ne bamutegeera nga ye wuuyo eyatuulanga ku luggi Olulungi olwa yeekaalu okusabirizanga effeeza, ne bawuniikirira nnyo n'okwewuunya olw'ekyo ekimukoleddwa.
Bwe yali ng'akyekutte Peetero ne Yokaana, ekibiina kyonna ne baddukana gye baali ne bakuŋŋaanira mu kisasi ekiyitibwa ekya Sulemaani nga beewuunya nnyo.
Katonda wa Ibulayimu era owa Isaaka era owa Yakobo, Katonda wa bajjajjaffe, yagulumiza Mulenzi we Yesu, gwe mwawaayo ne mumwegaanira mu maaso ga Piraato, bwe yamalirira okumuta.
eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa mu biro eby'okulongoosezaamu byonna, Katonda bye yayogereranga mu kamwa ka bannabbi be abatukuvu abaaliwo okuva ku lubereberye.
Mmwe muli baana ba bannabbi, era ab'endagaano Katonda gye yalagaana ne bajjajjammwe, ng'agamba Ibulayimu nti Ne mu zzadde lyo ebika byonna eby'ensi mwe biriweerwa omukisa.