|
| 1 |
|
| Kubanga ssaagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, bajjajjaffe bonna bwe baali wansi w'ekire, era bonna bwe baayita mu nnyanja; |
|
| 2 |
|
| era bonna bwe baabatizibwa eri Musa mu kire ne mu nnyanja; |
|
| 3 |
|
| era bonna ne balyanga emmere emu ey'omwoyo; era bonna ne banywanga ekyokunywa ekimu eky'omwoyo: |
|
| 4 |
|
| kubanga baanywanga mu lwazi olw'omwoyo olwabagobereranga: n'olwazi olwo lwali Kristo. |
|
| 5 |
|
| Naye bangi ku bo Katonda teyabasiima: kubanga baazikiririzibwa mu ddungu. |
|
| 6 |
|
| Naye ebyo byali byakulabirako gye tuli, tulemenga okwegomba ebibi, era nga bo bwe beegomba. |
|
| 7 |
|
| So temubanga basinza ba bifaananyi, ng'abamu ku bo: nga bwe kyawandiikibwa nti Abantu ne batuula okulya n'okunywa, ne bagolokoka okuzannya. |
|
| 8 |
|
| Era tetwendanga, ng'abamu ku bo bwe baayenda, ne bagwa ku lunaku olumu obukumi bubiri mu enkumi ssatu. |
|
| 9 |
|
| Era tetukemanga Mukama waffe, ng'abamu ku bo bwe baakema, emisota egyo ne gibatta. |
|
| 10 |
|
| Era temwemulugunyanga, ng'abamu ku bo bwe beemulugunya, ne bazikirizibwa omuzikiriza. |
|
| 11 |
|
| Naye ebyo byababaako abo okubeeranga ebyokulabirako; era byawandiikibwa olw'okutulabulanga ffe abatuukiddwako enkomerero z'emirembe. |
|
| 12 |
|
| Kale alowooza ng'ayimiridde yeekuumenga aleme okugwa. |
|
| 13 |
|
| Siwali kukema okubakwata okutali kwa bantu: naye Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n'okukemebwa era anassangawo n'obuddukiro; mulyoke muyinzenga okugumiikiriza. |
|
| 14 |
|
| Kale, baganda bange, muddukenga okusinza ebifaananyi. |
|
| 15 |
|
| Mbagamba ng'abalina amagezi; mulowooze kye njogera. |
|
| 16 |
|
| Ekikompe eky'omukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kusseekimu omusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenyaamenya si kwe kusseekimu omubiri gwa Kristo? |
|
| 17 |
|
| kubanga ffe abangi tuli mugaati gumu, omubiri gumu: kubanga fenna tugabana omugaati gumu. |
|
| 18 |
|
| Mulabe Isiraeri ow'omubiri: abalya ssaddaaka tebassa kimu na kyoto? |
|
| 19 |
|
| Kale njogera ki? ekiweebwa eri ekifaananyi nga kintu, oba ekifaananyi nga kintu? |
|
| 20 |
|
| Naye njogera ng'ab'amawanga bye bawaayo bawa eri balubaale, so si eri Katonda: nange ssaagala mmwe kubeeranga abasseekimu ne balubaale. |
|
| 21 |
|
| Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama waffe ne ku kikompe kya balubaale: temuyinza kugabana ku mmeeza ya Mukama waffe ne ku mmeeza ya balubaale. |
|
| 22 |
|
| Oba Mukama waffe tumukwasa obuggya? ffe tumusinga amaanyi? |
|
| 23 |
|
| Byonna birungi; naye ebisaana si byonna. Byonna birungi, naye ebizimba si byonna. |
|
| 24 |
|
| Omuntu yenna tanoonyanga bibye yekka, wabula ebya munne. |
|
| 25 |
|
| Buli kye batundanga mu katale, mukiryanga, nga temubuuzizza kigambo olw'omwoyo; |
|
| 26 |
|
| kubanga ensi ya Mukama waffe, n'okujjula kwayo. |
|
| 27 |
|
| Omu ku abo abatakkiriza bw'abayitanga, nammwe bwe mwagalanga okugenda; ekiteekebwanga mu maaso gammwe mukiryanga, nga temubuuzizza kigambo olw'omwoyo. |
|
| 28 |
|
| Naye omuntu bw'abagambanga nti Kino kyaweebwa okubeera ssaddaaka, temukiryanga ku lw'oyo abuulidde, n'olw'omwoyo: |
|
| 29 |
|
| bwe njogera omwoyo, si gugwo ggwe naye gwa mulala; kubanga eddembe lyange lwaki okusalirwa omusango n'omwoyo gw'omulala? |
|
| 30 |
|
| Nze bwe ndya n'okwebaza, kiki ekinvumya olw'ekyo kye nneebaza? |
|
| 31 |
|
| Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw'ekitiibwa kya Katonda. |
|
| 32 |
|
| Temuleetanga ekyesittaza eri Abayudaaya, newakubadde eri Abayonaani, newakubadde eri ekkanisa ya Katonda: |
|
| 33 |
|
| era nga nange bwe sinoonya magoba gange nze, wabula ag'abangi; balyoke balokoke. |
|
|
|
|