|
| 1 |
|
| Awo waaliwo omuntu ow'omu Bafalisaayo, erinnya lye Nikoodemo, mwami mu Bayudaaya: |
|
| 2 |
|
| oyo n'ajja gy'ali ekiro, n'amugamba nti Labbi, tumanyi nti oli muyigiriza eyava eri Katonda: kubanga tewali muntu ayinza okukola obubonero buno bw'okola ggwe, wabula Katonda ng'ali naye. |
|
| 3 |
|
| Yesu n'addamu n'amugamba nti Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw'atazaalibwa mulundi gwa kubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda. |
|
| 4 |
|
| Nikoodemo n'amugamba nti Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bw'aba nga mukadde? ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogw'okubiri, n'azaalibwa? |
|
| 5 |
|
| Yesu n'addamu nti Ddala ddala nkugamba nti omuntu bw'atazaalibwa mazzi na Mwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. |
|
| 6 |
|
| Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri; n'ekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo. |
|
| 7 |
|
| Teweewuunya kubanga nkugambye nti Kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri. |
|
| 8 |
|
| Empewo ekuntira gy'eyagala, n'owulira okuwuuma kw'ayo, naye tomanyi gy'eva, newakubadde gy'egenda: bw'atyo bw'abeera buli muntu yenna azaalibwa Omwoyo. |
|
| 9 |
|
| Nikoodemo n'addamu n'amugamba nti Ebyo biyinza bitya okubaawo? |
|
| 10 |
|
| Yesu n'addamu n'amugamba nti Ggwe omuyigiriza wa Isiraeri, n'ototegeera ebyo? |
|
| 11 |
|
| Ddala ddala nkugamba nti Twogera kye tumanyi, tutegeeza kye twalaba; so temukkiriza kutegeeza kwaffe. |
|
| 12 |
|
| Bwe mbabuulidde eby'ensi, ne mutakkiriza, mulikkiriza mutya bwe nnaababuulira eby'omu ggulu? |
|
| 13 |
|
| Tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, wabula eyava mu ggulu, ye Mwana w'omuntu ali mu ggulu. |
|
| 14 |
|
| Nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo n'Omwana w'omuntu kimugwanira okuwanikibwa: |
|
| 15 |
|
| buli muntu yenna amukkiriza abeere n'obulamu obutaggwaawo mu ye. |
|
| 16 |
|
| Kubanga Katonda bwe yayagala, ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo. |
|
| 17 |
|
| Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye ensi erokokere ku ye. |
|
| 18 |
|
| Amukkiriza tegumusinga: atamukkiriza gumaze okumusinga, kubanga takkirizza linnya lya Mwana eyazaalibwa omu yekka owa Katonda. |
|
| 19 |
|
| Guno gwe musango kubanga omusana guzze mu nsi, abantu ne baagala enzikiza okukira omusana; kubanga ebikolwa byabwe byali bibi. |
|
| 20 |
|
| Kubanga buli muntu yenna akola ebitasaana akyawa omusana, so tajja eri omusana, ebikolwa bye bireme okunenyezebwa. |
|
| 21 |
|
| Naye akola amazima ajja eri omusana ebikolwa bye birabike nga byakolerwa mu Katonda. |
|
| 22 |
|
| Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'ajja n'abayigirizwa be mu nsi y'e Buyudaaya; n'alwayo nabo, n'abatiza. |
|
| 23 |
|
| Naye Yokaana yali ng'abatiriza mu Enoni kumpi n'e Salimu, kubanga ye eri amazzi amaangi: ne bajjanga, ne babatizibwanga. |
|
| 24 |
|
| Kubanga Yokaana yali nga tannateekebwa mu kkomera. |
|
| 25 |
|
| Abayigirizwa ba Yokaana n'Omuyudaaya ne baba n'empaka, mu bigambo eby'okutukuza. |
|
| 26 |
|
| Ne bajja eri Yokaana, ne bamugamba nti Labbi, oli eyali naawe emitala wa Yoludaani, gwe wategeeza, laba, oyo abatiza; n'abantu bonna bajja gy'ali. |
|
| 27 |
|
| Yokaana n'addamu n'agamba nti Omuntu tayinza kuganya kigambo kyonna wabula ng'akiweereddwa okuva mu ggulu. |
|
| 28 |
|
| Mmwe bennyini muli bajulirwa bange nga nnayogera nti Si nze Kristo, naye nga nnatumibwa kumukulembera. |
|
| 29 |
|
| Alina omugole ye awasa: naye mukwano gw'oyo awasa, ayimirira ng'amuwulira, asanyukira nnyo eddoboozi ly'oyo awasizza: kale essanyu lyange eryo lituukiridde. |
|
| 30 |
|
| Ye kimugwanira okukula, naye nze okutoowala. |
|
| 31 |
|
| Ava mu ggulu ye afuga byonna; ow'omu nsi aba wa mu nsi, ayogera bya mu nsi: ava mu ggulu ye afuga byonna. |
|
| 32 |
|
| Kye yalaba era kye yawulira ky'ategeeza; so tewali muntu akkiriza kutegeeza kwe. |
|
| 33 |
|
| Akkiriza okutegeeza kwe, ng'ataddeko akabonero ke nti Katonda wa mazima. |
|
| 34 |
|
| Kubanga Katonda gwe yatuma ayogera bigambo bya Katonda: kubanga, bw'agaba Omwoyo, tamugera. |
|
| 35 |
|
| Kitaffe ayagala Omwana, era yamuwa byonna mu mukono gwe. |
|
| 36 |
|
| Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye. |
|
|
|
|