|
| 1 |
|
| Ku lunaku olwokusatu, waaliwo embaga y'obugole mu Kana eky'e Galilaaya; nnyina Yezu yaliyo; |
|
| 2 |
|
| Yezu naye baamuyita ku mbaga wamu n'abayigirizwa be. |
|
| 3 |
|
| Evviini bwe yaggwaawo, nnyina Yezu n'amugamba nti: “Evviini tebakyalina.” |
|
| 4 |
|
| Yezu n'amugamba nti: “Mukazi, ogubadde nze naawe! Akadde kange tekannatuuka.” |
|
| 5 |
|
| Nnyina n'agamba abaweereza nti: “Kyonna ky'anaabagamba, mukikole.” |
|
| 6 |
|
| Awo waaliwo amatogero ag'amayinja mukaaga nga gateekeddwawo olw'emikolo gy'Abayudaaya egy'okwetukuza; buli ttogero nga liweza ebita bibiri oba bisatu. |
|
| 7 |
|
| Yezu n'abagamba nti: “Amatogero mugajjuze amazzi.” Ne bagajjuza okutuuka ku mugo. |
|
| 8 |
|
| N'abagamba nti: “Kaakano musene, mutwalire katikkiro w'embaga.” Ne batwala. |
|
| 9 |
|
| Naye katikkiro w'embaga bwe yalegako ku mazzi agafuuse evviini, gy'ataamanya na gy'evudde, sso abaweereza abaasena amazzi bo nga bamanyi, n'ayita awasizza, |
|
| 10 |
|
| n'amugamba nti: “Omuntu yenna asooka kugabula vviini nnungi; naye abantu bwe bamala okutamiira n'aleeta esingako obubi. Sso ggwe waleseeyo evviini ennungi okutuusa kati.” |
|
| 11 |
|
| Mu bubonero bwa Yezu ako ke kabereberye; yakakolera mu Kana eky'e Galilaaya, n'ayolesa ekitiibwa kye, n'abayigirizwa be ne bamukkiriza. |
|
| 12 |
|
| Oluvannyuma, Yezu n'aserengeta e Kafarunawumu wamu ne nnyina, baganda be n'abayigirizwa be; ne bamalayo ennaku si nnyingi. |
|
| 13 |
|
| Pasika y'Abayudaaya yali kumpi; Yezu n'ayambuka e Yeruzaalemu. |
|
| 14 |
|
| Mu Kiggwa n'asangamu abatunda ente, endiga, n'enjiibwa, era n'abawaanyisa ensimbi nga batudde. |
|
| 15 |
|
| N'akwata obuguwa n'abukolamu akaswanyu, bonna n'abagoba mu Kiggwa, era n'endiga n'ente; n'ensimbi z'abawaanyisa n'aziyiwa, n'emmeeza zaabwe n'azivuunika. |
|
| 16 |
|
| N'agamba abaali batunda enjiibwa nti: “Bino mubiggye wano; ennyumba ya Kitange muleke kugifuula katale.” |
|
| 17 |
|
| Awo abayigirizwa be ne bajjukira nti kyawandiikibwa nti: “Okutakabanira ennyumba yo kwandyamu omwoyo.” |
|
| 18 |
|
| Awo Abayudaaya ne baanukula ne bamugamba nti: “Kabonero ki k'otuwa akakukoza bino?” |
|
| 19 |
|
| Yezu n'ayanukula nti: “Mumenye Ekiggwa kino, mu nnaku ssatu nzija kukisitula.” |
|
| 20 |
|
| Abayudaaya ne bagamba nti: “Okuzimba Ekiggwa kino kwatwala emyaka ana mu mukaaga. Ggwe n'okisitula mu nnaku essatu?” |
|
| 21 |
|
| Ye sso yali ayogera ku Kiggwa eky'omubiri gwe. |
|
| 22 |
|
| Bwe yamala okuzuukira mu bafu, abayigirizwa be ne bajjukira nga kino yakyogera; ne bakkiriza ebyawandiikibwa n'ekigambo Yezu kye yagamba. |
|
| 23 |
|
| Bwe yali e Yeruzaalemu ku mbaga enkulu eya Pasika, bangi ne bakkiriza mu linnya lye bwe baalaba obubonero bwe yakola. |
|
| 24 |
|
| Naye Yezu ye n'atabeemaliza, kubanga bonna yali abamanyi; ate kubanga yali teyeetaaga n'omu kuwa bujulizi ku muntu, |
|
| 25 |
|
| kubanga ye yali amanyi ekiri mu muntu. |
|
|
|
|