|
| 1 |
|
| Olunaku olw'okusatu, ne waba embaga ey'obugole mu Kaana eky'e Ggaliraaya; ne nnyina Yesu yaliwo; |
|
| 2 |
|
| Yesu ne bamuyita n'abayigirizwa be ku mbaga. |
|
| 3 |
|
| Naye omwenge bwe gwaggwaawo, nnyina Yesu n'amugamba nti Tebalina nvinnyo. |
|
| 4 |
|
| Yesu n'amugamba nti Omukyala, Onvunaana ki? ekiseera kyange tekinnaba kutuuka. |
|
| 5 |
|
| Nnyina n'agamba abaweereza nti Ky'anaabagamba kyonna, kye mukola. |
|
| 6 |
|
| Waaliwo amasuwa ag'amayinja mukaaga, agaateekebwawo olw'empisa ey'okutukiiza kw'Abayudaaya, buli limu nga livaamu ensuwa nga bbiri oba ssatu. |
|
| 7 |
|
| Yesu n'abagamba nti Amasuwa mugajjuze amazzi. Ne bagajjuza okutuusa ku migo. |
|
| 8 |
|
| N'abagamba nti Musene kaakano, mutwalire omugabuzi w'embaga. Ne bamutwalira. |
|
| 9 |
|
| Awo omugabuzi w'embaga bwe yalega ku mazzi agafuuse envinnyo, n'atamanya gy'evudde (naye abaweereza abaasena amazzi baamanya), omugabuzi w'embaga n'ayita awasizza omugole, |
|
| 10 |
|
| n'amugamba nti Buli muntu asooka kussaawo nvinnyo nnungi; naye abantu bwe bakkuta, n'alyoka assaawo embi: naye ggwe oterese ennungi okutuusa kaakano. |
|
| 11 |
|
| Kano ke kabonero Yesu ke yasookerako okukola mu Kaana eky'e Ggaliraaya, n'alabisa ekitiibwa kye; abayigirizwa be ne bamukkiriza. |
|
| 12 |
|
| Awo oluvannyuma lw'ekyo n'aserengeta e Kaperunawumu, ye ne nnyina ne baganda be n'abayigirizwa be: ne bamalayo ennaku si nnyingi. |
|
| 13 |
|
| Okuyitako okw'Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka, Yesu n'ayambuka e Yelusaalemi. |
|
| 14 |
|
| N'asanga mu yeekaalu abatunda ente n'endiga n'amayiba, n'abawaanyisa effeeza nga batudde: |
|
| 15 |
|
| n'afuula emigwa olukoba, n'abagoba bonna mu yeekaalu, n'endiga n'ente; n'ayiwa effeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'avuunika embaawo zaabwe; |
|
| 16 |
|
| n'agamba abaali batunda amayiba nti Muggyeewo ebintu bino: muleme kufuula nnyumba ya Kitange nnyumba ya buguzi. |
|
| 17 |
|
| Abayigirizwa be ne bajjukira nga kyawandiikibwa nti Obuggya bw'ennyumba yo bulindya. |
|
| 18 |
|
| Awo Abayudaaya ne baddamu ne bamugamba nti Kabonero ki k'otwolesa akakukoza bino? |
|
| 19 |
|
| Yesu n'addamu n'abagamba nti Mumenye yeekaalu eno, nange ndigizimbira ennaku ssatu. |
|
| 20 |
|
| Awo Abayudaaya ne boogera nti Yeekaalu eno yazimbirwa emyaka amakumi ana mu mukaaga, naawe oligizimbira ennaku ssatu? |
|
| 21 |
|
| Naye yayogera ku yeekaalu ya mubiri gwe. |
|
| 22 |
|
| Awo bwe yazuukizibwa mu bafu, abayigirizwa be ne bajjukira nti yayogera ekyo; ne bakkiriza ebyawandiikibwa, n'ekigambo Yesu kye yayogera. |
|
| 23 |
|
| Awo bwe yali mu Yerusaalemi ku Kuyitako, ku mbaga, bangi ne bakkiriza erinnya lye, bwe baalaba obubonero bwe bwe yakola. |
|
| 24 |
|
| Naye Yesu n'atabeeyabizaamu kubanga yategeera bonna, |
|
| 25 |
|
| era teyeetaaga muntu yenna okutegeeza eby'abantu; kubanga ye yennyini yategeera ebyali mu bantu. |
|
|
|
|