|
| 1 |
|
| Yesu bwe yamala okwogera ebyo; n'ayimusa amaaso ge mu ggulu n'agamba nti, “Kitange, ekiseera kituuse; gulumiza Omwana wo, Omwana wo akugulumize, |
|
| 2 |
|
| nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, era bonna be wamuwa, abawe obulamu obutaggwaawo. |
|
| 3 |
|
| Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow'amazima, n'oyo gwe watuma, Yesu Kristo. |
|
| 4 |
|
| Nze nkugulumizizza ku nsi kubanga omulimu gwe wampa okukola ngukomekkerezza. |
|
| 5 |
|
| Ai Kitange, ne kaakano ngulumiza ggwe wamu naawe mu kitiibwa kiri kye nnali nakyo awamu naawe ng'ensi tennabaawo. |
|
| 6 |
|
| Njolesezza erinnya lyo mu bantu be wampa okubaggya mu nsi: baali babo, n'obampa nze; nabo bakutte ekigambo kyo. |
|
| 7 |
|
| Kaakano bategedde nga byonna bye wampa biva mu ggwe, |
|
| 8 |
|
| kubanga ebigambo bye wampa mbibawadde; ne babikkiriza, ne bategeera mazima nga nnava gy'oli, ne bakkiriza nga ggwe wantuma. |
|
| 9 |
|
| Nze mbasabira abo; sisabira nsi, wabula abo be wampa; kubanga babo; |
|
| 10 |
|
| era ebyange byonna bibyo, n'ebibyo byange: nange ngulumizibwa mu bo. |
|
| 11 |
|
| Siri mu nsi nate, naye bano bali mu nsi, nange njija gy'oli. Kitange Omutukuvu, obakuumenga mu linnya lyo be wampa, babeerenga bumu, nga ffe. |
|
| 12 |
|
| Bwe nnali nabo be wampa nnabakuumanga mu linnya lyo; era ne mbazibira, tekubulanga muntu ku bo, wabula omwana w'okubula; ebyawandiikibwa bituukirire. |
|
| 13 |
|
| Naye kaakano njija gy'oli; na bino mbyogera mu nsi babe n'essanyu lyange nga lituukiridde mu bo. |
|
| 14 |
|
| Mbawadde ekigambo kyo; era ensi yabakyawa, kubanga si ba nsi nga nze bwe siri wa nsi. |
|
| 15 |
|
| Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakuumenga mu bubi. |
|
| 16 |
|
| Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi. |
|
| 17 |
|
| Obatukuze mu mazima: ekigambo kyo ge mazima, |
|
| 18 |
|
| Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe nnabatuma mu nsi. |
|
| 19 |
|
| Era nze nneetukuza ku bwabwe, nabo bennyini batukuzibwe mu mazima. |
|
| 20 |
|
| So sibasabira bano bokka, naye n'abo abanzikiriza olw'ekigambo kyabwe; |
|
| 21 |
|
| bonna babeerenga bumu; nga ggwe, Kitange, bw'oli mu nze, nange mu ggwe, era nabo babeerenga mu ffe: ensi ekkirize nga ggwe wantuma. |
|
| 22 |
|
| Nange ekitiibwa kye wampa nkibawadde; babeerenga bumu, nga ffe bwe tuli obumu; |
|
| 23 |
|
| nze mu bo, naawe mu nze, batuukiririre okuba obumu; ensi etegeerenga nga ggwe wantuma, n'obaagala bo, nga bwe wanjagala nze. |
|
| 24 |
|
| Kitange, be wampa, njagala, we ndi nze, nabo we baba babeeranga nange; balabe ekitiibwa kyange kye wampa: kubanga wanjagala nze ng'ensi tennatondebwa. |
|
| 25 |
|
| Kitange Omutuukirivu, ensi teyakutegeera, naye nze nnakutegeera; na bano baategeera nga ggwe wantuma; |
|
| 26 |
|
| era nnabategeeza erinnya lyo era nditegeeza; okwagala kwe wanjagala kubeerenga mu bo, nange mu bo.” |
|
|
|
|