BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Waaliwo omusajja omu mu Kayisariya, erinnya lye Koruneliyo, senturiyo w'ekibinja ekyayitibwanga Ekiyitale, |
| 2 |
| nga muntu musomi, ng'atya Katonda, ye n'ennyumba ye yonna, nga yeegayirira butasalako, era ng'agabira nnyo abaavu. |
| 3 |
| Olumu n'alabikirwa ddala bulungi emisana nga ku ssaawa eyoomwenda, n'alaba malayika wa Katonda ng'ayingira gy'ali, n'amugamba nti: “Koruneliyo.” |
| 4 |
| N'amwekaliriza ng'atidde, n'addamu nti: “Mukama, ate kiki?” Malayika n'amugamba nti: “Essaala zo ne by'ogabira abaavu byambuse mu maaso ga Katonda ng'ekitone eky'ekijjukizo. |
| 5 |
| Kale nno kati tuma abasajja mu Yoppa, oyite Simoni ayitibwa Petero, |
| 6 |
| asula wa Simoni omuwazi w'amaliba, ennyumba ye eri kumpi n'ennyanja.” |
| 7 |
| Malayika w'Omukama eyayogera naye bwe yamala okugenda, n'ayita babiri ku b'omu nnyumba ye ko n'omuserikale omusomi omu ku abo be yali atwala. |
| 8 |
| Bwe yamala okubanyumiza byonna, n'abatuma mu Yoppa. |
| 9 |
| Olunaku olwaddirira, bwe baali bakyali mu kkubo, nga basemberera ekibuga, Petero n'alinnya waggulu ku nnyumba okwegayirira nga ku ssaawa mukaaga. |
| 10 |
| Enjala bwe yamuluma, n'ayagala okubaako k'alya. Baba bakyategeka, n'abulawo mu mwoyo; |
| 11 |
| n'alaba eggulu nga libikkuse, n'ekintu ekijja kikka nga kifaanana ng'essuuka ennene gye bakkiririza ku nsonda zaayo ennya. |
| 12 |
| Mwalimu ebisolo ebya buli kika, n'ebyewalula ku ttaka, n'ebinyonyi eby'omu bbanga. |
| 13 |
| Ne wabaawo eddoboozi erimugamba nti: “Petero, situka; tta, olye.” |
| 14 |
| Petero n'addamu nti: “Nedda, Mukama; kubanga nze siryanga ku bibi oba ebitali birongoofu.” |
| 15 |
| Eddoboozi ne limuddira ogwokubiri nti: “Katonda kye yatukuza ggwe leka kukiyita kibi.” |
| 16 |
| Ekyo kyaddibwamu emirundi esatu; amangu ago ekintu ne kizzibwayo mu ggulu. |
| 17 |
| Petero yali akyasobeddwa nga yeebuuza ky'alabye kye kitegeeza, abasajja Koruneliyo be yali atumye ne batuuka ku luggi oluvannyuma lw'okubuuza ewa Simoni. |
| 18 |
| Ne bayita okubuuza obanga Simoni ayitibwa Petero omwo mwe yali asula. |
| 19 |
| Petero aba akyalowoolereza ku by'alabye, Mwoyo n'amugamba nti: “Laba, abasajja basatu bakunoonya; |
| 20 |
| situka okkirire, ogende nabo awatali kulonzalonza, kubanga nze mbatumye.” |
| 21 |
| Petero n'akkirira abasajja gye baali, n'abagamba nti: “Nze wuuyo gwe munoonya; nsonga ki ebaleese?” |
| 22 |
| Bo ne bagamba nti: “Koruneliyo, senturiyo, omusajja omutuukirivu era atya Katonda, ate ng'ayogerwako bulungi eggwanga lyonna ery'Abayudaaya, malayika omutuukirivu yamubagulizaako okukuyita ogende ewuwe awulire by'ogamba.” |
| 23 |
| N'abayingiza, n'abasuza. Ku lunaku olwaddako, n'asitula n'agenda nabo, n'abamu ku booluganda mu Yoppa ne bamuwerekereko. |
| 24 |
| Olunaku olwaddako n'atuuka e Kayisariya. Koruneliyo yali abalindiridde, ng'akuŋŋaanyizza eŋŋanda ze ne banywanyi be. |
| 25 |
| Petero bwe yayingira, Koruneliyo n'ajja okumwaniriza, n'agwa ku bigere bye n'amusinza. |
