|
| 1 |
|
| Abooluganda, bwe najja gye muli, okubategeeza ekyama kya Katonda, saakozesa bigambo bizibu okutegeera, oba eby'amagezi ennyo, |
|
| 2 |
|
| kubanga bwe nali nammwe nasalawo okwerabira ebirala byonna, okuggyako Yesu Kristo, eyakomererwa ku musaalaba. |
|
| 3 |
|
| Bwe nali mu mmwe, nali munafu era nga nkankana nnyo olw'okutya. |
|
| 4 |
|
| Era mu kwogera kwange ne mu kuyigiriza kwange, temwalimu bigambo bya magezi ebisendasenda, wabula mwalimu amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu, |
|
| 5 |
|
| okukkiriza kwammwe kuleme kunywerera ku magezi ga bantu buntu, wabula ku maanyi ga Katonda. |
|
| 6 |
|
| Naye mu abo abakulu mu mwoyo, twogera eby'amagezi, naye eby'amagezi agatali ga bantu ab'oku nsi kuno, wadde ag'abafuzi b'ensi eno, abaggwaawo, |
|
| 7 |
|
| wabula twogera eby'amagezi ga Katonda agatamanyiddwa bantu, era agaakisibwa. Katonda yagateekateeka edda n'edda lyonna, gabe ekitiibwa kyaffe. |
|
| 8 |
|
| Tewali n'omu ku bafuzi ku nsi kuno ategeera magezi ago, kubanga singa baagategeera, tebandikomeredde ku musaalaba Mukama oweekitiibwa. |
|
| 9 |
|
| Naye nga bwe kyawandiikibwa: “Ebyo eriiso bye litalabangako, n'okutu bye kutawulirangako, era ebitalowoozebwangako muntu n'omu, by'ebyo Katonda bye yategekera abamwagala.” |
|
| 10 |
|
| Kyokka ffe, Katonda ng'ayita mu Mwoyo we, yatumanyisa ekyama ekyo, kubanga Mwoyo anoonyereza buli kintu, n'ekyo ekiri mu Katonda yennyini. |
|
| 11 |
|
| Tewali amanya birowoozo bya muntu, wabula omwoyo gwe gwe gubimanya. Bwe kityo ne Mwoyo wa Katonda ye yekka amanya ebya Katonda. |
|
| 12 |
|
| Tetwaweebwa mwoyo gwa ku nsi kuno, wabula twaweebwa Mwoyo eyava ewa Katonda, tulyoke tutegeerenga ebyo Katonda by'atuwa. |
|
| 13 |
|
| N'olwekyo tetwogera bigambo bya magezi ga bantu buntu, wabula twogera ebyo Mwoyo by'ayigiriza, ne tubinnyonnyola abo abategeera ebya Mwoyo. |
|
| 14 |
|
| Naye omuntu atafugibwa Mwoyo wa Katonda, tasobola kukkiriza bya Mwoyo wa Katonda, kubanga abiraba ng'eby'obusirusiru. Era tayinza kubitegeera, kubanga byekenneenyezebwa muntu alina Mwoyo wa Katonda. |
|
| 15 |
|
| Oyo afugibwa omwoyo yeekenneenya byonna, naye ye tewali n'omu amwekenneenya, |
|
| 16 |
|
| kubanga, “ani amanyi Mukama by'alowooza alyoke amuwabule”? Kyokka ffe tumanyi endowooza ya Kristo. |
|
|
|
|