|
| 1 |
|
| Abooluganda, njagala mumanye ebyatuuka ku bajjajjaffe. Bonna baakulemberwanga ekire, era bonna baayita mu nnyanja emmyufu. |
|
| 2 |
|
| Era bonna ng'abagoberezi ba Musa, baabatizibwa mu kire ne mu nnyanja, |
|
| 3 |
|
| era bonna emmere baalyanga ku emu ey'omwoyo. |
|
| 4 |
|
| Era bonna baanywanga ekyokunywa kimu eky'omwoyo, kubanga baanywanga mu lwazi olw'omwoyo olwabagobereranga, era olwazi olwo yali Kristo. |
|
| 5 |
|
| Naye era bangi ku bo, Katonda teyabasiima. Kyebaava bafiira mu ddungu. |
|
| 6 |
|
| Ebyo byali bya kutulabula, tulemenga okwegomba ebibi, nga bo bwe baakola. |
|
| 7 |
|
| Temusinzanga ebyo ebitali Katonda, ng'abamu ku bo bwe baakola, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Abantu baatuula okulya n'okunywa, ne basituka okuzannya.” |
|
| 8 |
|
| Tulemenga okwenda, ng'abamu ku bo bwe baayenda, ne bafa abantu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu, ku lunaku lumu. |
|
| 9 |
|
| Tulemenga kukema Mukama, ng'abamu ku bo bwe baamukema, ne bazikirizibwa emisota. |
|
| 10 |
|
| Era tulemenga kwemulugunya, ng'abamu ku bo bwe beemulugunya, malayika n'abatta. |
|
| 11 |
|
| Ebyo byonna byabatuukako, biryoke bibe ebyokulabirako, era byawandiikibwa olw'okuyigiriza ffe abaliwo ng'enkomerero eneetera okutuuka. |
|
| 12 |
|
| Kale oyo alowooza nti ayimiridde, yeegenderezenga aleme okugwa. |
|
| 13 |
|
| Ebikemo ebibatuuseeko, by'ebyo ebituuka ku bantu bonna. Katonda mwesigwa, era taabalekenga kutuukibwako bikemo bibayitiridde. Era mu kukemebwa, anaabawanga amaanyi ag'okugumira ebikemo, n'amagezi ag'okubiwangula. |
|
| 14 |
|
| N'olwekyo, mikwano gyange, mwewalenga okusinza ebyo ebitali Katonda. |
|
| 15 |
|
| Njogera nammwe nga mmanyi nti mutegeera. Kale mulabe kye ŋŋamba. |
|
| 16 |
|
| Bwe twebaza Katonda olw'ekikopo ekiweebwa omukisa, tuba tetussa kimu n'omusaayi gwa Kristo? |
|
| 17 |
|
| Omugaati guli gumu, era ffe abangi tuli omubiri gumu, kubanga tugabana ku mugaati gumu. |
|
| 18 |
|
| Kale mulabe ab'eddiini y'Ekiyudaaya kye bakola: abo abalya ebitambiro eby'oku alutaari, tebeetaba wamu ne Katonda aweerezebwa ebitambiro ebyo? |
|
| 19 |
|
| Ddala ŋŋamba nti ekyo ekitali Katonda, oba ekyokulya ekiweebwayo eri ebitali Katonda, biriko kye bigasa? |
|
| 20 |
|
| Nedda temuli mugaso. Kye ŋŋamba kye kino nti ebyo abantu b'ensi bye batambira, babitambirira balubaale, sso si Katonda. Naye saagala mmwe mwetabe na balubaale. |
|
| 21 |
|
| Temuyinza kunywa ku kikopo kya Mukama, ne ku kikopo kya balubaale. Temuyinza kuliira ku mmeeza ya Mukama, ne ku mmeeza ya balubaale. |
|
| 22 |
|
| Kale twagala kunyiiza Mukama? Ffe tumusinga amaanyi? |
|
| 23 |
|
| Byonna bikkirizibwa, weewaawo, naye si byonna ebigasa. Byonna bikkirizibwa, naye si byonna ebizimba. |
|
| 24 |
|
| Walemenga kubaawo afa ku bibye byokka, wabula afenga ne ku by'abalala. |
|
| 25 |
|
| Buli ekitundibwa mu katale, mukiryanga nga temuliiko kye mubuuza olw'obulungi bw'omwoyo gwammwe. |
|
| 26 |
|
| Kubanga ensi ne byonna ebigirimu bya Mukama. |
|
| 27 |
|
| Atali mukkiriza bw'abayitanga ku kijjulo, ne mukkiriza okugenda, buli kye babaleeteranga okulya, mukiryanga nga temuliiko kye mubuuza olw'obulungi bw'omwoyo gwammwe. |
|
| 28 |
|
| Naye omuntu bw'abagambanga nti: “Kino kyaweereddwayo eri ebitali Katonda,” temukiryanga olw'oyo abagambye, n'olw'obulungi bw'omwoyo. |
|
| 29 |
|
| Ŋŋamba lwa bulungi bwa mwoyo gwe, sso si gugwo. Waliwo ayinza okugamba nti: “Lwaki eddembe lyange likugirwa olw'okweraliikirira kw'omuntu omulala? |
|
| 30 |
|
| Bwe ndya nga neebazizza Katonda, lwaki nnenyezebwa olw'ekyo kye ndya nga neebazizza?” |
|
| 31 |
|
| Kale byonna bye munaakolanga, oba kulya oba kunywa, mubikolenga nga mugendereramu kitiibwa kya Katonda. |
|
| 32 |
|
| Temwesittazanga Bayudaaya, newaakubadde Abayonaani, wadde ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo. |
|
| 33 |
|
| Mube nga nze agezaako okusanyusa bonna mu buli kye nkola, nga sifa ku bulungi bwange nzekka, wabula ku bwa bangi, balyoke balokolebwe. |
|
|
|
|