|
| 1 |
|
| Awo nno Omuyudaaya asinza ki? Oba kwo okutayirira kugasa ki? |
|
| 2 |
|
| Okusinga kwo asinga mu buli ngeri. Okusookera ddala, bo be baakwasibwa ebigambo bya Katonda. |
|
| 3 |
|
| Binaaba bitya abamu mu bo bamala bataba beesigwa? Bo olw'obutaba beesigwa kitta obwesigwa bwa Katonda? N'akatono! |
|
| 4 |
|
| Katonda ye k'abe w'amazima, ye buli muntu k'abe mulimba, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Obeere mutuufu mu bigambo byo, osinge bwe bakuwozesa.” |
|
| 5 |
|
| Oba ffe obutaba batuukirivu kye kireetera Katonda okulaga obutuukirivu bwe, tunaagamba tutya? Nti Katonda si mutuufu okutulaga obusungu? - singa mbuuza ng'omuntu bwe yandibuuzizza. |
|
| 6 |
|
| N'akatono! Ggwe ate Katonda yandiramudde atya ensi? |
|
| 7 |
|
| Oba nze okulimba kireetera obutuukirivu bwa Katonda okuyitirira n'afuna ekitiibwa, lwaki nkyalamulibwa ng'omwonoonyi? |
|
| 8 |
|
| Olwo lwaki tetukola bibi muveemu ebirungi – ng'abamu bwe batukonjera nti bwe tugamba. Abo nno gubasinga mu butuufu. |
|
| 9 |
|
| Awo nno kiki? Tubasinga? Nedda, n'akatono, anti navunaanye dda Abayudaaya n'Abagereeki nti bonna bali mu maanyi ga kibi, |
|
| 10 |
|
| nga bwe kyawandiikibwa nti: “Mpaawo mutuukirivu, teri, n'omu; |
|
| 11 |
|
| tewali ategeera, tewali anoonya Katonda. |
|
| 12 |
|
| Bonna bawabye, bonna baweddemu ensa; mpaawo akola kirungi, newandibadde omu ati! |
|
| 13 |
|
| Omumiro gwabwe ntaana eyasamye, beeyamba ennimi zaabwe okulimba. Obusagwa bw'enswera buli wansi w'emimwa gyabwe. |
|
| 14 |
|
| Akamwa kaabwe kajjudde ebikolimo n'obukaawu. |
|
| 15 |
|
| Ebigere byabwe byanguyira okuyiwa omusaayi; |
|
| 16 |
|
| mu makubo gaabwe mulimu kuzikirira na nnaku. |
|
| 17 |
|
| Tebamanyi kkubo lya ddembe. |
|
| 18 |
|
| Tebalinaamu kutya Katonda mu maaso gaabwe.” |
|
| 19 |
|
| Tumanyi nga byonna Etteeka bye ligamba libigamba abo abakwatibwa Etteeka, buli mumwa gulyoke gubunire, ensi yonna eryoke ebalibwe bw'eri ensobya mu maaso ga Katonda. |
|
| 20 |
|
| Kubanga tewali alifuuka mutuukirivu mu maaso ge olw'ebikolwa eby'omu Tteeka, kubanga okumanya ekibi kujja na Tteeka. |
|
| 21 |
|
| Kati nno obutuukirivu bwa Katonda bweyolekera ebweru w'Etteeka, newandibadde nga bwajulirwa Etteeka n'Abalanzi, |
|
| 22 |
|
| obutuukirivu bwa Katonda obuva ku kukkiriza Yezu Kristu ku bonna abakkiriza. Kubanga tewali njawulo, |
|
| 23 |
|
| anti bonna baayonoona, baabulwa mu bo ekitiibwa kya Katonda. |
|
| 24 |
|
| Bafuuka batuukirivu olw'eneema ye eyaweebwa obuwa, olw'okununulibwa mu Kristu Yezu, |
|
| 25 |
|
| Katonda gwe yassaawo abeere omutango mu musaayi gwe, omutango gwe tufunira mu kukkiriza. Kwali kwoleka butuukirivu bwa Katonda, kubanga mu kugumiikiriza kwa Katonda yasonyiwa ebibi ebyayita, |
|
| 26 |
|
| yagenderera ayoleke mu budde buno nti ye mutuufu era afuula oyo akkiriza Yezu Kristu n'aba omutuukirivu. |
|
| 27 |
|
| Kale okwetenda kwaffe kuluwa? Ekyo kirekebwa na bbali. Lwa tteeka ki? Olw'ebyo bye twakola? Nedda, wabula lwa tteeka lya kukkiriza. |
|
| 28 |
|
| Kubanga tugamba nti omuntu afuuka mutuukirivu lwa kukkiriza, awatali na bikolwa bya mu Tteeka. |
|
| 29 |
|
| Kazzi Katonda wa Bayudaaya bokka? Ab'amawanga si Katonda waabwe? |
|
| 30 |
|
| Yee, n'ab'amawanga Katonda waabwe, ndaba Katonda ye omu alifuula omutayirire omutuukirivu olw'okukkiriza n'atali mutayirire olw'okukkiriza. |
|
| 31 |
|
| Awo nno bwe tukkiriza ng'Etteeka tulidibizza? Nedda! N'okuba Etteeka tuba tukakasa kkakase. |
|
|
|
|