|
| 1 |
|
| Kyenvudde mbeegayirira, ab'oluganda, olw'okusaasira kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw'amagezi. |
|
| 2 |
|
| So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwenga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mutegeere ebyo Katonda by'ayagala, ebirungi, ebisanyusa era ebituufu. |
|
| 3 |
|
| Olw'ekisa kye nnaweebwa, mbeegayirira buli omu ku mmwe, alemenga okwerowooza okusinga bwe kimugwanidde okulowooza; naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky'okukkiriza. |
|
| 4 |
|
| Kuba nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, naye ebitundu byonna tebirina mulimu gumu, |
|
| 5 |
|
| bwe kityo ffe abangi tuli omubiri gumu mu Kristo, na buli muntu tuli ebitundu bya bannaffe fekka na fekka. |
|
| 6 |
|
| Era bwe tulina ebirabo ebitenkanankana ng'ekisa kye twaweebwa bwe kiri, tubikozesenga bwe tutyo, oba bunnabbi, tubuulirenga mu kigera ky'okukkiriza kwaffe; |
|
| 7 |
|
| oba kuweereza, tunyiikirenga mu kuweereza kwaffe; oba ayigiriza, anyiikirenga mu kuyigiriza kwe. |
|
| 8 |
|
| Abuulirira, anyiikirenga mu kubuulirira kwe; agaba, agabenga awatali bukuusa; afuga afugenga n'okunyiikira; n'oyo asaasira, asaasirenga n'essanyu. |
|
| 9 |
|
| Okwagala kubeerenga kwa mazima. Mukyawenga obubi, munywererenga ku kirungi. |
|
| 10 |
|
| Mwagalanenga n'okwagala okw'ab'oluganda; nga musukirira mu kuwaŋŋana ekitiibwa. |
|
| 11 |
|
| Mubeere banyiikivu si bagayaavu; nga muli basanyufu mu mwoyo; nga muweereza Mukama waffe. |
|
| 12 |
|
| Musanyukenga mu kusuubira; mugumiikirizenga mu bunaku; munyiikirenga mu kusaba. |
|
| 13 |
|
| Mugabirenga abatukuvu bye beetaaga; mwanirizenga abagenyi. |
|
| 14 |
|
| Musabirenga ababayigganya; mubasabirenga, so temukolimanga. |
|
| 15 |
|
| Musanyukirenga wamu n'abo abasanyuka; mukaabirenga wamu n'abo abakaaba. |
|
| 16 |
|
| Mubeerenga mu mirembe mwekka na mwekka. Temwegulumizanga, naye mukolaganenga n'abo abatalina bukulu. Temubanga ba magezi mu maaso gammwe mwekka. |
|
| 17 |
|
| Temuwalananga muntu kibi olw'ekibi. Mwetegekenga okukola ebirungi mu maaso g'abantu bonna. |
|
| 18 |
|
| Oba nga kiyinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n'abantu bonna. |
|
| 19 |
|
| Temuwalananga mwekka ggwanga, abaagalwa, naye waakiri musegulirenga obusungu; kubanga kyawandiikibwa nti, “Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw'ayogera Mukama.” |
|
| 20 |
|
| Naye “omulabe wo bw'alumwanga enjala, muliisenga; bw'alumwanga ennyonta, muwenga eky'okunywa; kubanga bw'okola bw'otyo, olimukumira amanda g'omuliro ku mutwe gwe.” |
|
| 21 |
|
| Towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw'obulungi. |
|
|
|
|