EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Bwe njogera n'ennimi z'abantu n'eza bamalayika, naye nga sirina kwagala, mba nga ekide ekivuga, oba ekitaasa ekisaala. |
| 2 |
| Era bwe mba ne bunnabbi ne ntegeera ebyama byonna n'okutegeera kwonna; era bwe mba n'okukkiriza kwonna, okunsobozesa n'okusiguukulula ensozi, naye nga sirina kwagala, mba ssiri kintu. |
| 3 |
| Era bwe mpaayo bye nnina byonna eri abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange okwokebwa, naye nga sirina kwagala, mba ssiriiko kye ngasizza. |
| 4 |
| Okwagala kugumiikiriza era kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza, |
| 5 |
| tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga mangu era tekusiba kibi ku mwoyo; |
| 6 |
| tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n'amazima; |
| 7 |
| kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kugumiikiriza byonna. |
| 8 |
| Okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna: naye oba bunnabbi, bulivaawo; oba ennimi, zirikoma; oba okutegeera, kulivaawo. |
| 9 |
| Kubanga tutegeerako kitundu, era ne bunnabbi bwaffe bwa kitundu: |
| 10 |
| naye ebituukirivu bwe birijja, eby'ekitundu birivaawo. |
| 11 |
| Bwe nnali omuto, nnayogeranga ng'omuto, nnategeeranga ng'omuto, nnalowoozanga ng'omuto: bwe nnakula, ne ndeka eby'obuto. |
| 12 |
| Kubanga kaakano tulabira mu ndabirwamu ebitalabika bulungi; naye mu biro biri tulirabira ddala bulungi amaaso n'amaaso; kaakano ntegeerako kitundu; naye mu biro biri nditegeerera ddala era nga bwe nnategeererwa ddala. |
| 13 |
| Naye kaakano waliwo ebintu bisatu: okukkiriza, okusuubira, okwagala, naye ku ebyo ekisinga obukulu kwagala. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/1corinthians/013.mp3
16
13