BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Bwe waayitawo ennaku ttaano, kabona omukulu n'aserengeta n'abakadde abamu, ne munnamateeka omu Terutullo. Ne bayanjulira owessaza ensonga zaabwe ku Pawulo. |
| 2 |
| Bwe yayitibwa, Teritullo n'atandika okumuwawaabira, n'agamba nti: “Tufunye emirembe mingi olw'okubeera ggwe, era mu bantu bo bingi biruŋŋamye olw'obulabalaba bwo; |
| 3 |
| bulijjo na buli wantu, tubifuna n'okusiima kwonna, ayi Felikisi Omutiibwa. |
| 4 |
| Naye obutakulwisa, nkwegayiridde olw'ekisa kyo tuwulirizeeko katono. |
| 5 |
| Tusanze omusajja oyo nga kawumpuli mulamba, omuleesi w'obwegugungo mu Bayudaaya bonna mu nsi yonna, era lukulwe w'ekibiina ekijeemu ekya Banazireewo. |
| 6 |
| Yageza okwonoona Ekiggwa, ne tumukwata. |
| 7 |
| 8 |
| Naawe bw'onoobuuza, ojja kumanya byonna bye tumuvunaana.” |
| 9 |
| N'abayudaaya ne bamuwagira, nga bakakasa nti ddala ebintu bwe bityo bwe biri. |
| 10 |
| Owessaza bwe yamutemyako okwogera, n'agamba nti: “Kubanga mmanyi ng'omaze emyaka mingi ng'olamula eggwanga lino, nzija kwewolereza nga ndi musanyufu. |
| 11 |
| Naawe nga bw'oyinza okumanya, ennaku zaakayita kkumi na bbiri zokka okuva lwe nayambuka e Yeruzaalemu okusoma. |
| 12 |
| Abo tebansanganga nga mpakana n'omuntu n'omu, obanga ngugunga ekibiina mu Kiggwa oba mu sinaagooga, oba mu kibuga. |
| 13 |
| N'ebyo bye banvunaana kati, tewali na kimu kye bayinza kukuwaako bukakafu. |
| 14 |
| Naye kino kye nkukakasaamu, nti Ekkubo, bo lye bayita ekibiina ekijeemu, mwe mpeerereza Katonda wa bajjajjaffe, nga nzikiriza byonna nga bwe biri mu Tteeka oba nga bwe byawandiikibwa mu Balanzi, |
| 15 |
| n'essuubi lye nnina mu Katonda nabo lye balina nti abatuukirivu n'abatali batuukirivu balizuukira. |
| 16 |
| Mu ebyo nfaabiina okuba n'emmeeme entereevu mu maaso ga Katonda n'ag'abantu. |
| 17 |
| Nga wayiseewo emyaka, najja okuleetera eggwanga lyange obuyambi n'ebitone. |
| 18 |
| Ekyo kye nali nkola we bansangira mu Kiggwa nga neetukuza, tewaali kibiina yadde akajagalalo, wabula Abayudaaya abamu ab'omu Aziya, |
| 19 |
| bandibadde mu maaso go ne bannumiriza, obanga baliko kye banvunaana. |
| 20 |
| Yadde bano bennyini oba bandabamu ekibi lwe nayimirira mu lukiiko, boogere; |
| 21 |
| wabula mpozzi ekigambo kino kye naleekaana nga mbayimiriddemu wakati, nti: ‘Olw'ensonga y'okuzuukira kw'abafu kyenvudde nnyimirira wano mu maaso gammwe okuwozesebwa.’ ” |
| 22 |
| Naye Felikisi eyali amanyi obulungi ebikwata ku Kkubo, n'agira ng'abayimiriza ng'agamba nti: “Lisiya omukulu w'abaserikale bw'alijja eno, ndiwa ensala yange ku nsonga zammwe.” |
| 23 |
| N'alagira senturiyo okumukuuma, wabula ng'alekerwa eddembe, n'obutaziyiza n'omu ku babe kujja kumulabirira. |
| 24 |
| Ennaku ne ziyitawo ntono, Felikisi n'ajja ne Durusilla mukazi we eyali Omuyudaaya, n'atumya Pawulo, n'amuwuliriza ng'ayogera ku kukkiriza Kristu Yezu. |
| 25 |
| Naye bwe yatandika okwogera ku butuukirivu, ku kwetangira ne ku kulamulibwa okujja, Felikisi ne yeekanga, n'agamba nti: “Kaakano ogira ogenda; bwe ndifuna akadde, ndikutumira.” |
| 26 |
| Yali mu kaseera ke kamu asuubira nga Pawulo anaamuwa ku ssente, kyeyavanga amutumya olunye, n'anyumya naye. |
| 27 |
| Emyaka ebiri bwe gyayitawo, Felikisi n'asikirwa Porikiyo Festo; Felikisi olw'okwagala okusanyusa Abayudaaya, n'aleka Pawulo nga musibe. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/acts/024.mp3
28
24