| 26 |
| Petero n'amuyimusa nga bw'agamba nti: “Situka, nange ndi muntu buntu.” |
| 27 |
| Eno nga bw'ayogera naye, nayingira, n'asangamu abantu bangi abakuŋŋaanye, |
| 28 |
| n'abagamba nti: “Nammwe mumanyi bwe kitakkirizibwa Omuyudaaya okutabagana ne munnaggwanga, oba okumukyalira, naye Katonda y'andaze nga bwe sandiyise muntu n'omu mubi oba atali mulongoofu. |
| 29 |
| Olw'ekyo nange bwe bampise, kwe kujja awatali kulonzalonza. Naye kati mbuuza ensonga empisizza.” |
| 30 |
| Koruneliyo n'agamba nti: “Ennaku nnya emabega, mu kabanga kano kennyini, nali mu nnyumba yange nga neegayirira ku ssaawa eyoomwenda, omusajja n'annyimirira mu maaso ng'ayambadde engoye ezitemagana, |
| 31 |
| n'agamba nti: ‘Koruneliyo, essaala zo ziwuliddwa, ne by'ogabira abaavu bijjukiddwa mu maaso ga Katonda. |
| 32 |
| Tuma nno e Yoppa, oyite Simoni ayitibwa Petero, asula mu nnyumba ya Simoni omuwazi w'amaliba okuliraana ennyanja.’ |
| 33 |
| Kyennava nno nkutumira amangu. Era naawe okoze bulungi n'ojja. Kaakano tuutuno ffenna mu maaso ga Katonda okuwulira byonna Omukama bye yakulagira.” |
| 34 |
| Petero n'ayasamya akamwa ke, n'agamba nti: “Mazima ntegedde nga Katonda tasosola mu bantu; |
| 35 |
| naye buli ggwanga, buli amutya n'akola ekituufu, amusiima. |
| 36 |
| Abayisirayeli Katonda yabatumira ekigambo ng'ababuulira amawulire amalungi ag'emirembe mu Yezu Kristu. Oyo ye Mukama wa byonna. |
| 37 |
| Nammwe mumanyi ekyabaawo mu Buyudaaya bwonna, okusookera ddala mu Galilaaya okuva ku batismu ya Yowanna gye yayigiriza, |
| 38 |
| nga Yezu ow'e Nazareti Katonda bwe yamusiiga ne Mwoyo Mutuukirivu n'amaanyi, nga bwe yayitaayita ng'agenda akolera bulungi abantu, era ng'awonya bonna Sitaani be yali adoobya, kubanga Katonda yali naye. |
| 39 |
| Ffe bajulirwa b'ebyo bye yakola mu nsi y'Abayudaaya ne mu Yeruzaalemu. Gwe batta nga bamuwanika ku muti, |
| 40 |
| Katonda yamuzuukiza ku lunaku olwokusatu, n'amuwa okulabibwa |
| 41 |
| si buli muntu, wabula ffe Katonda be yali alondobyemu ng'abajulirwa; ffe twalya ne tunywa naye ng'amaze okuzuukira mu bafu, |
| 42 |
| n'atulagira okuyigiriza abantu n'okutegeeza nti ye y'oyo Katonda gwe yassaawo okulamula abalamu n'abafu. |
| 43 |
| Ye wuuyo abalanzi bonna gwe baakakasa nti buli amukkiriza afuna ekisonyiwo ky'ebibi mu linnya lye.” |
| 44 |
| Petero yali akyayogera ebigambo ebyo, Mwoyo Mutuukirivu n'akka ku bonna abaali bawulira ekigambo. |
| 45 |
| Abakkiriza abaava mu batayirire abaali bazze ne Petero ne basamaalirira olw'okulaba ng'ekirabo kya Mwoyo Mutuukirivu kiyiiriddwa ne ku b'amawanga. |
| 46 |
| Anti baali bawulira nga boogera ennimi endala, nga bagulumiza Katonda. Petero n'agamba nti: |
| 47 |
| “Waliwo ayinza okugaana bano amazzi okubatizibwa, bano abafunye Mwoyo Mutuukirivu nga ffe?” |
| 48 |
| N'abalagira okubatizibwa mu linnya lya Mukama waffe Yezu Kristu. Ne bamusaba agira asigala nabo ennaku nga ziizo. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/acts/010.mp3
28
10