Bwe yamala okumukwata, n'amussa mu kkomera, n'amuwaayo eri basserikale kkumi na mukaaga okumukuuma kinnabana, ng'ayagala okumutwala mu maaso g'abantu Okuyitako nga kuwedde.
Ku lunaku Kerode lwe yali ayagala okumutwalayo, mu kiro ekyo Peetero yali nga yeebase wakati w'abaserikale babiri, ng'asibiddwa n'enjegere bbiri, abakuumi baali ku luggi nga bakuuma ekkomera.
Laba, malayika wa Mukama n'ayimirira w'ali, okutangaala ne kujjula ekisenge, n'akuba Peetero mu mbiriizi n'amuzuukusa ng'agamba nti Yimuka mangu. Enjegere ne ziva ku mikono ne zigwa.
Bwe baayita ku bakuumi abaasookerwako n'ab'okubiri ne batuuka ku luggi olw'ekyuma oluyitibwako okutuuka mu kibuga: ne lubaggukirawo lwokka: ne bafuluma ne bayita mu kkubo limu; amangu ago malayika n'amuleka.
Peetero bwe yeddamu n'agamba nti Kaakano ntegedde mazima nga Mukama waffe atumye malayika n'anziya mu mukono gwa Kerode ne mu kusuubira kwonna okw'eggwanga ly'Abayudaaya.
N'asunguwalira nnyo ab'e Ttuulo n'ab'e Sidoni: ne bajja gy'ali n'omwoyo gumu; bwe baakwanagana ne Bulasito omukulu w'omu nnyumba ya kabaka, ne basaba okubawa emirembe, kubanga ensi yaabwe eriisibwa bya mu nsi ya kabaka.