|
| 1 |
|
| Kale tunaayogera tutya? Tunyiikirenga okukola ekibi ekisa kyeyongerenga? |
|
| 2 |
|
| Nedda n'akatono! Abaafa ku kibi, tunaabeeranga tutya abalamu mu kyo nate? |
|
| 3 |
|
| Temumanyi nti ffe fenna, abaabatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu, era twabatizibwa kuyingira mu kufa kwe? |
|
| 4 |
|
| Bwe twabatizibwa, twaziikibwa wamu naye, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu olw'ekitiibwa kya Kitaawe, bwe tutyo naffe tutambulirenga mu bulamu obuggya. |
|
| 5 |
|
| Kuba oba nga twagattibwa wamu naye mu kufa kwe, era tuligattibwa wamu naye ne mu kuzuukira kwe. |
|
| 6 |
|
| Tumanyi nti omuntu waffe ow'edda yakomererwa wamu naye, omubiri gw'ekibi gulyoke guzikirizibwe, tuleme okubeeranga nate abaddu b'ekibi. |
|
| 7 |
|
| Kubanga afudde aba takyafugibwa kibi. |
|
| 8 |
|
| Naye oba nga twafiira wamu ne Kristo, era tukkiriza nga tulibeera balamu wamu naye. |
|
| 9 |
|
| Tumanyi nti nga Kristo bwe yamala okuzuukizibwa mu bafu takyafa nate; okufa tekukyamufuga. |
|
| 10 |
|
| Kubanga okufa kwe yafa yafa ku kibi omulundi gumu, naye obulamu bw'alina, ali nabwo eri Katonda. |
|
| 11 |
|
| Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okubeera abafa ku kibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu. |
|
| 12 |
|
| Kale ekibi kiremenga okufuga mu mubiri gwammwe ogufa, ne mugondera okwegomba kwagwo. |
|
| 13 |
|
| Temuwangayo bitundu byammwe eri ekibi okubikozesa obutali butuukirivu; naye mwewengayo eri Katonda, ng'abalamu abaava mu bafu, n'ebitundu byammwe okubeeranga eby'okukozesa obutuukirivu eri Katonda. |
|
| 14 |
|
| Kubanga ekibi tekiibenga mukama wammwe; kubanga amateeka si ge gabafuga, wabula ekisa. |
|
| 15 |
|
| Kale tukole tutya? Tukolenga ekibi, kubanga amateeka si ge gatufuga, wabula ekisa? Nedda n'akatono! |
|
| 16 |
|
| Temumanyi nga gwe mwewa okuba abaddu, muba baddu b'oyo gwe muwulira, oba ab'ekibi okuleeta okufa, oba ob'okuwulira okuleeta obutuukirivu? |
|
| 17 |
|
| Naye Katonda yeebazibwe, kubanga mmwe abali abaddu b'ekibi, mwawulira n'omutima gwammwe gwonna, ebyo ebiri mu njigiriza gye mwaweebwa. |
|
| 18 |
|
| Kale bwe mwaweebwa eddembe okuva mu kibi, mwafuuka baddu b'obutuukirivu. |
|
| 19 |
|
| Njogera mu buntu olw'obunafu bw'omubiri gwammwe, kuba nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe okuba abaddu eri obugwagwa n'eri obujeemu okujeemanga, bwe mutyo kaakano muwengayo ebitundu byammwe okubanga abaddu eri obutuukirivu okutukuzibwa. |
|
| 20 |
|
| Kubanga bwe mwabanga abaddu b'ekibi, mwabanga ba ddembe eri obutuukirivu. |
|
| 21 |
|
| Kale bibala ki bye mwalina mu biro biri eby'ebigambo ebibakwasa ensonyi kaakano? Kubanga enkomerero yaabyo kufa. |
|
| 22 |
|
| Naye kaakano bwe mwaweebwa eddembe okuva mu kibi, ne mufuuka abaddu ba Katonda, mulina ebibala byammwe olw'okutukuzibwa, n'enkomerero bulamu obutaggwaawo. |
|
| 23 |
|
| Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa; naye ekirabo eky'obuwa ekya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe. |
|
|
|
|