1
Kabona omukulu n'amugamba nti: “Bwe biri bityo?”
2
Ye n'addamu nti: “Basajja abooluganda, bakitange, mumpulirize. Katonda ow'ekitiibwa yalabikira jjajjaffe Yiburayimu ng'akyali mu Mezopotamiya, nga tannasenga mu Karani,
3
n'amugamba nti: ‘Leka ensi yo n'eŋŋanda zo, ogende mu nsi gye ndikulaga.’
4
Awo kwe kuva mu nsi y'Abakaludeya n'abeera mu Karani. Kitaawe bwe yafa, Katonda n'amuggyayo, n'amuleeta mu nsi eno gye mulimu;
5
naye teyamuwaamu busika, newandibadde obuweza ekigere ekimu; kyokka n'amusuubiza okubumuwa bubeerere ddala bubwe n'ezzadde lye eririmuddirira, newandibadde nga mu bbanga eryo teyalina mwana.
6
Katonda n'amugamba bw'atyo, nti ezzadde lye liriba ggwiira mu nsi eddala eririfugirayo obuddu ne liriyisa bubi emyaka ebikumi bina.
7
Omukama n'agamba nti: ‘Naye eggwanga lye baliweereza mu buddu ndirisalira omusango; oluvannyuma balivaayo, ne bampeereza mu kifo kino.’
8
Awo n'amuwa endagaano y'okutayirirwa. Awo Yiburayimu n'azaala Yizaake, n'amutayirira ku lunaku olwomunaana; Yizaake n'azaala Yakobo, ne Yakobo n'azaala Bajjajjaffe Abakulu ekkumi n'ababiri.
9
“Bajjajjaffe Abakulu baakwatirwa Yozefu obuggya ne bamutunda mu Misiri. Naye Katonda n'abeera naye.
10
Yamuwonya ennaku ze zonna, n'amuwa okuganja n'amagezi eri Faraawo kabaka w'e Misiri; ye n'amufuula mufuzi mu Misiri ne ku nnyumba ye yonna.
11
Awo enjala n'egwa nnyingi mu nsi y'e Misiri ne mu Kanaani; obuyinike ne buba bungi; bajjajjaffe ne babulwa emmere.
12
Yakobo bwe yawulira nga mu Misiri eriyo ku ŋŋano, n'atumayo bajjajjaffe omulundi gwe omubereberye.
13
Ku mulundi ogwokubiri Yozefu ne yeeraga eri baganda be n'ekika kya Yozefu ne kimanyika ewa Faraawo.
14
Awo Yozefu n'atuma, n'ayita kitaawe Yakobo n'ab'oluganda lwe bonna; bonna wamu abantu nsanvu mu bataano;
15
Yakobo n'aserengeta mu Misiri; n'afa, ne bajjajjaffe nabo ne bafa.
16
Ne batwalibwa e Sekemu, ne baziikibwa mu ntaana Yiburayimu gye yali aguze n'omuwendo gwa ffeeza ku baana ba Emmori mu Sekemu.
17
“Obudde obw'ekisuubizo Katonda kye yali alazaanyizza Yiburayimu bwe bwatuuka, abantu ne baala, ne babeera bangi mu Misiri,
18
okutuusa lwe waasitukawo kabaka omulala mu Misiri ataamanya ku Yozefu.
19
Ono n'asalira eggwanga lyaffe enkwe, n'akaka bajjajjaffe okubasuuza abaana baabwe abawere baleme kulama.
20
Mu budde obwo ne Musa we yazaalirwa, nga mulungi mu maaso ga Katonda, n'alerebwa emyezi esatu mu nnyumba ya kitaawe.
21
Bwe yamala okusuulibwa, muwala wa Faraawo n'amwetwalira n'amukuza ng'omwana we.
22
Musa n'agunjulwa mu magezi gonna ag'Abamisiri, nga wa maanyi mu bigambo ne mu bikolwa bye.
23
“Bwe yaweza emyaka ana, ekirowoozo ne kimujjira mu mwoyo eky'okulambula baganda be, abaana ba Yisirayeli.
24
Bwe yalaba omu ng'akolerwa bubi, n'amutaasa, n'awoolera eggwanga olw'oyo eyali anyigirizibwa, n'atta Omumisiri.
25
Ye yali alowooza nti baganda be bategedde nti Katonda anaabanunula n'omukono gwe, naye bo tebaategeera.
26
Olunaku olwaddirira, n'ajja gye bali nga balwana, n'agezaako okubatabaganya ng'agamba nti: ‘Basajja battu, muli ba luganda; lwaki mukoleragana obubi?’
27
Naye oli eyali akolera munne obubi n'amusindika eri, n'amugamba nti: ‘Ani yakussaawo ng'omukulu era omulamuzi waffe?
28
Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri jjo?’
29
Musa bwe yawulira ekigambo ekyo, n'adduka, n'awaŋŋangukira mu nsi y'e Midiyaani, gye yazaalira abaana babiri.
30
“Nga wayise emyaka ana, malayika n'amulabikira mu ddungu ku lusozi Sinayi, mu lulimi lw'omuliro mu kisaka.
