Luganda Bible
|
| 1 |
| Awo Fesuto bwe yatuuka mu ssaza, bwe waayitawo ennaku ssatu, n'ava mu Kayisaliya n'alinnya e Yerusaalemi. |
| 2 |
| Bakabona abakulu n'abakungu b'Abayudaaya ne bamubuulira Pawulo bye yaloopebwa; ne bamwegayirira, |
| 3 |
| nga baagala abakole obulungi ku ye, amutumire okujja e Yerusaalemi; bamuteegere mu kkubo okumutta. |
| 4 |
| Naye Fesuto n'addamu nti Pawulo akuumirwa mu Kayisaliya, naye ye yennyini yali ng'anaatera okuvaayo okugenda. |
| 5 |
| N'agamba nti Kale abakulu mu mmwe bagende nange, bamuvunaane oyo oba ng'aliko ekibi kyonna kyonna. |
| 6 |
| Bwe yamalayo ewaabwe ennaku ezitaasingawo munaana oba kkumi, n'aserengeta e Kayisaliya; ku lunaku olw'okubiri n'atuula ku ntebe esalirwako emisango, n'alagira okuleeta Pawulo. |
| 7 |
| Bwe yatuuka Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne bayimirira okumwetooloola, nga baleeta ebimuvunaanwa bingi era ebizibu, bye bataayinza kulumiriza; |
| 8 |
| Pawulo n'awoza nti Siyonoonanga mu mateeka g'Abayudaaya newakubadde ku yeekaalu newakubadde eri Kayisaali. |
| 9 |
| Naye Fesuto, bwe yayagala Abayudaaya okumusiima, n'addamu eri Pawulo n'agamba nti Oyagala okugenda e Yerusaalemi osalirwe eyo omusango gw'ebigambo bino mu maaso gange? |
| 10 |
| Naye Pawulo n'agamba nti Nnyimiridde awali entebe esalirwako emisango eya Kayisaali, we ŋŋwanidde okusalirwa omusango: siyonoonanga eri Abayudaaya, era nga naawe bw'otegeerera ddala obulungi. |
| 11 |
| Kale oba nga nnayonoona era nga nnakola ekigambo ekisaanidde okunzisa, sigaana kufa: naye oba nga bano ebigambo bye banvunaana nga tebiriiwo na kimu, tewali muntu ayinza okumpaayo mu bo. Njulira Kayisaali. |
| 12 |
| Fesuto bwe yamala okuteesa nabo mu lukiiko n'alyoka addamu nti Ojulidde Kayisaali: oligenda eri Kayisaali. |
| 13 |
| Awo bwe waayitawo ennaku, Agulipa kabaka ne Berenike ne batuuka e Kayisaliya, ne balamusa Fesuto. |
| 14 |
| Bwe baamalayo ennaku nnyingi, Fesuto n'abuulira kabaka ebigambo bya Pawulo ng'agamba nti Waliwo omuntu Ferikisi gwe yaleka nga musibe: |
| 15 |
| bwe nnali mu Yerusaalemi bakabona abakulu n'abakadde b'Abayudaaya ne bambuulira ebigambo bye, nga baagala okumusalira omusango. |
| 16 |
| Ne mbaddamu nti Si mpisa ya Baruumi okuwaayo omuntu abamuvunaana nga tebannaba kubaawo mu maaso ge, era nga tannaweebwa bbanga lya kuwoza bye bamuvunaana. |
| 17 |
| Awo bwe baakuŋŋaanira wano, saalwa n'akatono, naye ku lunaku olw'okubiri ne ntuula ku ntebe esalirwako emisango ne ndagira okuleeta omusajja oyo. |
| 18 |
| Bwe baayimirira abamuvunaana ne bataleeta nsonga ya bigambo bibi nga bwe nnali ndowooza; |
| 19 |
| naye baalina ku ye ebibuuzibwa mu ddiini yaabwe n'eby'omuntu Yesu eyafa, Pawulo gwe yayogerako okuba omulamu. |
| 20 |
| Nange bwe nnabulwa bwe nnaakebera ebyo, ne mmubuuza ng'ayagala okugenda e Yerusaalemi okusalirwayo omusango ogwa bino. |
| 21 |
| Naye Pawulo bwe yajulira okukuumibwa okusalirwa omusango eri Augusito, ne ndagira okumukuuma okutuusa lwe ndimuweereza eri Kayisaali. |
| 22 |
| Agulipa n'agamba Fesuto nti Nandyagadde nange okuwulira omuntu oyo. N'agamba nti Enkya onoomuwulira. |
| 23 |
| Awo ku lunaku olw'okubiri Agulipa ne Berenike bwe bajja n'ekitiibwa ekinene era bwe baayingira mu kifo awawulirirwa emisango wamu n'abaami abakulu n'abakungu ab'omu kibuga, Fesuto n'alagira Pawulo n'aleetebwa. |
| 24 |
| Fesuto n'agamba nti Agulipa kabaka nammwe mwenna abali wano naffe, mumulaba ono, ekibiina kyonna eky'Abayudaaya gwe banneegayiririra mu Yerusaalemi ne wano nga boogerera waggulu nti tekimugwanidde kuba mulamu nate. |
| 25 |
| Naye nze ne ntegeera nga takoze kigambo ekisaanidde okumussa: naye ye bwe yajulira Augusito ne nsala okumuweerezaayo. |
| 26 |
| Sirina kigambo ku ye eky'amazima okuwandiikira mukama wange. Kyenvudde mmuleeta we muli, era okusinga w'oli, ggwe kabaka Agulipa, bwe tunaamala okumukemereza ndyoke mbeere n'ekigambo eky'okuwandiika. |
| 27 |
| Kubanga ndaba nga kya busiru okuweereza omusibe n'obutabuulira nsonga eziri ku ye. |
|
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/acts/025.mp3
28
25