Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Abooluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsabira Abayisirayiri eri Katonda, kwe kulokolebwa. |
| 2 |
| Kubanga nkakasa nga balina obunyiikivu eri Katonda, naye si mu kutegeera. |
| 3 |
| Mu butamanya butuukirivu bwa Katonda, bagezaako okwenoonyeza obutuukirivu, nga bagondera amateeka mu kifo ky’okugondera obutuukirivu bwa Katonda. |
| 4 |
| Kristo atuwa amakulu amajjuvu, buli amukkiriza n’amuwa obutuukirivu. |
| 5 |
| Musa awandiika ku butuukirivu obuva mu mateeka nti, “Omuntu alikola ebintu ebyo aliba mulamu mu byo.” |
| 6 |
| Naye okukkiriza okuva mu butuukirivu, kugamba nti, “Toyogeranga mu mutima gwo nti, ‘Ani alirinnya mu ggulu?’ (kwe kuggya Kristo mu ggulu) |
| 7 |
| newaakubadde okugamba nti, ‘Ani alikka emagombe?’ (kwe kuggya Kristo mu bafu.)” |
| 8 |
| Abo bonna abalina okukkiriza mu Kristo bagamba nti, “Ekigambo kiri kumpi naawe, kiri mu kamwa ko era kiri mu mutima gwo,” kye kigambo eky’okukkiriza kye tubuulira. |
| 9 |
| Bw’oyatula n’akamwa ko nti, Yesu ye Mukama, n’okkiriza n’omutima gwo nga Katonda yamuzuukiza mu bafu, olokoka. |
| 10 |
| Kubanga omuntu akkiriza na mutima gwe n’aweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa ke n’alokoka. |
| 11 |
| Kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Buli amukkiriza taliswazibwa.” |
| 12 |
| Tewali njawulo wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, kubanga Mukama waabwe y’omu era ayanukula abo bonna abamukoowoola. |
| 13 |
| Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka. |
| 14 |
| Kale balikoowoola batya oyo gwe batakkiririzaamu? Era balikkiriza batya oyo gwe batawulirangako? Era baliwulira batya awatali abuulira? |
| 15 |
| Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, “Ebigere by’abo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi.” |
| 16 |
| Naye si bonna abaagondera Enjiri. Isaaya agamba nti, “Mukama, waliwo akkirizza obubaka bwaffe?” |
| 17 |
| Noolwekyo okukkiriza kujja olw’okuwulira ekigambo kya Kristo. |
| 18 |
| Naye mulowooza Abayisirayiri tebaawulira? Weewaawo baawulira. Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Eddoboozi lyabwe lyabuna mu nsi zonna, n’ebigambo byabwe byatuuka ku nkomerero z’ensi.” |
| 19 |
| Abayisirayiri baabitegeera oba tebaabitegeera? Bw’ati Musa bw’addamu ekibuuzo ekyo: “Ndibaleetera okukwatirwa obuggya abatali ggwanga, ne mbasunguwaza olw’eggwanga eritalina kutegeera.” |
| 20 |
| Ne Isaaya yali muvumu bwe yagamba nti, “Nazuulibwa abo abatannoonya, ne ndabika eri abo abatambuulirizaako.” |
| 21 |
| Naye eri Isirayiri agamba nti, “Olunaku lwonna nalumala nga ngolodde emikono gyange eri eggwanga ekkakanyavu era abantu abeewaggula.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/romans/010.mp3
16
10