
|
| 7 |
|
| Kaakano bamanyi nga byonna bye wampa byava gy'oli, |
|
| 8 |
|
| kubanga ebigambo bye wampa mbibawadde, ne babikkiriza, ne bamanyira ddala nga nava gy'oli, ne bakkiriza nga ggwe wantuma. |
|
| 9 |
|
| “Nze mbasabira abo. Sisabira nsi, wabula abo be wampa, kubanga babo. |
|
| 10 |
|
| Byonna bye nnina bibyo, n'ebibyo byange, era ngulumizibwa mu bo. |
|
| 11 |
|
| Kaakano nzija gy'oli. Sikyali mu nsi, naye bo bali mu nsi. Kitange omutuukirivu, bakuumenga mu buyinza bwo bwe wampa, babeerenga bumu nga ffe. |
|
| 12 |
|
| “Bwe nali nabo, nabakuuma mu buyinza bwo bwe wampa, ne kutabula n'omu ku bo, wabula oyo eyali ateekwa okubula, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire. |
|
| 13 |
|
| Naye kaakano nzija gy'oli, era ebyo mbyogerera mu nsi, essanyu lyange liryoke libajjule. |
|
| 14 |
|
| “Nabawa ekigambo kyo, ensi n'ebakyawa, kubanga si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi. |
|
| 15 |
|
| Sikusaba kubaggya mu nsi, wabula bakuumenga, obawonye Omubi. |
|
| 16 |
|
| Si ba nsi nga nze bwe siri wa nsi. |
|
| 17 |
|
| Batukuze mu mazima. Ekigambo kyo ge mazima. |
|
| 18 |
|
| Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe mbatuma mu nsi. |
|
| 19 |
|
| Nze nneewaayo gy'oli ku lwabwe, nabo bennyini balyoke beeweereyo ddala gy'oli. |
|
| 20 |
|
| “Sisabira bano bokka, naye n'abo abanzikiriza olw'obubaka bwa bano. |
|
| 21 |
|
| Bonna babeerenga bumu. Kitange, nga ggwe bw'oli mu nze, nange bwe ndi mu ggwe, nabo babeerenga mu ffe, ensi eryoke ekkirize nga ggwe wantuma. |
|
| 22 |
|
| Era ekitiibwa kye wampa nkibawadde, balyoke babeerenga bumu, nga ffe bwe tuli obumu, |
|
| 23 |
|
| nze mu bo, naawe mu nze, balyoke babeerere ddala bumu, ensi etegeere nga ggwe wantuma, era ng'obaagala nga bw'onjagala. |
|
| 24 |
|
| “Kitange, be wampa, njagala we ndi, nabo we baba babeeranga, balabe ekitiibwa kyange kye wampa. Wanjagala ng'ensi tennatondebwa. |
|
| 25 |
|
| Kitange omutuukirivu, ensi teyakumanya, naye nze nkumanyi, na bano bamanyi nga ggwe wantuma. |
|
| 26 |
|
| Era nabamanyisa erinnya lyo, era nja kwongera okulimanyisa, okwagala kwe wanjagala, kubeere mu bo, nange mbeere mu bo.” |
|
|
|
|