Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Mu makya g'olunaku olusooka mu wiiki, Mariya Magudaleena n'alaga ku ntaana, ng'obudde tebunnalaba bulungi, n'alaba ejjinja nga liggyiddwa ku mulyango, gw'entaana. |
| 2 |
| N'olwekyo n'adduka, n'agenda eri Simooni Peetero, n'eri omuyigirizwa oli omulala, Yesu gwe yayagalanga, n'abagamba nti: “Mukama waffe bamuggyeemu mu ntaana, era tetumanyi gye bamutadde!” |
| 3 |
| Awo Peetero n'omuyigirizwa oli omulala ne bafuluma ne balaga ku ntaana. |
| 4 |
| Bombi baagenda badduka nga bali wamu, wabula omuyigirizwa oli omulala n'asinga Peetero okudduka, n'amusooka ku ntaana. |
| 5 |
| N'akutama, n'alaba engoye enjeru, nga ziteekeddwa awo, kyokka n'atayingira. |
| 6 |
| Olwo ne Simooni Peetero n'atuuka ng'amugoberera. N'ayingira mu ntaana, n'alaba engoye enjeru, nga ziteekeddwa awo. |
| 7 |
| N'alaba n'ekitambaala ekyali ku mutwe gwa Yesu. Kyali tekiteekeddwa wamu na ngoye, wabula kyali kizingiddwa, era nga kiteekeddwa waakyo. |
| 8 |
| Olwo omuyigirizwa oli eyasooka okutuuka ku ntaana, naye n'ayingira. N'alaba, era n'akkiriza. |
| 9 |
| Ddala baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti: Yesu ateekwa okuzuukira. |
| 10 |
| Awo abayigirizwa ne baddayo ewaabwe. |
| 11 |
| Mariya Magudaleena yali ayimiridde wabweru w'entaana, ng'akaaba. Yali akyakaaba, n'akutama n'alingiza mu ntaana, |
| 12 |
| n'alaba bamalayika babiri, nga bali mu ngoye njeru, nga batudde, omu emitwetwe, n'omulala emirannamiro w'ekifo, omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa. |
| 13 |
| Ne bamubuuza nti: “Owange omukyala, okaabira ki?” Ye n'abaddamu nti: “Mukama wange bamuggyeemu, era simanyi gye bamutadde!” |
| 14 |
| Bwe yamala okwogera ebyo, n'akyuka n'atunula emabega, n'alaba Yesu ng'ayimiridde awo, kyokka n'atamanya nti ye Yesu. |
| 15 |
| Yesu n'amubuuza nti: “Owange omukyala, okaabira ki? Onoonya ani?” Mariya n'alowooza nti omuntu oyo, ye mukuumi w'ennimiro, era n'amugamba nti: “Ssebo, oba nga ggwe wamuggyeemu, mbuulira gye wamutadde, ŋŋende mmuggyeyo.” |
| 16 |
| Yesu n'amugamba nti: “Mariya!” Mariya n'akyukira Yesu, n'amugamba mu Lwebureeyi nti: “Rabbooni!” (ekitegeeza nti: “Omuyigiriza”). |
| 17 |
| Yesu n'amugamba nti: “Tonneekwatako, kubanga sinnalinnya mu ggulu eri Kitange. Naye genda eri baganda bange, obategeeze nti: ‘Nninnya mu ggulu eri Kitange era Kitammwe, eri Katonda wange era Katonda wammwe.’ ” |
| 18 |
| Mariya Magudaleena n'agenda, n'abuulira abayigirizwa nti alabye Mukama, era n'abategeeza Mukama by'amugambye. |
| 19 |
| Ku lunaku olwo olusooka mu wiiki, obudde bwe bwali buwungedde, abayigirizwa we baali, enzigi zaali nsibe, olw'okutya Abayudaaya. Yesu n'ajja, n'ayimirira wakati mu bo, n'abagamba nti: “Emirembe gibe na mmwe.” |
| 20 |
| Bwe yamala okwogera ebyo, n'abalaga ebibatu bye n'embiriizi ze. Abayigirizwa ne basanyuka okulaba Mukama waabwe. |
| 21 |
| N'abagamba nate nti: “Emirembe gibe na mmwe. Nga Kitange bwe yantuma, nange bwe mbatuma mmwe.” |
| 22 |
| Bwe yamala okwogera ebyo, n'abafuuwako omukka, n'abagamba nti: “Mufune Mwoyo Mutuukirivu, |
| 23 |
| ebibi by'abantu bye munaasonyiwanga, nga bisonyiyiddwa. Eby'abo bye munaagaananga okusonyiwa, abo nga tebibasonyiyiddwa.” |
| 24 |
| Tomasi, omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri, ayitibwa Didimo (Omulongo), teyali na banne, Yesu bwe yajja. |
| 25 |
| Abayigirizwa banne ne bamugamba nti: “Tulabye Mukama waffe.” Kyokka ye n'abagamba nti: “Okuggyako nga ndabye enkovu ez'emisumaali mu bibatu bye, ne nteeka olunwe lwange mu nkovu ezo, era ne nteeka ekibatu kyange mu mbiriizi ze, sigenda kukkiriza.” |
| 26 |
| Bwe waayitawo ennaku munaana, abayigirizwa ba Yesu ng'era bali mu nnyumba, Tomasi naye ng'ali nabo, Yesu n'ajja, enzigi nga nsibe, n'ayimirira wakati mu bo, n'agamba nti: “Emirembe gibe na mmwe.” |
| 27 |
| Awo n'agamba Tomasi nti: “Leeta wano olunwe lwo, era laba ebibatu byange. Era leeta ekibatu kyo, okiteeke mu mbiriizi zange. Leka kuba atakkiriza, naye akkiriza.” |
| 28 |
| Tomasi n'amuddamu nti: “Mukama wange, era Katonda wange!” |
| 29 |
| Yesu n'amugamba nti: “Olw'okuba ng'ondabye, kyovudde okkiriza? Ba mukisa abakkiriza nga tebalabye.” |
| 30 |
| Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi ng'abayigirizwa be balaba, ebitawandiikiddwa mu kitabo kino. |
| 31 |
| Naye bino biwandiikiddwa, mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo, Omwana wa Katonda, era olw'okukkiriza okwo, mulyoke mufune obulamu mu ye. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/john/020.mp3
21
20