BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Ffe ab'amaanyi tuteekwa okugumiikiriza abanafu; tuleme kwesanyusa ffekka. |
| 2 |
| Buli omu mu ffe asanyuse munne lwa bulungi bwe, okumuzimba. |
| 3 |
| Anti Kristu teyeesanyusa yekka, naye nga bwe kyawandiikibwa: “Ebivumo by'abakuvuma byagwa ku nze.” |
| 4 |
| Anti byonna ebyasooka okuwandiikibwa byawandiikibwa kutuyigiriza; olw'okugumiikiriza n'olw'Ebiwandiiko okutugumya, tusuubire. |
| 5 |
| Katonda nnyini kugumiikiriza n'okukubagiza abawe mwenna mubeere kimu nga mulabira ku Kristu Yezu, |
| 6 |
| olwo n'akamwa kamu mutendereze Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yezu Kristu. |
| 7 |
| Awo nno buli omu akkirize munne nga Kristu bwe yabakkiriza olw'ekitiibwa kya Katonda. |
| 8 |
| Kubanga mbagamba nti Kristu yafuuka muweereza w'abatayirire okulaga amazima ga Katonda, akakase ebisuubizo ebyasuubizibwa bajjajjaffe, |
| 9 |
| n'ab'amawanga batendereze Katonda olw'ekisa kye, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Kyendiva nkugulumiza mu mawanga, ndiyimbira erinnya lyo ettendo.” |
| 10 |
| Ate era awalala wagamba nti: “Amawanga, mujaguze n'abantu be;” |
| 11 |
| ate nti: “Amawanga mwenna, mutendereze Omukama, nammwe abantu mwenna, mumugulumize.” |
| 12 |
| Ate era ne Yisaaya n'agamba nti: “Ekikolo kya Yesse kirijja, oyo alisituka okufuga amawanga, mu ye amawanga mwe galisuubira.” |
| 13 |
| Kale Katonda nnyini ssuubi abajjuze n'essanyu lyonna n'eddembe mu kukkiriza, mulyoke muyitirire mu ssuubi olw'amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu. |
| 14 |
| Baganda bange, nange nzennyini ndi mumativu ku mmwe, nti mubugaanye obulungi, mujjudde okumanya kwonna era musobola okubuuliragana. |
| 15 |
| Sso era abooluganda, mu bimu mbawandiikidde nga ndi mukalangafu nga njagala okubibajjukiza ku lw'eneema ya Katonda gye yampa |
| 16 |
| okubeera omuweereza w'ebitukuvu owa Kristu Yezu mu b'amawanga, mpeereze ekitambiro ky'Evangili ya Katonda, ab'amawanga bafuuke ekitone ekisiimibwa, Mwoyo Mutuukirivu ky'atukuzizza. |
| 17 |
| Awo nno mu Kristu Yezu nnina kwe nsinziira okwetenda olw'ebyo bye nkola olwa Katonda. |
| 18 |
| Kubanga siguma kwogera ku kintu kyonna okuggyako ebyo Kristu by'akoze ng'ayita mu nze nsobole okuwangula obuwulize bw'ab'amawanga, mu bigambo ne mu bikolwa, |
| 19 |
| mu maanyi g'obubonero n'ebyewuunyo, mu maanyi ga Mwoyo Mutuukirivu; leero okuviira ddala e Yeruzaalemu n'okutuukira ddala okwetooloola Yilliriko, wonna nabunyaayo Evangili ya Kristu. |
| 20 |
| Ne nfuba bwe ntyo Evangili eno okugiyigiriza, naye nga siyigiriza gye baamala edda okuwulira ku Kristu, nneme kuzimbira ku ntandikwa ya mulala, wabula nga bwe kyawandiikibwa, |
| 21 |
| “Abo abaali batamubuulirwanga baliraba, abo abaali batawuliranga balitegeera.” |
| 22 |
| Eyo y'ensonga eyanziyiza emirundi egiwera okujja ewammwe, n'okutuusa kati ekyanziyiza. |
| 23 |
| Naye kati mu bitundu bino nga bwe sikyalinamu kifo, ate nga n'emyaka giigino mingi nga neegomba okujja ewammwe, |
| 24 |
| bwe ndiba ndaga mu Sipaniya, nsuubira okuyita ewammwe mbalabeko; bwe ndimala okubeerako nammwe ne tusanyukamu akabanga, mulimperekerako okweyongerayo eri. |
| 25 |
| Kati nkyalagako Yeruzaalemu mbeeko kye nnyambamu abatuukirivu baayo. |
| 26 |
| Kubanga ab'omu Masedoniya ne mu Akayiya baasiima okubaako kye bakuŋŋaanyaawo olw'abatuukirivu abaavu abali e Yeruzaalemu. |
| 27 |
| Baalaba nga kisaana, era ggwe wamma babalinako ebbanja, kubanga ab'amawanga kati nabo baagabanye ku birungi eby'omwoyo bye balina, awo nno bano nabo balagirwa okubayamba mu by'omubiri. |
| 28 |
| Kale nno bwe ndimala omulimu ogwo, n'okutuusa ebyakuŋŋaanyizibwa, nzija kuyitira ewammwe nga ŋŋenda mu Sipaniya. |
| 29 |
| Mmanyi nga bwe ndijja ewammwe, ndijjira mu mukisa mujjuvu ogwa Kristu. |
| 30 |
| Awo nno, abooluganda, mbeegayiridde ku lwa Mukama waffe Yezu Kristu n'olw'okwagala kwa Mwoyo Mutuukirivu, munyiikire wamu nange okwegayirira Katonda nga munsabira, |
| 31 |
| ntaasibwe abatakkiriza ab'omu Buyudaaya; era n'obuyambi bwe ntwalira abatuukirivu e Yeruzaalemu busiimibwe, |
| 32 |
| Katonda ng'ayagadde, ndyoke ntuuke ewammwe nga ndi mu ssanyu, mpeereko nga tuli wamu. |
| 33 |
| Kale Katonda Kiwamirembe abeere nammwe mwenna. Amiina. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/romans/015.mp3
16
15