|
| 1 |
|
| Nange abooluganda ssaasobola kwogera nammwe ng’ab’omwoyo, naye nayogera nammwe ng’ab’omubiri era ng’abaana abawere mu Kristo. |
|
| 2 |
|
| Nabanywesa mata so si mmere enkalubo, kubanga mwali temunnagisobola. Naye era ne kaakano temunnagisobola, |
|
| 3 |
|
| kubanga mukyafugibwa mubiri. Naye obanga mukyalimu obuggya n’ennyombo, temufugibwa mubiri era temutambula ng’abalina empisa z’abantu obuntu? |
|
| 4 |
|
| Kubanga omuntu yenna bw’agamba nti, “Nze ndi wa Pawulo,” n’omulala nti, “Nze ndi wa Apolo,” olwo temuba ng’abantu obuntu? |
|
| 5 |
|
| Kale Apolo ye ani? Ne Pawulo ye ani? Baweereza buweereza ababakkirizisa, nga Mukama bwe yawa buli omu. |
|
| 6 |
|
| Nze nasiga, Apolo n’afukirira, kyokka Katonda ye yakuza. |
|
| 7 |
|
| Kale bwe kityo oyo asiga n’oyo afukirira si be bakulu wabula Katonda akuza. |
|
| 8 |
|
| Oyo asiga kaakano n’oyo afukirira bali bumu, era buli omu aliweebwa empeera ye okusinziira ku mulimu gw’aliba akoze. |
|
| 9 |
|
| Kubanga ffe tuli bakozi abakolera awamu ne Katonda, ate mmwe muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda. |
|
| 10 |
|
| Okusinziira ku kisa kya Katonda ekya mpeebwa, ng’omuzimbi ow’amagezi, nazimba omusingi, kaakano omulala aguzimbako. Naye buli aguzimbako yeegenderezenga bw’aguzimbako. |
|
| 11 |
|
| Kubanga tewali n’omu ayinza kuteekawo musingi mulala okuggyako ogwo ogwateekebwawo, ye Yesu Kristo. |
|
| 12 |
|
| Naye Omuntu bw’aguzimbisaako ezaabu, effeeza, n’amayinja ag’omuwendo n’emiti, n’essubi, oba ebisasiro; |
|
| 13 |
|
| omulimu gwa buli omu gulirabibwa, kubanga omuliro guligwolesa ku lunaku olwo, era omuliro ogwo gwe gulyoreka omulimu gwa buli omu nga bwe guli. |
|
| 14 |
|
| Omuntu kye yazimba ku musingi ogwo bwe kirisigalawo, aliweebwa empeera. |
|
| 15 |
|
| Naye omulimu gw’omuntu yenna bwe gulyokebwa omuliro, alifiirwa, kyokka ye yennyini alirokolebwa, naye ng’ayita mu muliro. |
|
| 16 |
|
| Temumanyi nti mmwe muli yeekaalu ya Katonda era nga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe? |
|
| 17 |
|
| Omuntu yenna azikiriza Yeekaalu ya Katonda, Katonda alizikiriza omuntu oyo; kubanga Yeekaalu ya Katonda ntukuvu, ye mmwe. |
|
| 18 |
|
| Omuntu yenna teyeerimbalimbanga; omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino afuukenga musirusiru alyoke abeere omugezi. |
|
| 19 |
|
| Kubanga amagezi ag’ensi eno, bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti, “Akwatira abagezi mu nkwe zaabwe.” |
|
| 20 |
|
| Era kyawandiikibwa nti, “Mukama amanyi ng’ebirowoozo by’abagezi temuli nsa.” |
|
| 21 |
|
| Noolwekyo waleme kubaawo muntu n’omu yeenyumiririza mu bantu, kubanga byonna byammwe, |
|
| 22 |
|
| oba Pawulo oba Apolo oba Keefa oba nsi, oba bulamu, oba kufa, oba bintu ebya kaakano, oba ebijja, byonna byammwe, |
|
| 23 |
|
| nammwe muli ba Kristo, ne Kristo wa Katonda. |
|
|
|
|