Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Awo Pawulo ne Balunabba bwe baatuuka mu Ikoniya ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. Ne babuulira n’amaanyi mangi era abantu bangi Abayudaaya n’Abayonaani ne bakkiriza. |
| 2 |
| Naye Abayudaaya abaagaana okukkiriza ne bassa omutima omubi mu baamawanga okukyawa abooluganda. |
| 3 |
| Ne baabeerayo ebbanga gwanvu nga babuulira n’obuvumu, era Mukama n’akakasanga ekigambo ky’ekisa kye ng’abawa okukola obubonero n’ebyamagero. |
| 4 |
| Naye ekibiina ky’abantu mu kibuga ne kyawukanamu abamu ne bagoberera Abayudaaya n’abalala ne bakkiriza abatume. |
| 5 |
| Abayudaaya n’abakulembeze baabwe awamu n’Abamawanga, ne basala olukwe okubonyaabonya abatume, n’okubakuba amayinja. |
| 6 |
| Naye Pawulo ne Balunabba olukwe ne baluggukamu ne baddukira mu bibuga ebya Lukawoniya ne Lusitula ne Derube, ne mu bitundu ebiriraanyeewo, |
| 7 |
| era n’eyo ne babuulirirayo Enjiri. |
| 8 |
| Mu Lusitula mwalimu omusajja eyazaalibwa nga mulema, ng’ebigere bye bigongobavu, nga tatambulangako. |
| 9 |
| N’atuula awo ng’awuliriza Pawulo bye yali ayogera. Pawulo n’amwekaliriza amaaso n’alaba ng’alina okukkiriza okuwonyezebwa. |
| 10 |
| Pawulo n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Yimirira ku bigere byo, weegolole!” Amangwago omusajja n’ayimirira, n’atandika okutambula! |
| 11 |
| Awo ekibiina ky’abantu bwe baalaba Pawulo ky’akoze, ne baleekaanira waggulu mu lulimi lwabwe Olulikaoniya nti, “Bakatonda basse wansi gye tuli nga bali mu kifaananyi ky’abantu!” |
| 12 |
| Balunabba ne bamuyita Zewu, Pawulo ne bamuyita Kerume kubanga ye yali omwogezi omukulu. |
| 13 |
| Awo kabona wa Zewu, eyali ebweru w’ekibuga, n’agenda n’aleeta ente ennume n’ebimuli ku wankaaki, ye n’ekibiina ky’abantu ne baagala okuwaayo ssaddaaka. |
| 14 |
| Naye abatume, Balunabba ne Pawulo, bwe baabiwulira, ne bayuza engoye zaabwe, ne bafubutuka ne bayingira mu kibiina ky’abantu nga baleekaana nga bagamba nti, |
| 15 |
| “Abasajja! Kiki ekibakozesa ebintu bino? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe! Twazze tubabuulire mukyuke okuva ku bintu bino ebitaliimu mudde eri Katonda omulamu eyakola eggulu n’ensi, n’ennyanja n’ebintu byonna ebirimu. |
| 16 |
| Mu mirembe egyayita yaleka amawanga gonna okukwata amakubo ge baayagalanga. |
| 17 |
| Kyokka tasigalirangako awo nga talina bujulirwa ng’abakolera ebirungi okuva mu ggulu, ng’aweereza enkuba, n’okubawa ebiro eby’okubalizangamu ebibala n’okubakkusa emmere, era n’okubajjuza essanyu mu mitima gyabwe.” |
| 18 |
| Newaakubadde baabategeeza bwe batyo, naye era katono balemwe okuziyiza ebibiina okubawa ssaddaaka. |
| 19 |
| Awo Abayudaaya ne batuuka nga bava mu Antiyokiya ne mu Ikoniya, ne basasamaza ebibiina, ne bakuba Pawulo amayinja ne bamukulula ne bamutwala ebweru w’ekibuga nga balowooza nti afudde. |
| 20 |
| Naye abayigirizwa ne bajja ne bayimirira okumwetooloola, n’asituka n’addayo mu kibuga! Enkeera ne basitula ne Balunabba ne balaga mu Derube. |
| 21 |
| Ne babuulira Enjiri mu kibuga ekyo, era abantu bangi ne bakkiriza. Ne baddayo mu Lusitula, ne mu Ikoniya, ne mu Antiyokiya, |
| 22 |
| ne babuulirira abakkiriza, nga babakubiriza banywerere mu kukkiriza, era ne babagamba nti, “Kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda nga tuyita mu bibonoobono ebingi.” |
| 23 |
| Pawulo ne Balunabba buli kkanisa baagironderamu abakadde. Ne basaba ne basiiba, ne babakwasa Mukama, oyo gwe bakkiriza. |
| 24 |
| Awo ne batambula ne bayita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya, |
| 25 |
| bwe baamala okubuulira ebigambo mu Peruga, ne beeyongerayo mu Ataliya. |
| 26 |
| Oluvannyuma ne basaabala ku nnyanja okuddayo mu Antiyokiya, gye baali baasigirwa ekisa kya Katonda olw’omulimu gwe baakola. |
| 27 |
| Bwe baatuuka, ne bakuŋŋaanya ekkanisa ne babategeeza ebyafa mu lugendo lwabwe, ne byonna Katonda bye yabakozesa, n’Abamawanga nga bwe yabaggulirawo oluggi olw’okukkiriza. |
| 28 |
| Ne babeera eyo ne bamalayo ebbanga ggwanvu nga bali n’abayigirizwa. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/acts/014.mp3
28
14