BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Festo bwe yatuuka mu ssaza lye, oluvannyuma lw'ennaku ssatu, n'ava e Kayisariya n'ayambuka e Yeruzaalemu. |
| 2 |
| Bakabona abakulu n'abantu abakulu ab'Abayudaaya ne bamuloopera Pawulo. Ne bamwegayirira |
| 3 |
| abakolere ekisa, amusindike e Yeruzaalemu, sso nga baali bakola lukwe kumuttira mu kkubo. |
| 4 |
| Festo n'addamu nti Pawulo akuumirwa Kayisariya ate naye ng'anaatera okugendayo. |
| 5 |
| N'agamba nti: “Awo nno abalina obuyinza mu mmwe bajje tuserengete wamu; oba aliko omusango gwonna, bamulumirize.” |
| 6 |
| Bwe yamala nabo ennaku ezitasssuka munaana oba kkumi, n'akkirira nabo e Kayisariya. Ku lunaku olwaddako, n'atuula ku ntebe y'obulamuzi, n'alagira Pawulo aleetebwe |
| 7 |
| Bwe yatuuka, Abayudaaya abaali bavudde e Yeruzaalemu, ne bamwebungulula nga bamuvunaana ensonga nnyingi ate ennene, naye nga tebasobola kuzikakasa. |
| 8 |
| Pawulo mu kwewozaako n'agamba nti: “Nze Etteeka sirikolanga kibi, wadde okukikola Ekiggwa oba Kayisari.” |
| 9 |
| Naye Festo n'ayagala okusanyusa Abayudaaya, n'agamba Pawulo nti: “Okkiriza okwambuka e Yeruzaalemu owozesebwe eyo ku ebyo mu maaso gange?” |
| 10 |
| Pawulo n'agamba nti: “Nnyimiridde mu maaso g'entebe y'obulamuzi eya Kayisari we nnina okuwozesebwa. Abayudaaya sibasobyanga, nga naawe bw'omanyidde ddala. |
| 11 |
| Obanga nasobya, obanga nnina kye nakola ekiŋŋwanyiza okufa, kale sigaana kufa. Naye obanga bano bye banvunaana temuli kantu, mpaawo muntu anampaayo gye bali. Njulidde Kayisari.” |
| 12 |
| Awo Festo bwe yamala okuteesaamu n'olukiiko, n'addamu nti: “Ojulidde Kayisari, kale ewa Kayisari gy'onoogenda.” |
| 13 |
| Nga wayiseewo ennaku, kabaka Agrippa ne Berunike ne bajja e Kayisariya okulamusa ku Festo. |
| 14 |
| Nga bamazeeyo ennaku nnyingiko, Festo n'ayanjulira kabaka ensonga za Pawulo, n'agamba nti: “Wano waliwo omusajja Felikisi gwe yaleka mu kkomera nga musibe. |
| 15 |
| Bwe nali e Yeruzaalemu, bakabona abakulu n'abakadde ab'Abayudaaya bambuulira ku ye, ne banneegayirira okumusalira omusango. |
| 16 |
| Ne mbaddamu nti eyo si mpisa ya Baroma okuwaayo oli ng'omuwawaabirwa tannasisinkana maaso ku maaso n'abamuwawaabira, era nga tannaweebwa mukisa kwewozaako ku ebyo ebimuwawaabirwa. |
| 17 |
| Bwe baakuŋŋaanira wano, saabandaala, ku lunaku olwaddako, ne ntuula ku ntebe y'obulamuzi, ne ndagira omusajja bamuleete. |
| 18 |
| Abawaabi bwe beesimbawo, tebaaleeta nsonga ya bumenyi bwa mateeka nga nze bwe nali nnindiridde. |
| 19 |
| Wabula baalina nkaayana naye ku ddiini yaabwe ne ku Yezu omu mbu eyafa, naye Pawulo gwe yali akakasa nti mulamu. |
| 20 |
| Nze bwe nasoberwa ku ngeri y'okubuulirizaamu ku bino, ne mmubuuza obanga akkiriza okugenda e Yeruzaalemu n'okuwozesebwa eyo ku ebyo. |
| 21 |
| Ye Pawulo n'asaba akuumirwe mu busibe okutuusa Kabaka Omutiibwa lw'aliwa ensala ye. Ne mmulagira akuumibwe okutuusa lwe ndimuweereza ewa Kayisari.” |
| 22 |
| Agrippa n'agamba Festo nti: “Nange nandyagadde okuwulira ku musajja oyo yennyini.” Festo n'agamba nti: “Kale, enkya onoomuwulira.” |
| 23 |
| Enkeera, Agrippa ne Berunike, ne bajja mu kitiibwa kinene, ne bayingira mu masengere nga bali n'abakulu b'abaserikale n'abakulu b'ekibuga. Festo n'alagira ne baleeta Pawulo. |
| 24 |
| Festo n'agamba nti: “Agrippa Kabaka, nammwe mwenna abasajja abakuŋŋaanye wano naffe, omusajja ono mumulabye, Abayudaaya bonna gwe bansaba e Yeruzaalemu na wano, nga baleekaana nti tasaanye kusigala nga mulamu. |
| 25 |
| Naye nze nasanga nga taliiko kye yakola kimugwanyiza kufa, naye kubanga yajulira Kabaka Omutiibwa, nange nakkiriza okumuweerezaayo. |
| 26 |
| Naye nno, siraba bikakafu ku ye bye mpandiikira mukama wange; kyenvudde mmuleeta mu maaso gammwe, naddala mu maaso go, Kabaka Agrippa, ng'amaze okubuuzibwa, nfune kye mpandiika. |
| 27 |
| Anti ndowooza nga tekiriimu makulu okuweereza omusibe n'ototegeeza bimuvunaanibwa.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/acts/025.mp3
28
25