BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Olwatuuka, ne bayingirira wamu mu sinaagooga y'Abayudaaya mu Yikoniyo, ne bayigiriza, ggwe wamma abantu nkumu mu Bayudaaya ne mu Bagereeki ne bakkiriza. |
| 2 |
| Naye Abayudaaya abaagaana okukkiriza, ne babawakulira ab'amawanga, ne babasindika okukambuwalira abooluganda. |
| 3 |
| Eyo ne bamalayo ebbanga ddene, ne babayigiriza Omukama n'obuvumu, naye yennyini eyakakasa ekigambo ky'eneema ye ng'abawa emikono gyabwe ne gikola obubonero n'ebyamagero. |
| 4 |
| Kyokka abantu ab'omu kibuga ne beesalamu, abamu ne beekubira eri Abayudaaya, ate abalala eri Abatume. |
| 5 |
| Naye ab'amawanga wamu n'Abayudaaya ne beekobaana n'abakulu baabwe okubakuba amayinja. |
| 6 |
| Bwe bakitegeera, ne baddukira e Lisitura n'e Derube, ebibuga eby'omu Likawoniya, ne mu kitundu ekiriraanyeewo, |
| 7 |
| ne bayigiriza eyo Evangili. |
| 8 |
| E Lisitura waaliyo omusajja ng'atudde awo eyali tasobola kweyamba bigere bye, nga mulema okuva lwe yava mu nda ya nnyina; nga tatambulangako. |
| 9 |
| N'awuliriza Pawulo ng'ayigiriza; Pawulo n'amwekaliriza, bwe yalaba ng'alina okukkiriza okuyinza okumuwonya, |
| 10 |
| n'ayogera n'eddoboozi ddene nti: “Situka, oyimirire ku bigere byo nga weesimbye.” N'abaguka n'atambula. |
| 11 |
| Ekibiina bwe kyalaba Pawulo ky'akoze, ne kireekaanira waggulu mu Lulikawoniya nti: “Balubaale bazze gye tuli mu nfaanana y'abantu.” |
| 12 |
| Awo Barunaba ne bamuyita Zewo, ate Pawulo, kubanga ye yali omwogezi omukulu, ne bamuyita Erume. |
| 13 |
| Awo kabona wa Zewo eyali asula ebweru w'ekibuga n'aleeta ente ennume n'emige gy'ebimuli ku miryango ng'ayagala okuweereza wamu n'abantu ekitambiro. |
| 14 |
| Naye Abatume Barunaba ne Pawulo bwe baawulira, ne bayuza ebyambalo byabwe, ne bafubutuka nga balaga mu bantu, nga baleekaana nti: |
| 15 |
| “Abasajja, lwaki mukola ekyo? Naffe tuli bantu ab'enkula ye emu nga mmwe. Tubabuulira amawulire amalungi nti muve ku bino omutali kantu, mudde eri Katonda omulamu eyatonda eggulu, ensi, ennyanja na byonna ebirimu. |
| 16 |
| Oyo mu mirembe egy'edda yakkiriza amawanga gonna okukwata amakubo gaago ku bwago, |
| 17 |
| sso era ekimujulira teyakireka kubulawo, kubanga yakola ebirungi, n'abawa enkuba okuva mu ggulu n'emyaka egy'ebyengera; emitima gyammwe n'agijjuza emmere n'essanyu.” |
| 18 |
| N'ebigambo ebyo baalemererwa watono okuziyiza ekibiina okubatambirira. |
| 19 |
| Eyo ne wajjayo Abayudaaya ab'omu Antiyokiya ne Likawoniya, ne bafukuutirira abantu, ne bakuba Pawulo amayinja, ne bamukulula, ne bamufulumya ebweru w'ekibuga nga balowooza nti afudde. |
| 20 |
| Naye abayigirizwa ne bamwetooloola, n'agolokoka, n'ayingira mu kibuga. Ku lunaku olwaddako, n'alaga e Derube wamu ne Barunaba. |
| 21 |
| Bwe baamala okuyigiriza ekibuga ekyo Evangili, nga bafudde bangi abayigirizwa, ne baddayo e Lisitura n'e Yikoniyo n'e Antiyokiya, |
| 22 |
| nga banyweza emyoyo gy'abayigirizwa, nga bwe babakuutira okunywera mu kukkiriza; kubanga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda tetulema kulaba nnaku nnyingi. |
| 23 |
| Bwe baamala okubalondera abakadde mu buli Ekleziya, n'okwegayirira nga bwe basiiba, ne babakwasa Omukama gwe bakkiriza; |
| 24 |
| ne basalira mu Pisidiya, ne bajja mu Pamfiliya. |
| 25 |
| Bwe baamala okuyigiriza ekigambo ky'Omukama e Peruga, ne baserengeta mu Attaliya. |
| 26 |
| Awo we baasaabalira ne balaga mu Antiyokiya, gye baali bakwasiddwa eneema ya Katonda okukola omulimu gwe baatuukiriza. |
| 27 |
| Bwe baatuuka, ne bakuŋŋaanya Ekleziya, ne babanyumiza ebikulu Katonda bye yali akoze nabo, era n'ab'amawanga nga bwe yali abagguliddewo oluggi lw'okukkiriza. |
| 28 |
| Awo ne bamalawo akabanga akawera nga bali n'abayigirizwa. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/acts/014.mp3
28
14