31
Musa bwe yalaba, ne yeewuunya ekyo kye yali alabye; bwe yasembera okwekkaanya,
32
eddoboozi ly'Omukama ne lyogera nti: ‘Nze Katonda wa bajjajjaabo, Katonda wa Yiburayimu, Katonda wa Yizaake, Katonda wa Yakobo.’ Musa n'ajugumira, n'ataguma na kwetegereza.
33
Omukama n'amugamba nti: ‘Naanula engatto mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu ttaka ttukuvu.
34
Mazima ndabye okubonaabona kw'abantu bange mu Misiri, mpulidde emiranga gyabwe, ne nzikirira mbawonye. Kale nno, genda, nkutuma mu Misiri.’
35
“Musa oyo gwe baali bagaanyi nga bawoza mbu: ‘Ani yakussaawo ng'omukulu era omulamuzi waffe?’ Katonda gwe yatuma ng'omukulu era omununuzi n'omukono gwa malayika eyamulabikira mu kisaka.
36
Yabaggyayo ng'amaze okukola ebyewuunyo n'obubonero mu nsi y'e Misiri ne mu Nnyanja Emmyufu ne mu ddungu okumala emyaka amakumi ana.
37
Ye Musa eyagamba Abayisirayeli nti: ‘Katonda alibasibusiza omulanzi okuva mu baganda bammwe ali nga nze.’
38
Ye wuuyo eyabeeranga n'ekibiina mu ddungu wamu ne malayika eyayogeranga naye ku lusozi Sinayi, era eyabeeranga ne bajjajjaffe, eyafuna ebigambo ebiramu okubituwa.
39
Bajjajjaffe baagaana okumugondera, ne bamusindiikiriza eri, mu mitima gyabwe ne baddayo mu Misiri.
40
Ne bagamba Aroni nti: ‘Tukolere balubaale batukulembere; ono Musa eyatuggya mu nsi y'e Misiri tetumanyi ky'abadde.’
41
Ne bakola akayana mu nnaku ezo, ne batambirira ekifaananyi ekyo, ne basanyukira kye baali bakoze n'emikono gyabwe.
42
Katonda n'akyuka n'abawaayo mu kusinza nnamunkukumbo w'eggulu, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky'abalanzi nti: “ ‘Si mwampeereza ebitambiro n'ebitone, emyaka amakumi ana mu ddungu, nnyumba ya Yisirayeli?
43
Mwasitula weema ya Moloki, n'emmunyeenye ya lubaale Romufa, ebifaananyi bya balubaale bye mwakola mubisinze; kale nange nzija kubawaŋŋangusa n'okuyisa Babiloni.’
44
“Bajjajjaffe baabeeranga ne Weema y'Obujulirwa mu ddungu; ng'oyo eyayogera ne Musa bwe yali amulagidde okugikola ng'agoberera enfaanana gye yali alabye.
45
Bajjajjaffe baamala okugifuna, ne bagireeta wamu ne Yoswa bwe baamala okulya ensi y'ab'amawanga Katonda be yagoberawo bajjajjaffe. Bwe kityo bwe kyali okutuusa mu biro bya Dawudi.
46
Ono yaganja mu maaso ga Katonda, n'asaba afunire Ennyumba ya Yakobo ekisulo.
47
Naye Solomoni ye yamuzimbira ennyumba.
48
Kyokka Ali Waggulu Ddala tasula mu nnyumba zizimbiddwa mikono, ng'omulanzi bw'agamba nti:
49
“ ‘Eggulu ye nnamulondo yange, ate ensi ke katebe k'ebigere byange; nnyumba ki gye munanzimbira, Omukama y'agamba, Kifo ki mwe nnaawummulira?
50
Kazzi bino byonna si mukono gwange gwe gwabikola?’
51
“Mmwe ab'ensingo enkakanyavu, ab'emitima n'amatu ebitali bitayirire, bulijjo muwaganyalira Mwoyo Mutuukirivu. Nga bajjajjammwe bwe baali, nammwe bwe muli.
52
Mu balanzi bajjajjammwe ani gwe bataayigganya? Batta n'abo abaali balanze okujja kw'Omutuukirivu, kati mmwe gwe mwalyamu olukwe ne mumutemula;
53
mmwe abaafuna Etteeka nga bwe lyaweebwa bamalayika, naye ne mutalikwata.”
54
Olwawulira ebyo, ne batwagga emitima, ne bamulumira obujiji.
55
Naye ye ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, n'atunuulira eggulu enkaliriza, n'alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yezu ng'atudde ku gwa ddyo gwa Katonda;
56
n'agamba nti: “Laba, ndaba eggulu libikkuse n'Omwana w'Omuntu ng'atudde ku gwa ddyo gwa Katonda.”
57
Bo ne baleekaana n'eddoboozi ddene nga bazibiikiriza amatu gaabwe, bonna wamu ne bamugwira,
58
ne bamusuula ebweru w'ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abaaliwo ng'abajulirwa ne bassa ebyambalo byabwe ku bigere by'omuvubuka ayitibwa Sawulo.
59
Stefano bwe baabanga bamukuba amayinja, eno nga ye yeegayirira, ng'agamba nti: “Ayi Mukama Yezu, twala omwoyo gwange.”
60
N'afukamira, n'ayogera n'eddoboozi ddene nti: “Ayi Mukama, tobassaako musango guno.” Bwe yasirissa ebyo, ne yeebaka.
Luganda Bible
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION The Bible Society of Uganda, 2018.