|
| 1 |
|
| Nange, ab'oluganda, bwe nnajja gye muli, sajja na maanyi mangi ag'ebigambo oba amagezi nga mbabuulira ekyama kya Katonda, |
|
| 2 |
|
| Kubanga nnamalirira obutamanya kigambo mu mmwe, wabula Yesu Kristo era oyo eyakomererwa. |
|
| 3 |
|
| Nange nnabeeranga nammwe mu bunafu ne mu kutya ne mu kukankana okungi. |
|
| 4 |
|
| N'ekigambo kyange n'okubuulira kwange tebyabanga mu bigambo eby'amagezi ebisendasenda, wabula mu kutegeeza kw'Omwoyo n'amaanyi: |
|
| 5 |
|
| okukkiriza kwammwe kulemenga okubeera mu magezi g'abantu, wabula mu maanyi ga Katonda. |
|
| 6 |
|
| Naye amagezi tugoogera mu abo abatuukirira: naye amagezi agatali ga mu mirembe gino, era agatali ga bakulu ab'omu mirembe gino, abaggwaawo: |
|
| 7 |
|
| naye twogera amagezi ga Katonda mu kyama, gali agakisibwa, Katonda ge yalagira edda ensi nga tezinnabaawo olw'ekitiibwa kyaffe: |
|
| 8 |
|
| abakulu bonna ab'omu mirembe gino ge batategeeranga n'omu: kuba singa baagategeera, tebandikomeredde Mukama wa kitiibwa: |
|
| 9 |
|
| naye nga bwe kyawandiikibwa nti Eriiso bye litalabangako, n'okutu bye kutawuliranga, N'ebitayingiranga mu mutima gwa muntu, Byonna Katonda bye yategekera abamwagala. |
|
| 10 |
|
| Naye ffe Katonda yatubibikkulira ku bw'Omwoyo: kubanga Omwoyo anoonya byonna era n'ebitategeerekeka ebya Katonda. |
|
| 11 |
|
| Kubanga muntu ki ategeera eby'omuntu wabula omwoyo gw'omuntu oguli mu ye? era bwe kityo n'ebya Katonda siwali abitegeera wabula Omwoyo gwa Katonda. |
|
| 12 |
|
| Naye ffe tetwaweebwa mwoyo gwa nsi, wabula omwoyo oguva eri Katonda, tulyoke tutegeerenga Katonda by'atuwa obuwa. |
|
| 13 |
|
| N'okwogera twogera ebyo, si mu bigambo amagezi g'abantu bye gayigiriza, wabula Omwoyo by'ayigiriza; bwe tugeraageranya eby'omwoyo n'eby'omwoyo. |
|
| 14 |
|
| Naye omuntu ow'omukka obukka takkiriza bya Mwoyo gwa Katonda: kubanga bya busirusiru gy'ali; era tayinza kabitegeera, kubanga bikeberwa na mwoyo. |
|
| 15 |
|
| Naye omuntu ow'omwoyo akebera byonna, naye ye yennyini takeberwa muntu yenna. |
|
| 16 |
|
| Kubanga ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama waffe, alyoke amuyigirize? Naye ffe tulina okulowooza kwa Kristo. |
|
|
|
|