|
| 1 |
|
| Kyenvudde mbeegayirira, ab'oluganda, olw'okusaayi: kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw'amagezi. |
|
| 2 |
|
| So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwenga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by'ayagala, ebirungi ebisanyusa, ebituufu. |
|
| 3 |
|
| Kubanga njogera, olw'ekisa kye nnaweebwa, eri buli muntu ali mu mmwe, alemenga okwerowooza okusinga bwe kimugwanidde okulowooza; naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky'okukkiriza. |
|
| 4 |
|
| Kubanga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu naye ebitundu byonna tebirina mulimu gumu: |
|
| 5 |
|
| bwe kityo ffe abangi tuli omubiri gumu mu Kristo, na buli muntu tuli ebitundu bya bannaffe fekka na fekka. |
|
| 6 |
|
| Era nga bwe tulina ebitenkanankana ng'ekisa kye twawebwa bwe kiri, oba bunabbi (tubuulirenga) mu kigera ky'okukiriza kwaffe; |
|
| 7 |
|
| oba kuweereza, tunyiikirenga mu kuweereza kwaffe; |
|
| 8 |
|
| oba ayigiriza, anyiikirenga mu kuyigiriza kwe; oba abuulirira, mu kubuulirira kwe: agaba, agabenga awatali bukuusa; afuga afugenga n'okunyiikira; asaasira asaasirenga n'essanyu. |
|
| 9 |
|
| Okwagala kubeerenga kwa mazima. Mukyawenga obubi, mwegattenga n'obulungi. |
|
| 10 |
|
| Mu kwagala kw'ab'oluganda mwagalanenga mwekka ne mwekka; mu kitiibwa buli muntu agulumizenga munne; |
|
| 11 |
|
| mu kunyiikira si bagayaavu; abasanyufu mu mwoyo; nga mubeeranga baddu ba Mukama waffe; |
|
| 12 |
|
| musanyukenga mu kusuubira; mugumiikirizenga mu bunaku; munyiikirenga mu kusaba; |
|
| 13 |
|
| mugabirenga abatukuvu bye beetaaga; mwanirizenga abagenyi. |
|
| 14 |
|
| Musabirenga ababayigganya; musabirenga, so temukolimanga. |
|
| 15 |
|
| Musanyukirenga wamu n'abo abasanyuka; mukaabirenga wamu n'abo abakaaba. |
|
| 16 |
|
| Mulowoozenga bumu mwekka na mwekka. Temwegulumizanga, naye mugendenga n'abo abatalina bukulu. Temubanga ba magezi mu maaso gammwe mwekka. |
|
| 17 |
|
| Temuwalananga muntu kibi olw'ekibi. Mwetegekenga ebirungi mu maaso g’abantu bonna. |
|
| 18 |
|
| Oba nga kiyinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n'abantu bonna. |
|
| 19 |
|
| Temuwalananga mwekka ggwanga, abaagalwa, naye waakiri musegulirenga obusungu: kubanga kyawandiikibwa nti Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw'ayogera Mukama. |
|
| 20 |
|
| Naye omulabe wo bw'alumwanga enjala, muliisenga; bw'alumwanga ennyonta, munywesenga kubanga bw'okola bw'otyo, olimukumira amanda g'omuliro ku mutwe gwe. |
|
| 21 |
|
| Towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw'obulungi. |
|
|
|
|