Luganda Bible
|
| 1 |
| Bwe njogera n'enaimi z'abantu n’eza bamalayika, naye ne ssiba na kwagala, nga nfuuse ekikomo ekivuga n'ebitaasa ebisaala. |
| 2 |
| Era bwe mba ne bunnabbi ne ntegeera ebyama byonna n'okutegeera kwonna; era bwe mba n'okukkiriza kwonna, n'okuggyawo ne nzigyawo ensozi; naye ne ssiba na kwagala, nga ssiri kintu. |
| 3 |
| Era bwe ngabira abaavu bye nnina byonna okubaliisanga, era bwe mpaayo omubiri gwange okwokebwa, naye ne ssiba na kwagala, nga ssiriiko kye ngasizza. |
| 4 |
| Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza |
| 5 |
| tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga, tekusiba bubi ku mwoyo; |
| 6 |
| tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n'amazima; |
| 7 |
| kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriza byonna. |
| 8 |
| Okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna: naye oba bunnabbi, bulivaawo; oba ennimi, zirikoma; oba okutegeera, kulivaawo. |
| 9 |
| Kubanga tutegeerako kitundu, era tulagulako kitundu: |
| 10 |
| naye ebituukirivu bwe birijja, eby'ekitundu birivaawo. |
| 11 |
| Bwe nnali omuto, nnayogeranga ng'omuto, nnategeeranga ng'omuto, nnalowoozanga ng'omuto: bwe nnakula, ne ndeka eby'obuto. |
| 12 |
| Kubanga kaakano tulabira mu ndabirwamu ebitalabika bulungi; naye mu biro biri tulitunulagana n'amaaso: kaakano ntegeerako kitundu; naye mu biro biri nditegeerera ddala era nga bwe nnategeererwa ddala. |
| 13 |
| Naye kaakano waliwo okukkiriza, okusuubira, okwagala, ebyo byonsatule; naye ku ebyo ekisinga obukulu kwagala. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/1corinthians/013.mp3
16
13