|
| 1 |
|
| Buli muntu awulirenga abafuzi, kubanga tewali buyinza butava eri Katonda, era n’abafuzi abaliwo Katonda ye yabalonda. |
|
| 2 |
|
| Noolwekyo abawakanya abafuzi, bawakanya buyinza bwa Katonda. Era baba bawakanya kiragiro kye, bwe batyo ne beereetako bokka omusango. |
|
| 3 |
|
| Kubanga abafuzi baba tebalwanyisa bikolwa birungi naye ebibi. Oyagala obutakangibwa wa buyinza, kola bulungi osiimibwe, |
|
| 4 |
|
| kubanga muweereza wa Katonda ku lw’obulungi bwo. Naye bw’onookolanga ekibi, osaanidde otye kubanga ekitala ky’alina si kya bwereere, kubanga muweereza wa Katonda awoolera eggwanga eri oyo akola ekibi. |
|
| 5 |
|
| Noolwekyo kibagwanira okuba abawulize, si lwa busungu bwokka, naye n’olw’okumanya nga kye kituufu. |
|
| 6 |
|
| Era kyemuva muwa omusolo kubanga abakozi abo baweereza ba Katonda nga banyiikirira emirimu gyabwe. |
|
| 7 |
|
| Abantu bonna basasulenga ebibabanjibwa; musasulenga emisolo eri abo be muteekwa okuwa omusolo, n’ow’empooza mumuwenga empooza; n’oyo ateekwa okutiibwa mumutyenga, n’oyo ateekwa okuweebwa ekitiibwa mumuwenga ekitiibwa. |
|
| 8 |
|
| Temubeeranga na bbanja lyonna eri omuntu yenna, wabula okwagalananga; kubanga ayagala muntu munne ng’atuukiriza amateeka. |
|
| 9 |
|
| Kubanga amateeka gano nti, “Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga,” n’etteeka eddala, ligattiddwa mu kino nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” |
|
| 10 |
|
| Ayagala muliraanwa we tamukola bubi; noolwekyo okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka. |
|
| 11 |
|
| Mumanye nga kino kye kiseera, era essaawa etuuse mugolokoke okuva mu tulo, kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga ne we twakkiririza. |
|
| 12 |
|
| Ekiro kiyise, obudde bunaatera okukya, noolwekyo tweyambulemu ebikolwa eby’ekizikiza, twambale ebyokulwanyisa eby’omusana. |
|
| 13 |
|
| Tutambulenga ng’ab’omu musana, so si mu binyumu ne mu kutamiira, ne mu bwenzi n’obukaba, ne mu kuyombagana n’obuggya, |
|
| 14 |
|
| naye twambale Mukama waffe Yesu Kristo so tetuwanga mubiri bbanga kukola ng’okwegomba kwagwo bwe kuli. |
|
|
|
|