|
| 1 |
|
| Kale abooluganda, ssaasobola kwogera nammwe ng'abafugibwa omwoyo, naye nayogera nammwe ng'abantu abafugibwa omubiri, abakyali abato mu Kristo. |
|
| 2 |
|
| Nabanywesa mata, ssaabaliisa mmere, kubanga mwali temunnagisobola. Era ne kaakano temunnagisobola, |
|
| 3 |
|
| kubanga mukyafugibwa mubiri. Kale obuggya n'okuyombagana bwe bibeera mu mmwe, olwo nga temufugibwa mubiri, era nga n'empisa zammwe si za bantu buntu? |
|
| 4 |
|
| Kale omu mu mmwe bw'agamba nti: “Nze ndi wa Pawulo,” n'omulala nti: “Nze ndi wa Apollo,” olwo temuba ng'abantu obuntu? |
|
| 5 |
|
| Kale Apollo ye ani? Ye Pawulo ye ani? Si baweereza buweereza abaabaleetera okukkiriza, nga Mukama bwe yawa buli omu? |
|
| 6 |
|
| Nze nasiga, Apollo n'afukirira, kyokka Katonda ye yakuza. |
|
| 7 |
|
| Oyo asiga, n'oyo afukirira si be bakulu, wabula Katonda akuza. |
|
| 8 |
|
| Oyo asiga, n'oyo afukirira, bonna benkana, era buli omu aliweebwa empeera ye, okusinziira ku mulimu gwe yakola, |
|
| 9 |
|
| kubanga ffe tuli bakozi, abakolera awamu ne Katonda. Mmwe muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda. |
|
| 10 |
|
| Nakola omulimu gw'omuzimbi omukugu, nga nsinziira ku kisa Katonda kye yankwatirwa, ne nteekawo omusingi, n'omuzimbi omulala kw'azimbira. Kyokka buli aguzimbirako yeegenderezenga, |
|
| 11 |
|
| kubanga Yesu Kristo yateekebwawo, nga gwe musingi gwokka, era tewali ayinza kuteekawo musingi mulala. |
|
| 12 |
|
| Kale ku musingi ogwo, omuntu bw'azimbisaako zaabu, ffeeza, amayinja ag'omuwendo, emiti, essubi, ebisasiro – |
|
| 13 |
|
| omulimu gwa buli omu gulirabibwa. Olunaku Mukama lw'alisalirako omusango lwe luligwoleka, kubanga lulikya na muliro. Era omuliro ogwo gwe gulyoleka omulimu gwa buli omu nga bwe gufaanana. |
|
| 14 |
|
| Omuntu kye yazimba ku musingi ogwo bwe kirisigalawo, aliweebwa empeera. |
|
| 15 |
|
| Naye bwe kiryokebwa, alikifiirwa. Wabula ye yennyini alirokolebwa, kyokka ng'ali ng'ayise mu muliro. |
|
| 16 |
|
| Temumanyi nga muli ssinzizo lya Katonda, era nga Mwoyo wa Katonda abeera mu mmwe? |
|
| 17 |
|
| Kale omuntu bw'azikiriza essinzizo lya Katonda, omuntu oyo alizikirizibwa Katonda, kubanga essinzizo lya Katonda ttukuvu, era essinzizo eryo ye mmwe. |
|
| 18 |
|
| Waleme kubaawo yeerimba. Bwe wabaawo mu mmwe eyeerowooza okuba omugezi mu by'ensi, afuukenga musiru, lw'aliba omugezi, |
|
| 19 |
|
| kubanga amagezi g'ensi, buba busirusiru mu maaso ga Katonda. Kyawandiikibwa nti: “Katonda akwatira abagezi mu bugezigezi bwabwe.” |
|
| 20 |
|
| Era kyawandiikibwa nti: “Mukama amanyi nti ebirowoozo by'abagezi tebiriimu nsa.” |
|
| 21 |
|
| Kale mulemenga kwenyumiririza mu bantu, kubanga byonna byammwe. |
|
| 22 |
|
| Oba Pawulo, oba Apollo, oba Keefa, oba ensi, oba obulamu, oba okufa, oba ebiriwo, oba ebigenda okubaawo, byonna byammwe. |
|
| 23 |
|
| Mmwe muli ba Kristo, ate Kristo wa Katonda. |
|
|
|
|