|
| 1 |
|
| Nange nno, abooluganda, saayogera nammwe ng'abantu aba Mwoyo, wabula ng'abantu obuntu, abakyali abato mu Kristu. |
|
| 2 |
|
| Nabagabiriranga mata, sso si mmere eŋŋumu, kubanga mwali temunnagisobola. Na kati temunnagisobola, |
|
| 3 |
|
| era mukyali ba mubiri. Nga mu mmwe mukyalimu okukwatiragana obuggya n'obugulumbo, muba temukyali ba mubiri, nga mweyisa ng'abantu aba bulijjo? |
|
| 4 |
|
| Kubanga oli amala okuwoza: “Nze ndi wa Pawulo,” omulala nti: “Nze ndi wa Apollo,” olwo temuli bantu buntu? |
|
| 5 |
|
| Apollo kye ki? Pawulo kye ki? Baweereza buweereza mwe mwayita okukkiriza buli omu ng'Omukama bwe yamuwa. |
|
| 6 |
|
| Nze nasimba, Apollo n'afukirira, naye Katonda ye yawa okukula. |
|
| 7 |
|
| Asimba n'afukirira bo si ba nsonga, wabula Katonda, awa okukula. |
|
| 8 |
|
| Asimba n'afukirira bonna kye kimu; buli omu alifuna empeera okusinziira ku mulimu gwe yakola. |
|
| 9 |
|
| Ffe tuli bakozi abayamba ku Katonda, mmwe muli nnimiro ya Mukama, kizimbe kye. |
|
| 10 |
|
| Olw'eneema Katonda gye yampa nassaawo omusingi, okufaanana ng'omuzimbi omukugu bw'akola, okwo omulala kw'azimbira. Buli omu yeegendereze bw'aguzimbirako. |
|
| 11 |
|
| Kubanga tewali asobola kuteekawo musingi mulala wabula ogwo ogwassibwawo, ye Yezu Kristu. |
|
| 12 |
|
| Singa ku musingi ogwo oli azimbirako ne zaabu, ffeeza, amayinja ag'omuwendo, embaawo, essubi, ebisusunku… |
|
| 13 |
|
| buli mulimu gwa kinnoomu gulyolekebwa, kubanga olunaku lw'Omukama luligulaga; anti gulyolekebwa n'omuliro; omuliro guligeza buli kika kya mulimu gwa kinnoomu. |
|
| 14 |
|
| Omulimu oli gwe yazimbako bwe gulisigalawo, alifuna empeera; |
|
| 15 |
|
| singa omulimu gw'oli gulisirikka, alifiirwa, nandibadde nga ye yennyini aliwonyezebwa; naye kyenkana aliba ng'ayise mu muliro. |
|
| 16 |
|
| Temumanyi nga muli kiggwa kya Katonda, nga ne Mwoyo wa Katonda asula mu mmwe? |
|
| 17 |
|
| Oli bw'alizikiriza ekiggwa kya Katonda, ne Katonda alimuzikiriza; kubanga ekiggwa kya Katonda kintu kitukuvu, ate ekiggwa ekyo ye mmwe. |
|
| 18 |
|
| Wabulewo eyeerimba; oba mu mmwe mulimu alowooza nti mugezi mu mulembe guno, afuuke musiru, alyoke afuuke omugezi. |
|
| 19 |
|
| Kubanga mu maaso ga Katonda, amagezi g'ensi eno buba busiru. Anti kyawandiikibwa nti: “Akwatira abagezi mu bukujjukujju bwabwe,” |
|
| 20 |
|
| n'awalala nti: “Omukama amanyi ebirowoozo by'abagezi, nti temuli kantu.” |
|
| 21 |
|
| Awo nno muleme kwetendera mu bantu. Anti byonna byammwe, |
|
| 22 |
|
| abeere Pawulo, oba Apollo, oba Kefa, oba ensi, oba obulamu, oba okufa, oba kati, oba gye bujja; ebyo byonna byammwe; |
|
| 23 |
|
| nammwe muli ba Kristu; ne Kristu wa Katonda. |
|
|
|
|