|
| 1 |
|
| Oluvannyuma, Yezu n'ayitaayita mu Galilaaya; teyayagala kuyitaayita mu Buyudaaya, kubanga Abayudaaya baali bamunoonya okumutta. |
|
| 2 |
|
| Embaga enkulu ey'Abayudaaya ey'Ensiisira yali kumpi. |
|
| 3 |
|
| Baganda be ne bamugamba nti: “Vva wano, olage mu Buyudaaya n'abayigirizwa bo eyo balabe ku ebyo by'okola. |
|
| 4 |
|
| Mpaawo akolera mu nkiso sso ng'agenderera okumanyika mu lwatu; oba ggwe okola bino, weeyoleke ensi.” |
|
| 5 |
|
| Ne baganda be bennyini baali tebamukkiriza. Yezu n'abagamba nti: |
|
| 6 |
|
| “Akadde kange tekannatuuka; mmwe akadde akammwe bulijjo weekali. |
|
| 7 |
|
| Mmwe ensi teyinza kubakyawa; naye nze enkyawa kubanga ngirumiriza nti ebikolwa byayo bibi. |
|
| 8 |
|
| Mmwe mwambuke ku mbaga enkulu; naye nze sijja kwambuka ku mbaga eno enkulu, kubanga akadde kange tekannatuukirira.” |
|
| 9 |
|
| Bwe yamala okwogera ebyo, ye n'agira ng'asigala mu Galilaaya. |
|
| 10 |
|
| Baganda be bwe baamala okwambuka ku mbaga enkulu, naye n'alyoka ayambuka, si mu lwatu wabula mu kyama. |
|
| 11 |
|
| Abayudaaya ne bamumagamaga ku mbaga enkulu nga bagamba nti: “Ali ludda wa ono?” |
|
| 12 |
|
| Oluvuuvuumo ne luba lunene mu bantu; abamu nga bagamba nti: “Muntu mulungi;” ko abalala nti: “Nedda, awubisa abantu.” |
|
| 13 |
|
| Naye ddala nga tewali amwogerako mu lwatu olw'okutya Abayudaaya. |
|
| 14 |
|
| Embaga enkulu ng'etuuse mu makkati, Yezu n'ayambuka mu Kiggwa, n'ayigiriza. |
|
| 15 |
|
| Abayudaaya ne beewuunya, ne bagamba nti: “Omuntu ono ng'alina amagezi sso nga tayigangako?” |
|
| 16 |
|
| Yezu n'abaddamu nti: “Enjigiriza yange si yange, naye y'oli eyantuma. |
|
| 17 |
|
| Buli alyagala okukola oli ky'ayagala, alitegeera oba enjigiriza yange eva wa Katonda, nandiki yange ku bwange. |
|
| 18 |
|
| Ayogera ku bubwe agoberera kitiibwa kye; naye agoberera ekitiibwa ky'oli eyantuma oyo aba wa mazima, mu ye temuba bulimba. |
|
| 19 |
|
| Musa teyabawa etteeka? Sso mu mmwe temuli akwata tteeka eryo. Munnoonyeza ki okunzita?” |
|
| 20 |
|
| Ekibiina ne kyanukula nti: “Olimu omwoyo omubi. Ani anoonya okukutta?” |
|
| 21 |
|
| Yezu n'ayanukula nti: “Nkoze kimu kyokka, mwenna ne mwewuunya. |
|
| 22 |
|
| Musa yabawa okutayirirwa, - sso tekwava ku Musa wabula mu bajjajjammwe - naye ne ku Sabbaato omuntu mumutayirira. |
|
| 23 |
|
| Oba omuntu atayirirwa ku Sabbaato, etteeka lya Musa lireme kumenyebwa, olwo nze ne munsunguwalira olw'okuwonya omuntu ku Sabbaato? |
|
| 24 |
|
| Temusala musango nga musinziira ku ndabika, naye mulamulenga n'ennamula entuufu.” |
|
| 25 |
|
| Ab'omu Yeruzaalemu abamu baali bagamba nti: “Ono si gwe banoonya okutta? |
|
| 26 |
|
| Ate nga wuuno ayogera kyere; tewali amuwuunako. Tekyandiba ng'abakulu bamutegeeredde ddala nga ye Kristu? |
|
| 27 |
|
| Naye ono tumanyi gy'asibuka; sso nga Kristu bw'alijja, tewaliba amanya gy'ava.” |
|
| 28 |
|
