|
| 1 |
|
| Nange, ab'oluganda, ssaayinza kwogera nammwe ng'ab'omwoyo, naye ng'ab'omubiri, ng'abaana abawere mu Kristo. |
|
| 2 |
|
| Nnabanywesa mata, so si mmere; kubanga mwali temunnagiyinza; naye era ne kaakano temunnagiyinza; |
|
| 3 |
|
| kubanga mukyali ba mubiri, kubanga mu mmwe nga bwe mukyalimu obuggya n'okuyomba, temuli ba mubiri, era temutambula ng'abantu obuntu? |
|
| 4 |
|
| Kubanga omuntu bw'ayogera nti, “Nze ndi wa Pawulo;” n'omulala nti, “Nze ndi wa Apolo;” nga temuli bantu buntu? |
|
| 5 |
|
| Kale Apolo kye ki? ne Pawulo kye ki? Baweereza buweereza ababakkirizisa; era buli muntu nga Mukama waffe bwe yamuwa. |
|
| 6 |
|
| Nze nnasiga, Apolo n'afukirira; naye Katonda ye yakuza. |
|
| 7 |
|
| Kale bwe kityo asiga si kintu, newakubadde afukirira; wabula Katonda akuza. |
|
| 8 |
|
| Naye asiga n'afukirira benkanankana, naye buli muntu aliweebwa empeera okusinziira ku mulimu gw'aliba yakola. |
|
| 9 |
|
| Kubanga ffe tukolera wamu ne Katonda, ate mmwe muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda. |
|
| 10 |
|
| Ng'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa, ng'omuzimbi omukugu ow'amagezi n'asima omusingi, naye kaakano omulala aguzimbako. Naye buli muntu yeegenderezenga bw'aguzimbako. |
|
| 11 |
|
| Kubanga tewali muntu ayinza kuteekawo musingi mulala wabula ogwo ogwateekebwawo, ye Yesu Kristo. |
|
| 12 |
|
| Naye omuntu yenna bw'azimbanga ku musingi ogwo zaabu, ffeeza, amayinja ag'omuwendo omungi, emiti, essubi, ebisasiro; |
|
| 13 |
|
| omulimu ogwa buli muntu gulirabibwa, kubanga ku lunaku luli omuliro guligwolesa, n'omuliro gwennyini gulikema omulimu ogwa buli muntu bwe gufaanana. |
|
| 14 |
|
| Omulimu ogwa buli muntu gwe yazimbako bwe gulisigalawo, aliweebwa empeera. |
|
| 15 |
|
| Omulimu ogwa buli muntu bwe gulyokebwa, alifiirwa; naye ye yennyini alirokoka; naye bw'ati, kuyita mu muliro. |
|
| 16 |
|
| Temumanyi nga muli Yeekaalu ya Katonda, era nga Omwoyo gwa Katonda abeera mu mmwe? |
|
| 17 |
|
| Omuntu yenna bw'azikirizanga Yeekaalu ya Katonda, Katonda alimuzikiriza oyo; kubanga Yeekaalu ya Katonda ntukuvu: ye mmwe. |
|
| 18 |
|
| Omuntu yenna teyeerimbanga. Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino, afuukenga musirusiru, alyoke afuuke omugezi. |
|
| 19 |
|
| Kubanga amagezi ag'omu nsi muno bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti, “Akwatira abagezi mu nkwe zaabwe.” |
|
| 20 |
|
| Era nate nti Mukama ategeera empaka ez'abagezi nga teziriimu. |
|
| 21 |
|
| Omuntu yenna kyavanga alema okwenyumiriza mu bantu. Kubanga byonna byammwe; |
|
| 22 |
|
| oba Pawulo, oba Apolo, oba Keefa, oba ensi, oba obulamu, oba okufa, oba ebiriwo, oba ebigenda okubaawo; byonna byammwe; |
|
| 23 |
|
| nammwe muli ba Kristo; ne Kristo wa Katonda. |
|
|
|
|