Bannaggwanga bwe baalaba ekyekulula nga kireebeetera ku mukono, ne bagamba bokka na bokka nti Mazima omuntu ono mussi; newakubadde ng'alokose mu nnyanja, omusango tegumuganya kubeera mulamu.
Naye bali ne balowooza nti anaazimba oba anaasinduka, okugwa eri nga mufu: naye bwe baalwawo ennyo nga bamutunuulira ne batalaba kibi ky'abaddeko, ne bakyuka ne bagamba nti katonda.
ne tuvaayo ne twetooloola ne tutuuka e Regio: bwe waayitawo olunaku lumu, empewo ez'omuggundu ne zikunta, ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka e Putiyooli;
Ab'oluganda bwe baawulira ebigambo byaffe ne bavaayo okutusisinkana mu Katale ka Apiyo ne mu Bisulo Ebisatu: Pawulo bwe yabalabako ne yeebaza Katonda n'aguma omwoyo.
Awo bwe waayitawo ennaku ssatu, n'ayita abakulu b'Abayudaaya: bwe baamala okukuŋŋaana n'abagamba nti Nze, abasajja ab'oluganda, newakubadde nga saakola kibi ku bantu newakubadde ku mpisa za bajjajjaffe, naye nnasibibwa ne mpeebwayo mu mikono gy'Abaruumi mu Yerusaalemi:
Bo ne bamugamba nti Ffe so tetuweebwanga bbaluwa za bigambo byo okuva mu Buyudaaya, so tewali ku b'oluganda eyali azze n'atubuulira oba n'ayogera ekigambo ekibi ku ggwe.
Ne bamulaga olunaku ne bajja bangi gy'ali mu kisulo; n'abannyonnyola ng'ategeeza obwakabaka bwa Katonda, era ng'abakkirizisa ebigambo bya Yesu mu mateeka ga Musa ne mu bya bannabbi okusooka enkya okutuusa akawungeezi.