Awo olwatuuka bwe twamala okwawukana nabo ne tuvaayo, ne tukwata ekkubo eggolokofu okutuuka e Koosi, ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka e Rodo, ne tuvaayo ne tutuuka e Patala.
Bwe twalengera Kupulo, ne tukireka ku mukono ogwa kkono ne tugenda e Busuuli, ne tugoba e Ttuulo: kubanga eyo ekyombo gye kyayagala okusiikululira ebintu.
Awo bwe twamalayo ennaku ezo ne tuvaayo ne tugenda; bonna ne batuwerekerako n'abakazi n'abaana abato okutuuka ebweru w'ekibuga: ne tufukamira ku lubalama lw'ennyanja, ne tusaba;
Ku lunaku olw'okubiri ne tuvaayo ne tutuuka e Kayisaliya: ne tuyingira mu nnyumba ya Firipo, omubuulizi w'enjiri, omu ku bali omusanvu, ne tutuula naye.
N'ajja gye tuli n'addira olukoba lwa Pawulo ne yeesiba amagulu ge n'emikono gye n'agamba nti Bw'atyo bw'ayogera Omwoyo Omutukuvu nti Abayudaaya bwe balisiba bwe batyo mu Yerusaalemi omuntu nannyini lukoba luno, balimuwaayo mu mikono gy'ab'amawanga.
nga boogerera waggulu nti Abasajja Abaisiraeri, mutuyambe: ono ye muntu oli ayigiriza bonna buli kifo obubi ku bantu ne ku mateeka ne ku kifo kino: era nate aleese Abayonaani mu yeekaalu, ayonoonye ekifo ekitukuvu.
Ekibuga kyonna ne kyegugumula, abantu ne bakuŋŋaana mbiro; ne bakwata Pawulo ne bamuwalula okumufulumya ebweru wa yeekaalu: amangu ago enzigi ne ziggalwawo.
Naye Pawulo n’agamba nti Nze ndi muntu Muyudaaya, ow’e Taluso eky’omu Kirukiya, si wa mu kibuga ekitali kimanyifu: era nkwegayiridde, ndeka njogere n'abantu.