|
| 1 |
|
| Njogera amazima mu Kristo, sirimba, omwoyo gwange nga gunkakasa mu Mwoyo Mutukuvu, |
|
| 2 |
|
| nga ndimunakuwavu nnyo era nga nnumwa mu mutima. |
|
| 3 |
|
| Nnali njagala nze mwene nkolimirwe Katonda era njawukanyizibwe ku Kristo olwa baganda bange, bwe tuli ab’omu mubiri, |
|
| 4 |
|
| be Bayisirayiri, abantu ba Katonda abalonde. Katonda yabalaga ekitiibwa kye, n’akola nabo endagaano, n’abawa n’amateeka ge. Yeekaalu yagibawa, n’abawa n’ebyasuubizibwa. |
|
| 5 |
|
| Balina bajjajjaabwe abamanyiddwa, Kristo be yasibukamu mu mubiri. Nsaba Katonda afuga byonna atenderezebwenga emirembe gyonna, Amiina. |
|
| 6 |
|
| Naye si kuba nti Katonda yalemwa okutuukiriza kye yasuubiza. Si bonna ab’omu Isirayiri nti bantu ba Katonda ddala. |
|
| 7 |
|
| Ate so si nti ly’ezzadde lya Ibulayimu bonna balyoke babeere abaana, naye ekisuubizo kyali ku Isaaka bwe kyagambibwa nti, “Mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza.” |
|
| 8 |
|
| Kino kitegeeza nti abaana ab’omubiri si be baana ba Katonda, wabula abo ab’okusuubiza be babalibwa okuba ezzadde lya Ibulayimu. |
|
| 9 |
|
| Kubanga ekigambo ky’okusuubiza kye kino nti, “Mu kiseera nga kino Saala alizaala omwana owoobulenzi.” |
|
| 10 |
|
| Ate si ekyo kyokka, naye ne Isaaka jjajjaffe yalina Lebbeeka eyali olubuto. |
|
| 11 |
|
| Naye ng’abalongo tebannazaalibwa, era nga tebannabaako kye bakola kyonna ekirungi oba ekibi, okusiima kwa Katonda nga bwe kuli, |
|
| 12 |
|
| si lwa bikolwa wabula ku bw’oyo eyabayita, kyategeezebwa Lebbeeka nti, “Omukulu y’aliba omuweereza w’omuto.” |
|
| 13 |
|
| Era nga bwe kyawandiikibwa nti, “Yakobo namwagala, naye Esawu namukyawa.” |
|
| 14 |
|
| Kale tunaagamba ki? Ddala ddala Katonda talina bwenkanya? Kikafuuwe. |
|
| 15 |
|
| Agamba Musa nti, “Ndisaasira oyo gwe ndisaasira, era ndikwatirwa ekisa oyo gwe ndikwatirwa ekisa.” |
|
| 16 |
|
| Noolwekyo tekiva ku ebyo omuntu by’ayagala newaakubadde by’akola, wabula ku kusaasira kwa Katonda. |
|
| 17 |
|
| Ebyawandiikibwa kyebyava byogera ku Falaawo nti, “Kyennava nkuyimusa, ndyoke njolese amaanyi gange mu ggwe, erinnya lyange liryoke litegeezebwe mu nsi zonna.” |
|
| 18 |
|
| Noolwekyo Katonda asaasira oyo gw’ayagala okusaasira, ate n’akakanyaza omutima gw’oyo gw’ayagala okukakanyaza. |
|
| 19 |
|
| Omu akyayinza okumbuuza nti, Lwaki Katonda atunenya, obanga y’atuleetera okukola nga bw’asiima? |
|
| 20 |
|
| Naye ggwe omuntu obuntu, ggwe ani addamu ng’owakanya Katonda? Ekibumbe kiyinza okubuuza eyakibumba nti, “Lwaki wammumba bw’oti?” |
|
| 21 |
|
| Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, okubumbamu ekibya eky’omugaso, oba okubumbamu ekitali kya mugaso? |
|
| 22 |
|
| Katonda yayagala okulaga obusungu bwe, n’amaanyi ge eri abo bonna abaali basaanira okuzikirizibwa, kyokka n’abalaga obugumiikiriza. |
|
| 23 |
|
| Ekyo yakikola alyoke amanyise obugagga bw’ekitiibwa kye, eri abo bonna be yeerondera okugabanira awamu ekitiibwa kye. |
|
| 24 |
|
| Naffe yatuyita, si Bayudaaya bokka naye n’Abaamawanga. |
|
| 25 |
|
| Ne mu Koseya agamba nti, “Abataali bantu bange ndibayita abantu bange, Ne gwe nnali ssaagala, ndimwagala.” |
|
| 26 |
|
| Mu kifo omwo mwe baayitirwa nti, “Temuli bantu bange, mwe baliyitirwa abaana ba Katonda omulamu.” |
|
| 27 |
|
| Isaaya ayogera eri Isirayiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Omuwendo gw’abaana ba Isirayiri ne bwe gulyenkana ng’omusenyu gw’ennyanja, ekitundu ekirisigalawo kye kirirokolebwa. |
|
| 28 |
|
| Kubanga Mukama alisalawo era alituukiriza mangu ekyo kye yagamba okukola ku nsi.” |
|
| 29 |
|
| Era nga Isaaya bwe yayogera edda nti, “Singa Mukama ow’Eggye teyatulekerawo zzadde, twandifuuse nga Sodomu, era twandifaananye nga Ggomola.” |
|
| 30 |
|
| Kale tunaagamba ki? Tugambe nti Abaamawanga abataagobereranga butuukirivu, baafuna obutuukirivu, bwe butuukirivu obuva mu kukkiriza, |
|
| 31 |
|
| naye Isirayiri mu kugobereranga amateeka ag’obutuukirivu, teyafuna butuukirivu obwo? |
|
| 32 |
|
| Lwaki? Ekyo baalema okukituukako kubanga tebaagoberera butuukirivu mu kukkiriza wabula mu bikolwa. Beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako, |
|
| 33 |
|
| nga bwe kyawandiikibwa nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako n’olwazi olulibasuula. Oyo amukkiriza taliswazibwa.” |
|
|
|
|