|
| 1 |
|
| Nange, ab'oluganda, ssaayinza kwogera nammwe ng'ab'omwoyo, naye ng'ab'omubiri, ng'abaana abawere mu Kristo. |
|
| 2 |
|
| Nnabanywesa mata, so si mmere; kubanga mwali temunnagiyinza: naye era ne kaakano temunnagiyinza; |
|
| 3 |
|
| kubanga mukyali ba mubiri: kubanga mu mmwe nga bwe mukyalimu obuggya n'okuyomba, temuli ba mubiri, era temutambula ng'abantu obuntu? |
|
| 4 |
|
| Kubanga omuntu bw'ayogera nti Nze ndi wa Pawulo; n'omulala nti Nze ndi wa Apolo; nga temuli bantu buntu? |
|
| 5 |
|
| Kale Apolo kye ki? ne Pawulo kye ki? Baweereza buweereza ababakkirizisa; era buli muntu nga Mukama waffe bwe yamuwa. |
|
| 6 |
|
| Nze nnasiga, Apolo n'afukirira; naye Katonda ye yakuza. |
|
| 7 |
|
| Kale bwe kityo asiga si kintu, newakubadde afukirira; wabula Katonda akuza. |
|
| 8 |
|
| Naye asiga n'afukirira bali bumu: naye buli muntu aliweebwa empeera ye ye ng'omulimu gwe ye bwe guliba. |
|
| 9 |
|
| Kubanga Katonda tuli bakozi banne: muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda. |
|
| 10 |
|
| Ng'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa, ng'omukoza w'abazimbi ow'amagezi n'asima omusingi; n'omulala n'azimbako. Naye buli muntu yeekuumenga bw'azimbako. |
|
| 11 |
|
| Kubanga tewali muntu ayinza kusima musingi mulala wabula ogwo ogwasimibwa, ye Yesu Kristo. |
|
| 12 |
|
| Naye omuntu yenna bw'azimbanga ku musingi ogwo zaabu, ffeeza, amayinja ag'omuwendo omungi, emiti, essubi, ebisasiro; |
|
| 13 |
|
| omulimu ogwa buli muntu gulirabisibwa: kubanga olunaku luli luligwolesa, kubanga gulibikkulirwa mu muliro; n'omuliro gwennyini gulikema omulimu ogwa buli muntu bwe gufaanana. |
|
| 14 |
|
| Omulimu ogwa buli muntu gwe yazimbako bwe gulibeerawo, aliweebwa empeera. |
|
| 15 |
|
| Omulimu ogwa buli muntu bwe gulyokebwa, alifiirwa; naye ye yennyini alirokoka; naye bw'ati, kuyita mu muliro. |
|
| 16 |
|
| Temumaayi nga muli yeekaalu ya Katonda, era nga Omwoyo gwa Katonda abeera mu mmwe? |
|
| 17 |
|
| Omuntu yenna bw'azikirizanga yeekaalu ya Katonda, Katonda alimuzikiriza oyo; kubanga yeekaalu ya Katonda ntukuvu: ye mmwe: |
|
| 18 |
|
| Omuntu yenna teyeerimbanga; Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino, afuukenga musirusiru, alyoke afuuke omugezi. |
|
| 19 |
|
| Kubanga amagezi ag'omu nsi muno bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa ati Akwasa abagezi enkwe zaabwe: |
|
| 20 |
|
| era nate nti Mukama ategeera empaka ez'abagezi nga teziriimu. |
|
| 21 |
|
| Omuntu yenna kyavanga alema okwenyumiriza mu bantu. Kubanga byonna byammwe; |
|
| 22 |
|
| oba Pawulo, oba Apolo, oba Keefa, oba ensi, oba obulamu, oba okufa, oba ebiriwo, oba ebigenda okubaawo; byonna byammwe; |
|
| 23 |
|
| nammwe muli ba Kristo; ne Kristo wa Katonda. |
|
|
|
|