|
| 1 |
|
| Nange, ab'oluganda, bwe nnajja gye muli, sajja na maanyi mangi ag'ebigambo oba amagezi nga mbabuulira ekyama kya Katonda. |
|
| 2 |
|
| Kubanga nnasalawo obutamanya kigambo mu mmwe, wabula Yesu Kristo oyo eyakomererwa. |
|
| 3 |
|
| Nange nnabeeranga nammwe mu bunafu ne mu kutya ne mu kukankana okungi. |
|
| 4 |
|
| Era mu kwogera kwange ne mu kubuulira kwange tebyali mu bigambo eby'amagezi ebisendasenda, naye byali mu kulaga okw'Omwoyo n'amaanyi; |
|
| 5 |
|
| okukkiriza kwammwe kulemenga okubeera mu magezi g'abantu, wabula mu maanyi ga Katonda. |
|
| 6 |
|
| Naye eri abo abakuze mu mwoyo, twogera eby'amagezi, naye amagezi agatali ga mu mulembe guno, oba ag'abafuzi ab'omu mulembe guno abaggwaawo. |
|
| 7 |
|
| naye twogera amagezi ga Katonda ag'ekyama, agali gakwekeddwa, Katonda ge yalagira edda ensi nga tezinnabaawo olw'ekitiibwa kyaffe. |
|
| 8 |
|
| Tewali n'omu ku bafuzi ab'omu mulembe guno abaagategeera, kuba singa baagategeera, tebandikomeredde Mukama ow'ekitiibwa. |
|
| 9 |
|
| naye nga bwe kyawandiikibwa nti, “Eriiso bye litalabangako, n'okutu bye kutawuliranga, N'ebitayingiranga mu mutima gwa muntu, Byonna Katonda bye yategekera abamwagala.” |
|
| 10 |
|
| Naye ffe Katonda yabitubikkulira mu Mwoyo, kubanga Omwoyo anoonya byonna era n'ebitategeerekeka ebya Katonda. |
|
| 11 |
|
| Kubanga muntu ki ategeera eby'omuntu wabula omwoyo gw'omuntu oguli mu ye? Era bwe kityo n'ebya Katonda siwali abitegeera wabula Omwoyo gwa Katonda. |
|
| 12 |
|
| Naye ffe tetwaweebwa mwoyo gwa nsi, wabula omwoyo oguva eri Katonda, tulyoke tutegeerenga Katonda by'atuwa obuwa. |
|
| 13 |
|
| N'okwogera twogera ebyo, si mu bigambo amagezi g'abantu bye gayigiriza, wabula Omwoyo by'ayigiriza; bwe tugeraageranya eby'omwoyo n'eby'omwoyo. |
|
| 14 |
|
| Naye omuntu ow'omukka obukka takkiriza bya Mwoyo gwa Katonda, kubanga bya busirusiru gy'ali; era tayinza kubitegeera, kubanga bikeberwa na mwoyo. |
|
| 15 |
|
| Naye omuntu ow'Omwoyo akebera byonna, naye ye yennyini takeberwa muntu yenna. |
|
| 16 |
|
| Kubanga, “ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama waffe, alyoke amuyigirize?” Naye ffe tulina endowooza ya Kristo. |
|
|
|
|