BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Awo nno mbuuza, Katonda yayabulira abantu be? N'akatono! Nze nzennyini ndi Muyisirayeli, muzzukulu wa Yiburayimu, ow'omu kika kya Benyamiini. |
| 2 |
| Katonda tasuuliriranga bantu be be yamanya okuva edda. Temumanyi Ebiwandiiko ebitukuvu kye byogera ku Eliya ng'alaajanira Katonda olw'Abayisirayeli, nti: |
| 3 |
| “Ayi Mukama, abalanzi bo babasse, emyaliiro gyo bagisimbuddewo; nze nzekka nze nsigaddewo, ate nange bannoonya okunzita.” |
| 4 |
| Katonda okumwanukula yamugamba atya? Yamugamba nti: “Neeterekeddewo abasajja kasanvu abatakubiranga Baali mavi.” |
| 5 |
| Bwe guli na kati; waliwo abaasigalawo, eneema be yeeroboza. |
| 6 |
| Oba nno neema, awo nno sibaalobozebwa lwa bikolwa, kubanga olwo eneema teyandibadde neema n'akamu. |
| 7 |
| Awo nno kiki? Yisirayeli yalemwa okufuna kye yali agoba; abalondemu be bakifunye; abasigaddewo baaguguba, |
| 8 |
| nga bwe kyawandiikibwa nti: “Katonda yabawa omwoyo gw'otulo otungi, amaaso agataalabe, n'amatu agataawulire n'okutuusa ku lunaku luno olwa leero.” |
| 9 |
| Dawudi naye n'agamba nti: “Olujjuliro lwabwe lubafuukire omutego, ekitimba, ekyesittazo, ekibonerezo; |
| 10 |
| amaaso gaabwe gajjeko ekifu, baleme kulaba, n'emigongo gyabwe gibenduke ennaku zonna.” |
| 11 |
| Awo nno mbuuza, beesittala ne bagwa? N'akatono! Kyokka olw'okusobya kwabwe okulokoka kwatuuka ku b'amawanga Yisirayeli alyoke akwatibwe obuggya. |
| 12 |
| Oba okusobya kwagaggawaza ensi, era bo okulemwa nga kyagaggawaza ab'amawanga, obugagga bulyenkana wa Yisirayeli yenna ng'akkiriza? |
| 13 |
| Kati ab'amawanga mmwe ŋŋamba: Nga nkyali Mutume w'amawanga, omulimu gwange nagussangamu ekitiibwa, |
| 14 |
| nga njagala mu b'olulyo lwange nsiikuulemu obuggya, mbeeko abamu mu bo be ndokola. |
| 15 |
| Oba okubasuula kyaleeta okutabagana kw'ensi, okubakkiriza kiritegeeza ki? Si kuzza bulamu ababadde abafu? |
| 16 |
| Ebibala ebisooka bwe biba ebitukuvu, n'obutta bwonna buba butukuvu; ekikolo bwe kiba ekitukuvu, n'amatabi gonna bwe gaba. |
| 17 |
| Naye singa amatabi agamu gawawaagulwako, ate ggwe oliva ey'oku ttale, ne bakuwaayira kuli mu kifo kyago, okugabana ku bugimu bw'oliva, |
| 18 |
| leka nno kwetendera ku matabi; bw'oba weetenda jjukira nti si ggwe owaniridde ekikolo, ekikolo kye kikuwaniridde. |
| 19 |
| Ojja kugamba nti: “Anti amatabi gaawawaagulwako nze bampaayireko.” |
| 20 |
| Kituufu. Gaawawaagulwako olw'obutakkiriza; ggwe wooli lwa kubeera kukkiriza. Awo nno leka kwetenda, tya buti. |
| 21 |
| Obanga Katonda amatabi agaakulirako teyagasaasira, nammwe tagenda kubasaasira. |
| 22 |
| Mutegeere nno ekisa kya Katonda ate n'obukambwe bwe. Bukambwe ku bali abaagwa, naye ku mmwe kisa kya Katonda singa musigala mu kisa kye, oba si ekyo nammwe mulitemwako. |
| 23 |
| Na bali nabo bwe bataligugubira mu butakkiriza bwabwe, baliwaayirwako, kubanga Katonda asobola bulungi okubawaayirako ogwokubiri. |
| 24 |
| Oba wasalibwa ku oliva ey'oku ttale kwe wakulira ne bakuwaayira ku oliva ennime, mu butonde ekitali kya bulijjo, nga kiriba kyangu amatabi agaakulirako okuddamu okuwaayirwa ku oliva yaago. |
| 25 |
| Abooluganda, saagala mubeere awo nga temumanyi kyama kino, sikulwa nga mweyita abagezi: okuguguba kwajjira kitundu butundu eky'Abayisirayeli, okutuusa ab'amawanga bonna lwe bannaggwayo okuyingira, |
| 26 |
| olwo nno Abayisirayeli bonna ne balyoka balokoka, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Omulokozi aliva mu Siyoni, aliggyawo mu Yakobo obukafiiri bwonna; |
| 27 |
| eno y'eriba endagaano yange nabo, bwe ndiggyawo ebibi byabwe.” |
| 28 |
| Weewaawo okusinziira ku Vangili balabe ba Katonda olw'okubeera mmwe; naye okusinziira ku kulondebwa kwabwe, bakyali baganzi olw'okubeera bajjajjaabwe. |
| 29 |
| Katonda bw'agaba oba bw'ayita, teyejjusa. |
| 30 |
| Nga mmwe luli bwe mwali mutawulira Katonda, ate kati n'abagirira ekisa olw'okubeera obutawulira bwa bali, |
| 31 |
| nabo kati tebawulira olw'okubeera ekisa ekibagiriddwa nabo balyoke basaasirwe. |
| 32 |
| Kubanga Katonda abantu bonna yabasibira mu butawulira alyoke bonna abasaasire. |
| 33 |
| Obugagga, amagezi n'okumanya kwa Katonda nga biwanvu kuzimiriza! By'ateesa nga tebyefumiitirizika, n'amakubo ge nga tegawenjeka! |
| 34 |
| Ani yali ategedde Omukama by'alowooza? Ani yali amusalidde ku magezi? |
| 35 |
| Ani yali amutonedde nti ye kati amuddize? |
| 36 |
| Kubanga byonna byava mu ye, byayita mu ye era bidda wuwe. Atenderezebwe emirembe gyonna. Amiina. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/romans/011.mp3
16
11