N'okukola ne nkolanga bwe ntyo e Yerusaalemi: nze ne nsibanga mu makomera abatukuvu baamu bangi, bwe nnaweebwa obuyinza okuva eri bakabona abakulu, era bwe battibwa, ne nzikiriza okubatta.
Era bwe nnababonerezanga emirundi mingi mu makuŋŋaaniro gonna ne mbawalirizanga okuvvoola; ne mbasunguwaliranga nnyo ne mbayigganyanga okutuuka mu bibuga eby'ebweru.
Ne tugwa fenna wansi ne mpulira eddoboozi nga lyogera nange mu lulimi Olwebbulaniya nti, ‘Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki? kye kizibu ggwe okusamba ku miwunda.’
bakyuke okuva mu kizikiza badde eri omusana n'okuva mu buyinza bwa Setaani badde eri Katonda, balyoke baweebwe okuggyibwako ebibi n'obusika mu abo abaatukuzibwa olw'okukkiriza nze.’
Kale bwe nnafuna okubeerwa okwava eri Katonda, okutuusa ku lunaku luno nnyimiridde nga ntegeeza abato n'abakulu, nga soogera kigambo wabula bannabbi ne Musa bye baayogera nga bigenda okujja;
Kubanga kabaka amanyi ebigambo bino, gwe njogerera mu maaso ge n'obugumu. Kubanga mmanyi ebigambo bino tebyekwese eri kabaka n'ekimu; kubanga ekyo tekyakolebwa mu bubba.
Pawulo n'addamu nti, Nsaba Katonda, mu kaseera katono, oba mu kiseera kinene, si ggwe wekka era naye ne bonna abampulira leero okufuuka nga nze, okuggyako enjegere zino ezinsibiddwa.”