| Yezu n'ayogerera waggulu ng'ayigiriza mu Kiggwa n'agamba nti: “Weewaawo nze mmumanyi, ne gye nva mumanyiiyo, naye sajja ku bwange, wabula ow'amazima yennyini ye yantuma, mmwe gwe mutamanyi. |
|
| 29 |
|
| Nze mummanyi, kubanga nva mu ye, yennyini ye yantuma.” |
|
| 30 |
|
| Baali bayiiyayiiya ag'okumukwata, naye ne wataba muntu amussaako ngalo kubanga akadde ke kaali tekannatuuka. |
|
| 31 |
|
| Naye bangi mu kibiina ne bamukkiriza; ne bagamba nti: “Kristu bw'alijja, alikola ebyewuunyo ebisinga ono by'akoze?” |
|
| 32 |
|
| Abafarisaayo ne bawulira ekibiina nga kimwemuumuunyaako; awo bakabona abakulu n'Abafarisaayo, ne batuma abaweereza bamukwate. |
|
| 33 |
|
| Yezu n'abagamba nti: “Nkyali nammwe ebbanga ttono, olwo ŋŋende eri oli eyantuma; |
|
| 34 |
|
| mulinnoonya, naye temulinzuula; nze we ndi mmwe temuyinza kutuukawo.” |
|
| 35 |
|
| Abayudaaya ne bagambagana nti: “Ono ategeka kugenda wa gye tutalimuzuula? Ategeka kugenda mu baasaasaanira mu Bagereeki, ayigirize Abagereeki? |
|
| 36 |
|
| Ategeeza ki bw'agamba nti: ‘Mulinnoonya naye temulinzuula,’ ate nti: ‘Nze we ndi mmwe temuyinza kutuukawo’?” |
|
| 37 |
|
| Ku lunaku olwafundikira embaga enkulu Yezu n'ayimirira mu Kiggwa n'ayogerera waggulu nti: “Buli alumwa ennyonta ajje gye ndi, |
|
| 38 |
|
| n'akkiriza nze anywe; ng'Ekiwandiiko ekitukuvu bwe kigamba nti: ‘Mu mutima gwe mulifumbulukukamu emigga gy'amazzi amalamu.’ ” |
|
| 39 |
|
| Mu ekyo yategeeza Mwoyo, abamukkiriza gwe baali bagenda okufuna; kubanga Mwoyo yali tannagabibwa, kubanga Yezu yali tannaba kugulumizibwa. |
|
| 40 |
|
| Abamu mu kibiina ekyo bwe baawulira ebigambo bye ebyo, ne bagamba nti: “Ono ye Mulanzi ddala oli.” |
|
| 41 |
|
| Abalala ne bagamba nti: “Ono ye Kristu.” Naye abalala ne bagamba nti: “Kristu alisibuka mu Galilaaya? |
|
| 42 |
|
| Ebiwandiiko tebigamba nti: ‘Mu zzadde lya Dawudi, mu kyalo Beteleemu, Dawudi mwe yabeeranga, Kristu mw'aliva?’ ” |
|
| 43 |
|
| Awo empaka ne zisituka mu kibiina okubeera ye. |
|
| 44 |
|
| Abamu mu bo ne baagala okumukwata; naye ne wataba amussaako ngalo. |
|
| 45 |
|
| Abaweereza ne baddayo eri bakabona abakulu n'eri Abafarisaayo; bo ne babagamba nti: “Lwaki temumuleese?” |
|
| 46 |
|
| Abaweereza ne baddamu nti: “Mpaawo yali ayogedde nga muntu ono.” |
|
| 47 |
|
| Abafarisaayo ne babaddamu nti: “Muwubisiddwa nammwe? |
|
| 48 |
|
| Kale mu bakabona abakulu oba mu Bafarisaayo mulimu eyali amukkirizza, |
|
| 49 |
|
| wabula ekibiina kino, abatamanyi tteeka, abakolimire?” |
|
| 50 |
|
| Awo Nikodemo, oli eyagenda gy'ali mu kusooka, yali omu mu bo, n'abagamba nti: |
|
| 51 |
|
| “Etteeka lyaffe lisalira omuntu omusango nga terimaze kumuwuliriza ne limanya ky'akoze?” |
|
| 52 |
|
| Bo ne bamuddamu nti: “Kazzi naawe oli Mugalilaaya? Wekenneenye Ebiwandiiko olabe; e Galilaaya teva mulanzi.” |
|
| 53 |
|
| Ne baddayo buli omu ewuwe. |
|
|
|
|