Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Nze Pawulo, omuddu wa Yesu Kristo, Mukama waffe Kristo, nayitibwa okuba omutume, eyayawulibwa okubuulira Enjiri ya Katonda, |
| 2 |
| gye yasuubiriza mu bannabbi be mu byawandiikibwa ebitukuvu, |
| 3 |
| ebyogera ku Mwana we, eyava mu zadde lya Dawudi mu mubiri, |
| 4 |
| eyakakasibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi aga Mwoyo Mutukuvu olw’okuzuukira kw’abafu, ye Yesu Kristo Mukama waffe. |
| 5 |
| Mu Yesu Kristo Mukama waffe, mwe twaweerwa ekisa, ne mpitibwa okuba omutume, amawanga gonna galyoke gamugondere mu kukkiriza ku lw’erinnya lye. |
| 6 |
| Nammwe muli mu abo abaayitibwa okuba abayigirizwa ba Yesu Kristo. |
| 7 |
| Mpandikira abo bonna ababeera mu Ruumi, abaagalwa ba Katonda, abaayitibwa okuba abatukuvu. Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe, bibeerenga nammwe. |
| 8 |
| Okusooka neebaza nnyo Katonda wange ku lwammwe mwenna, ku bwa Yesu Kristo, olw’okukkiriza kwammwe okunywevu okwogerwako mu nsi yonna. |
| 9 |
| Katonda gwe mpeereza n’omutima gwange gwonna nga mbulira Enjiri ey’Omwana we, ye mujulirwa wange, nga bwe mbasabira bulijjo, |
| 10 |
| nga mbegayiririra bulijjo mu kusaba kwange, ndyoke nsobole okubatuukako nga Katonda bw’anaayagala. |
| 11 |
| Kubanga neesunga nnyo okubalaba, ndyoke mbawe ku kirabo eky’omwoyo, mulyoke munywezebwe okutuuka ku nkomerero, |
| 12 |
| kwe kugamba: twezengamu amaanyi ffekka ne ffekka olw’okukkiriza kwe tulina. |
| 13 |
| Wabula njagala mumanye kino, abooluganda nti, Emirundi mingi nateekateeka okujja gye muli naye ne nziyizibwa okutuusa kaakano, ndyoke nkungule ebibala mu mmwe, nga bwe kiri mu mawanga amalala. |
| 14 |
| Kubanga nnina ebbanja eri Abayonaani n’abatali Bayonaani, n’eri ab’amagezi n’eri abasirusiru, |
| 15 |
| era nammwe ab’e Ruumi kyenva njagala okubabuulira Enjiri. |
| 16 |
| Enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola buli muntu akkiriza, okusooka eri Omuyudaaya n’eri Omunnamawanga. |
| 17 |
| Kubanga mu yo obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa. Obutuukirivu obwo butuweebwa olw’okukkiriza, olw’okukkiriza kwokka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Abatuukirivu banaabeeranga balamu lwa kukkiriza.” |
| 18 |
| Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibbwa okuva mu ggulu ku abo abatatya Katonda bonna n’abakaafiiri bonna ku bye bakola okuziyiza amazima okuvaayo. |
| 19 |
| Kubanga ebisoboka okumanyibwa ku Katonda bibabikkuliddwa, kubanga Katonda abibalaze byonna mu bujjuvu. |
| 20 |
| Kubanga okuviira ddala ku kutondebwa kw’ensi, ebintu bye ebitalabika, bwe buyinza bwe obutaggwaawo n’obwa Katonda bwe, bitegeerwa ne birabikira ddala mu by’obutonde bwe, abantu balyoke baleme kubaako na kya kwewolereza. |
| 21 |
| Kubanga newaakubadde nga Katonda bamumanyi, tebaamugulumiza nga Katonda wadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne gujjuzibwa ekizikiza. |
| 22 |
| Beeyita ab’amagezi ne bafuuka abasirusiru, |
| 23 |
| ne bawanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okukifaananyiriza ekifaananyi ky’omuntu aggwaawo, n’eky’ebinyonyi, n’eky’ebirina amagulu ana n’eky’ebyewalula. |
| 24 |
| Katonda kyeyava abaleka, emitima gyabwe ne girulunkanira eby’obugwagwa ne bawemula emibiri gyabwe bokka na bokka. |
| 25 |
| Ne bafuula amazima ga Katonda okuba obulimba ne basinza era ne baweereza ebitonde, mu kifo ky’okusinza eyabitonda, eyeebazibwa emirembe n’emirembe. Amiina. |
| 26 |
| Katonda kyeyava abaleka ne beeyongera mu kwegomba kwabwe okw’obuwemu. Abakazi baabwe baawanyisa enkolagana yaabwe ey’obuzaaliranwa n’abasajja, ne bakola ebitali bya buzaaliranwa. |
| 27 |
| Abasajja nabo baalekayo okwegatta ne bakazi baabwe mu ngeri ey’obuzaaliranwa, ne bajjuzibwa obukaba ne beegatta ne basajja bannaabwe. N’ekyava mu bikolwa ebyo eby’obugwagwa, kwe kusasulibwa empeera esaanira okwonoona kwabwe. |
| 28 |
| Bwe baagaana okumanya Katonda, Katonda kyeyava abaleka ne babeera n’omutima omwonoonefu ne bakola ebitasaana. |
| 29 |
| Bajjuzibbwa obutali butuukirivu bwonna, n’ebibi, n’omululu, n’obukyayi, n’obuggya, n’obussi, n’entalo, n’obulimba, n’enkwe, n’okwogera ebitasaana, nga basala ku bannaabwe ebigambo, |
| 30 |
| era nga bageya, nga bakyawa Katonda, nga bavuma bannaabwe, nga bajjudde amalala n’okwekulumbaza, nga bagunjawo enkola y’ebikyamu, era nga bajeemera bakadde baabwe. |
| 31 |
| Tebategeera so tebalina kukkiriza, tebalina kwagala, era tebalina mutima gusaasira. |
| 32 |
| Newaakubadde nga bamanyi nga Katonda yagamba nti abantu abakola ebintu ng’ebyo balizikirizibwa, tebakoma ku kubikola kyokka, naye basiima n’abo ababikola. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/romans/001.mp3
16
1