BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Abooluganda, omutima gwange kye gwegomba era kye nsaba Katonda mu ssaala ku lwabwe kye kino, nti batuuke ku kulokoka. |
| 2 |
| Nange mbajulira nti batakabanira Katonda naye tebamanyi kukikola bulungi. |
| 3 |
| Kubanga olw'obutamanya butuukirivu buva wa Katonda, baageza okutuuka ku butuukirivu mu ngeri eyaabwe ku bwabwe, tebaagondera butuukirivu bwa Katonda. |
| 4 |
| Anti Kristu ye nkomerero y'Etteeka, buli yenna amukkiriza afuuke omutuukirivu. |
| 5 |
| Musa yawandiika nti omuntu atuukiriza obutuukirivu obuli mu Tteeka, oyo aliba abutuusizza, aliba mulamu olw'okubeera bwo. |
| 6 |
| Sso obutuukirivu obuva mu kukkiriza bwo bugamba nti: “Togambanga mu mutima gwo nti: ‘Ani anaayambukayo mu ggulu?’ - kwe kugamba nti okunonayo Kristu. |
| 7 |
| Oba nti: ‘Ani alikka mu nnyanga?’ - kwe kugamba nti okuzuukiza Kristu mu bafu.” |
| 8 |
| Ekitabo ekitukuvu kigamba kitya? Kigamba nti: “Ekigambo kikuli kumpi, kiri mu kamwa ko ne mu mutima gwo” – kwe kugamba nti ekigambo ky'okukkiriza kye tuyigiriza. |
| 9 |
| Kubanga bw'oyatula n'akamwa ko nti Yezu ye Mukama, ate mu mutima gwo n'okkiriza nga Katonda yamuzuukiza mu bafu, olirokoka. |
| 10 |
| Omuntu bw'akkiriza n'omutima gwe, n'afuuka mutuukirivu; bw'ayatula n'akamwa ke, alokoka. |
| 11 |
| Anti Ekiwandiiko ekitukuvu kigamba nti: “Buli yenna amukkiriza taliswazibwa.” |
| 12 |
| Tewali nno njawulo, oba Muyudaaya oba Mugereeki, anti ng'Omukama wa bonna ye omu, agabira ebingi bonna abamukoowoola. |
| 13 |
| Anti: “Buli alikoowoola erinnya ly'Omukama aliwonyezebwa.” |
| 14 |
| Naye abantu balimukoowoola batya gwe batakkiriza, ate balimukkiriza batya gwe batawulirangako? Baliwulira batya awatali ayigiriza? |
| 15 |
| Abantu baliyigiriza batya wabula beppo nga batumiddwa? Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Ebigere by'abo abalangirira amawulire amalungi nga bisanyusa!” |
| 16 |
| Kyokka si bonna nti baagondera Evangili; anti Yisaaya agamba nti: “Ayi Mukama, ani yakkiriza bye yawulira okuva gye tuli?” |
| 17 |
| Awo nno okukkiriza kuva mu kuwulira, ate ekiwulirwa kiva mu kigambo kya Kristu ky'ayogera. |
| 18 |
| Naye mbuuza, tebawuliranga? Okuwulira baawulira; manyanga: “Eddoboozi lyabwe lyatuuka mu nsi yonna, ebigambo byabwe ku nkingi z'ensi.” |
| 19 |
| Era mbuuza, Yisirayeli teyamanya? Musa ye yasooka n'agamba nti: “Nzija kubakwasisa obuggya ku bantu abatali ggwanga; mbanyiize n'eggwanga essiru.” |
| 20 |
| Ne Yisaaya n'agamba n'obuvumu nti: “Nazuulibwa abo abatannoonyangako; nalabibwa abo abatanneebuuzanga.” |
| 21 |
| Bw'atuuka ku Yisirayeli n'agamba nti: “Namala olunaku lwonna emikono gyange nga njanjululizza eri abantu abatampuliriza, abampakanya.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/romans/010.mp3
16
10