Luganda Bible
|
| 1 |
| Ennaku bwe zaayitawo ettaano, kabona asinga obukulu Ananiya n'aserengeta n'abakadde abamu n'omuntu omwogezi Terutuulo: abo ne babuulira owessaza ebigambo Pawulo bye yaloopebwa. |
| 2 |
| Bwe yayitibwa, Terutuulo n'atanula okumuloopa ng'agamba nti Kubanga twali tufunye emirembo mingi eri ggwe, n'ebigambo ebibi nga birongoosebbwa mu ggwanga lino olw'okulabirira kwo, |
| 3 |
| tubikkiriza ennaku zonna ne mu bifo byonna, Ferikisi omulungi ennyo, n'okwebaza kwonna. |
| 4 |
| Naye nneme okwongera okukukooya, nkwegayiridde otuwulire mu bigambo bitono olw'obulungi bwo. |
| 5 |
| Kubanga twalaba omuntu ono nga mubi nnyo, ajeemesa Abayudaaya bonna abali mu nsi zonna, era ye mukulu w'ekitundu ky'Abanazaaleesi: |
| 6 |
| yagezaako okwonoona yeekaalu: ne tumukwata, ne twagala okumusalira omusango ng'amateeka gaffe bwe gali: |
| 7 |
| naye omwami omukulu Lusiya n'ajja n'atumuggyako mu mikono gyaffe n'amaanyi mangi, |
| 8 |
| bwe yalagira abamuvunaana okujja gy'oli: bw'onoomwebuuliza wekka onooyinza okutegeera bino byonna bye tumuvunaana. |
| 9 |
| Era n'Abayudaaya ne bamuloopa bumu nga bagamba nti bwe bityo bwe biri. |
| 10 |
| Awo owessaza bwe yamuwenya okwogera, Pawulo n'addamu nti Kubanga mmanyi ng'oli mulamuzi wa ggwanga lino okuva mu myaka mingi, nkuwoleza ebigambo byange n'omwoyo omugumu; |
| 11 |
| kubanga oyinza okutegeera ng'ennaku tezinnayita kkumi na bbiri! kasookedde nninnya e Yerusaalerni okusinza: |
| 12 |
| so tebansanganga mu yeekaalu nga mpakana n'omuntu oba nga njeemesa ekibiina newakubadde mu kkuŋŋaaniro newakubadde mu kibuga. |
| 13 |
| So tebayinza kukakasa w'oli ebigambo bye banvunaana kaakano. |
| 14 |
| Naye kino nkyatula w'oli nti Ekkubo nga bwe liri lye bayita enzikiriza, bwe ntyo bwe mpeereza Katonda wa bajjajjaffe, nga nzikiriza byonna ebyawandiikibwa mu mateeka ne mu bya bannabbi; |
| 15 |
| nga nnina essuubi eri Katonda, era nabo bennyini lye basuubira, nti walibaawo okuzuukira kw'abatuukirivu era n'abatali batuukirivu. |
| 16 |
| Era nnyiikira mu kigambo ekyo okubeeranga n'omwoyo ogutalina musango eri Katonda n'eri abantu ennaku zonna. |
| 17 |
| Awo emyaka mingi bwe gyayitawo ne njija okuleeta eby'abaavu eri eggwanga lyaffe n'ebiweebwayo: |
| 18 |
| bwe nnali mu ebyo Abayudaaya abamu abaava mu Asiya ne bansanga mu yeekaalu nga ntukuzibwa, nga sirina kibiina newakubadde oluyoogaano; |
| 19 |
| abagwanidde okubeera w'oli n'okunnumiriza oba nga balina ekigambo ku nze. |
| 20 |
| Oba bano bayogere bennyini ekibi kye baalaba bwe nnayimirira mu lukiiko |
| 21 |
| wabula olw'eddoboozi lino erimu lye nnayogerera waggulu, nga nnyimiridde mu bo, nti Olw'okuzuukira kw'abafu nsalirwa omusango gye muli ku lunaku luno. |
| 22 |
| Naye Ferikisi, kubanga ye yali abasinga okumanya ebigambo eby'Ekkubo, n'abalwisaawo ng'agamba nti bw'aliserengeta Lusiya omwami omukulu, ndisala omusango gw'ebigambo byammwe. |
| 23 |
| N'alagira omwami okumukuuma n'okumuwa ebbanga; n'obutaziyiza muntu yenna ku mikwano gye, okumuweereza. |
| 24 |
| Naye ennaku bwe zaayitawo Ferikisi n'ajja ne mukazi we Dulusira, Omuyudaaya, n'ayita Pawulo n'amuwuliriza ku bigambo eby'okukkiriza Kristo Yesu. |
| 25 |
| Bwe yali ng'ateeza eby’obubutuukirivu, n'eby'okwegendereza, n'eby'omusango ogugenda okujja, Ferikisi n'atya n'addamu nti Genda kaakano; bwe ndiba n’ebbanga, ndikuyita. |
| 26 |
| Era n'asuubira Pawulo okumuwa ebintu: kyeyava yeeyongeranga okumutumiranga okunyumyanga naye. |
| 27 |
| Naye bwe waayitiwo emkyaka ebiri, obwa Ferikisi ne buweebwa Polukiyo Fesuto; Ferikisi bwe yayagala Abayudaaya okumusiima, n’aleka Pawulo nga musibe. |
|
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/acts/024.mp3
28
24