Awo ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, Malyamu Magudaleene n'ajja mu matulutulu, nga tebunnalaba, eri entaana, n'alaba ng'ejjinja liggiddwa ku ntaana.
Awo n'adduka n'agenda eri Simooni Peetero, n'eri omuyigirizwa oli omulala Yesu gwe yayagalanga, n'abagamba nti, “Baggyeemu Mukama waffe mu ntaana, so tetumanyi gye bamutadde.”
Yesu n'amugamba nti, “Omukyala, okaabira ki? Onoonya ani?” Ye ng'alowooza nti ye mukuumi w'olusuku, n'amugamba nti, “Ssebo, oba nga ggwe omututte awalala, mbuulira gy'omutadde, nange nnaamuggyayo.”
Yesu n'amugamba nti, “Tonkwatako; kubanga sinnaba kulinnya mu ggulu eri Kitange: naye genda eri baganda bange, obabuulire nti Nninnya mu ggulu eri Kitange, era Kitammwe, eri Katonda wange, era Katonda wammwe.”
Awo ku lunaku luli akawungeezi ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, enzigi bwe zaali nga ziggaddwawo mu kifo abayigirizwa mwe baali, olw'okutya Abayudaaya, Yesu n'ajja, n'ayimirira wakati mu bo, n'abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe.”
Oluvannyuma nga wayiseewo ennaku munaana, ate abayigirizwa be baali munda, ne Tomasi ng'ali nabo, Yesu n'ajja, enzigi nga ziggaddwawo, n'ayimirira wakati mu bo n'agamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe.”