BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Bwe baamala okuyita mu Amfipoli ne mu Apolloniya, ne batuuka e Tessalonika awaali sinaagooga y'Abayudaaya. |
| 2 |
| Pawulo n'ayingira ewaabwe, ng'empisa ye bwe yali, n'amala wiiki ssatu ng'abannyonnyola nga yeeyamba Ebiwandiiko ebitukuvu, |
| 3 |
| ng'ategeeza n'okukakasa nga Kristu bwe yali ateekwa okubonaabona n'okuzuukira mu bafu, n'abagamba nti: “Yezu oyo gwe mbayigiriza ye Kristu.” |
| 4 |
| Abamu mu bo n'abakkirizisa, ne beegatta ku Pawulo ne Sila, ko n'ekibiina kinene eky'Abagereeki abasomi n'abakazi ab'ekitiibwa abawerako. |
| 5 |
| Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya, ne baddira abasajja abamu ababi mu bakireereese, ne beekuŋŋaanya ogubinja, ne basasamaza ekibuga, ne balumba ennyumba ya Yasoni, nga baagala babaggyeyo babaleete mu maaso g'ekibiina. |
| 6 |
| Bwe bataabasanga mu nnyumba, ne bawalaawala Yasoni n'abooluganda abamu, ne babatwala mu maaso g'abakulu b'ekibuga, nga bayoogaana nti: “Bano abatabangudde ensi batuuse na wano, |
| 7 |
| ate Yasoni y'abaaniriza. Bano bonna beeyisa mu ngeri ekontana n'amateeka ga Kayisari nga bagamba nti waliwo kabaka ate omulala, Yezu.” |
| 8 |
| Abantu n'abakulu b'ekibuga ne batabanguka bwe baawulira ebigambo bino. |
| 9 |
| Bwe baamala okufuna akabega okuva ku Yasoni n'abalala, ne babata. |
| 10 |
| Abooluganda amangu ago, ekiro ne basindika Pawulo ne Sila e Beroya. Bwe baatuuka eyo, ne bayingira mu sinaagooga y'Abayudaaya. |
| 11 |
| Abayudaaya bano bo baali ba kitiibwa okusinga ku b'e Tessalonika, anti bo ekigambo baakikwata n'okwagala kwonna, buli lunaku nga bawenja Ebiwandiiko ebitukuvu, okulaba obanga ebyo bwe biri bityo. |
| 12 |
| Ggwe wamma bangi mu bo ne bakkiriza, ko n'abakazi Abagereeki ab'ekitiibwa, ko n'abasajja abawerera ddala. |
| 13 |
| Naye Abayudaaya ab'e Tessalonika bwe baamanya nga Pawulo era ayigiriza ekigambo kya Katonda e Beroya, nayo ne batuukayo, ne bajagalaza n'okutabangula ebibiina. |
| 14 |
| Abooluganda ne basiibula mangu Pawulo okutuukira ddala ku nnyanja; naye Sila ne Timotewo bo ne basigalayo. |
| 15 |
| Abaali bawerekedde Pawulo ne bamutuusiza ddala mu Atena. Bwe yamala okubalagira okugamba Sila ne Timotewo bajje mangu gy'ali, ne basitula. |
| 16 |
| Pawulo ng'akyabalindirira mu Atena, omwoyo gwe ne gwevujjuula okulaba ng'ekibuga kyonna kijjudde ebifaananyi bya balubaale. |
| 17 |
| N'awakananga buli lunaku mu sinaagooga n'Abayudaaya ko n'abasomi, era ne mu mbuga n'abo abaabangayo. |
| 18 |
| Abafilozofa abaayitibwanga Abeepikuri n'Abastoyiki ne bawakananga naye; abamu ne bagamba nti: “Omukubi w'amatama ono ayagala kugamba ki nno?” Ko abalala nti: “Afaanana ng'omuyigiriza wa balubaale abagwira.” Anti yali abayigiriza Yezu n'okuzuukira. |
| 19 |
| Ne bamukwata, ne bamutwala mu Areyopago, ne bagamba nti: “Enjigiriza eno empya gy'obuulira tuyinza okumanya bw'eri? |
| 20 |
| Ndaba ebyo by'oleeta biggya mu matu gaffe; awo nno twandyagadde okumanya kye bitegeeza.” |
| 21 |
| Kale nno ab'e Atena n'abagwira abaalimu tebaalina kye bakola, wabula okwogera n'okuwuliriza ebiggya. |
| 22 |
| Awo Pawulo n'ayimirira wakati mu Areyopago, n'agamba nti: “Mmwe abasajja ab'e Atena, nga bwe ndaba mu buli ngeri muli bantu basomi. |
| 23 |
| Kubanga bwe mbadde mpitaayita nga ŋŋenda ntunuulira ebintu byammwe ebitukuvu, ne nsanga omwaliiro okuwandiikiddwa nti: OLWA KATONDA ATAMANYIDDWA. Awo nno kye musinza nga temukimanyi ky'ekyo kye mbategeeza. |
| 24 |
| Katonda eyakola ensi na byonna ebirimu, kubanga ye Mukama w'eggulu n'ensi, tasula mu biggwa ebyakolebwa emikono gy'abantu, |
| 25 |
| era taweerezebwa na mikono gy'abantu, kyenkana ng'aliko kye yeetaaga, anti ye yawa bonna obulamu n'omukka era na buli kintu. |
| 26 |
| Ate ye yayisa mu muntu omu buli eggwanga ly'abantu, babeere ku lukalu lwonna olw'ensi, ng'akakasizza ebiro n'ensalo z'obutaka bwabwe, |
| 27 |
| Katonda bamunoonyenga, bejjuukiriza bamuggukako ne bamuzuula; sso nno buli omu tamuli wala, |
| 28 |
| ‘kubanga mu ye mwe tubeerera abalamu, mwe tutambulira, mwe tubeererawo;’ ng'abayimbi bammwe bwe bagamba nti: ‘Manyanga ddala tuli ba lulyo lwe.’ |
| 29 |
| Oba nno tuli ba lulyo lwa Katonda, tetwandirowoozezza ate nti Katonda afaanana nga zaabu oba ffeeza, yadde ejjinja, ekifaananyi ekivudde mu mulimu oba mu kugerengetanya kw'omuntu. |
| 30 |
| Obudde obw'obutamanya obwo Katonda teyabufaako, naye kaakano alagira abantu bonna wonna babonerere. |
| 31 |
| Kubanga yassaawo olunaku lw'aliramulirako ensi yonna mu butuufu, nga yeeyamba omuntu gwe yassaawo, n'amukakasa mu bantu bonna ng'amuzuukiza mu bafu.” |
| 32 |
| Bwe baawulira ku kuzuukira kw'abafu, abamu ne baseka, naye abalala ne bagamba nti: “Tulikuwulira olulala ku ekyo.” |
| 33 |
| Pawulo n'abavaako bw'atyo. |
| 34 |
| Kyokka abasajja abamu ne bamwegattako ne bakkiriza. Mu abo mwe mwali Diyoniziyo Omwareyopago, ko n'omukyala erinnya lye Damari n'abalala be baali nabo. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/acts/017.mp3
28
17