N'okukola ne nkolanga bwe ntyo e Yerusaalemi nze ne nsibanga mu makomera abatukuvu baamu bangi, bwe nnaweebwa obuyinza eri bakabona abakulu, era bwe battibwa, ne nzikiriza okubatta.
Era bwe nnababonerezanga emirundi mingi mu makuŋŋaaniro gonna ne mbawalirizanga okuvvoola; ne mbasunguwaliranga nnyo ne mbayigganyanga okutuukai mu bibuga eby'ebweru.
Ne tugwa fenna wansi ne mpulira eddoboozi nga lyogera nange mu lulimi Olwebbulaniya nti Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki? kye kizibu ggwe okusamba ku miwunda.
Kale bwe nnafuna okubeerwa okwava eri Katonda, okutuusa ku lunaku luno nnyimiridde nga ntegeeza abato n'abakulu, nga soogera kigambo wabula bannabbi ne Musa bye baayogera nga bigenda okujja;
Kubanga kabaka amanyi ebigambo bino, gwe njogerera mu maaso ge n'obugumu. Kubanga mmanyi ebigambo bino tebyekwese eri kabaka n'ekimu; kubanga ekyo tekyakolebwa mu bubba.
Pawulo n'agamba nti Nandisabye Katonda olw'okusendasenda okutono oba okunene si ggwe wekka era naye ne bonna abampulira leero okufuuka nga nze awatali kusibibwa kuno.