|
| 1 |
|
| Naye okukuŋŋaanyizanga ebintu abatukuvu, nga bwe nnalagira ekkanisa ez'e Ggalatiya, nammwe mukolenga bwe mutyo. |
|
| 2 |
|
| Ku lunaku olw'olubereberye mu ssabbiiti buli muntu mu mmwe aterekenga ewuwe nga bw'ayambiddwa, ebintu bireme okukuŋŋaanyizibwa lwe ndijja. |
|
| 3 |
|
| Era bwe ndituuka be mulisiima mu bbaluwa abo be ndituma okutwala ekisa kyammwe mu Yerusaalemi: |
|
| 4 |
|
| era oba nga kirinsaanira nange okugenda, baligenda nange. |
|
| 5 |
|
| Naye ndijja gye muli bwe ndiba nga mmaze okuyita mu Makedoni; kubanga ndiyita mu Makedoni: |
|
| 6 |
|
| naye mpozzi ndituula gye muli katono, oba n'okumala ndimalayo biro bya ttoggo byokka, mmwe mulyoke munsibirire gye ndigenda yonna. |
|
| 7 |
|
| Kubanga ssaagala kubalaba kaakano nga mpita buyisi: kubanga nsuubira okulwayo katono gye muli, Mukama waffe bw'alikkiriza. |
|
| 8 |
|
| Naye ndirwayo mu Efeso okutuusa ku Pentekoote; |
|
| 9 |
|
| kubanga oluggi olunene era olw'emirimu emingi lunziguliddwawo, era abalabe bangi. |
|
| 10 |
|
| Naye oba nga Timoseewo alijja, mulabe abeerenga gye muli awatali kutya; kubanga akola omulimu gwa Mukama waffe era nga nze: |
|
| 11 |
|
| kale omuntu yenna tamunyoomanga. Naye mumusibirire n'emirembe, ajje gye ndi: kubanga nsuubira okumulaba awamu n'ab'oluganda. |
|
| 12 |
|
| Naye ebya Apolo ow'oluganda, nnamwegayirira nnyo okujja gye muli awamu n'ab'oluganda: n'atayagalira ddala kujja mu kiseera kino; naye alijja bw'alifuna ebbanga. |
|
| 13 |
|
| Mutunulenga, munywerenga mu kukkiriza, mubeerenga basajja, mubeerenga ba maanyi. |
|
| 14 |
|
| Byonna bye mukola bikolebwenga mu kwagala. |
|
| 15 |
|
| Naye mbeegayirira, ab'oluganda (mumanyi ennyumba ya Suteefana, nga gwe mwaka omubereberye ogw'omu Akaya, era nga beeteeseteese okuweereza abatukuvu), |
|
| 16 |
|
| nammwe muwulirenga abali ng'abo, na buli muntu akolera awamu naffe afuba. |
|
| 17 |
|
| Era nsanyukira okujja kwa Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko: kubanga ebyabula ku lwammwe baabituukiriza. |
|
| 18 |
|
| Kubanga baawummuza omwoyo gwange n'ogwammwe: kale mukkirizenga abali ng'abo. |
|
| 19 |
|
| Ekkanisa ez'omu Asiya zibalamusizza. Akula ne Pulisika babalamusizza nnyo mu Mukama waffe; n'ekkanisa eri mu nnyumba yaabwe. |
|
| 20 |
|
| Ab'oluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu. |
|
| 21 |
|
| Kuno kwe kulamusa kwange Pawulo n'omukono gwange. |
|
| 22 |
|
| Omuntu yenna bw'atayagalanga Mukama waffe, akolimirwenga. Mukama waffe ajja. |
|
| 23 |
|
| Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe. |
|
| 24 |
|
| Okwagala kwange kubeerenga nammwe mwenna mu Kristo Yesu. Amiina. |
|
|
|
|