|
| 1 |
|
| Omuntu yenna ku mmwe bw'aba n'ekigambo ku munne, ayaŋŋanga okuwoleza ensonga abatali batuukirivu, so si eri abatukuvu? |
|
| 2 |
|
| Oba temumanyi ng'abatukuvu be balisalira ensi omusango? era oba ng'ensi mmwe muligisalira omusango, temusaanira kusala nsonga entono ennyo. |
|
| 3 |
|
| Temumanyi nga tulisalira bamalayika omusango? tulirema tutya okusala emisango egy'omu bulamu buno? |
|
| 4 |
|
| Kale bwe muba n'okusala emisango egy'omu bulamu buno, abanyoomebwa mu kkanisa abo be muteekawo? |
|
| 5 |
|
| Njogedde kubakwasa nsonyi. Kiri bwe kityo nti mu mmwe temuyinza kuzuuka muntu mugezi, ayinza okusalira baganda be ensonga, |
|
| 6 |
|
| naye ow'oluganda awoze n'ow'oluganda, era ne mu maaso gaabo abatali bakkiriza? |
|
| 7 |
|
| Naye era bwe mutyo mumaze okubaako akabi, kubanga mulina emisango mwekka na mwekka. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga? |
|
| 8 |
|
| Naye mmwe mwennyini mukola bubi, mulyazaamaanya, era n'ab'oluganda. |
|
| 9 |
|
| Oba temumanyi ng'abatali batuukirivu tebalisikira bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga: newakubadde abakaba, newakubadde abasinza ebifaananyi, newakubadde abenzi, newakubadde abafuuka abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga, |
|
| 10 |
|
| newakubadde ababbi, newakubadde abeegombi, newakubadde abatamiivu, newakubadde abavumi, newakubadde abanyazi, tebalisikira bwakabaka bwa Katonda. |
|
| 11 |
|
| Era abamu ku mnwe mwali ng'abo: naye mwanaazibwa, naye mwatukuzibwa, naye mwaweebwa obutuukirivu olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'Omwoyo gwa Katonda waffe. |
|
| 12 |
|
| Byonna birungi gye ndi; naye byonna tebinsaanira. Byonna birungi gye ndi; naye nze sigenda kufugibwanga kyonna kyonna. |
|
| 13 |
|
| Eby'okulya bya lubuto, n'olubuto lwa bya kulya: naye Katonda alibiggyawo byombiriri. Naye omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama waffe; ne Mukama waffe avunaana omubiri: |
|
| 14 |
|
| era Katonda yazuukiza Mukama waffe, era naffe alituzuukiza olw'amaanyi ge. |
|
| 15 |
|
| Temumanyi ng'emibiri gyammwe bye bitundu bya Kristo? kale nzirirenga ebitundu bya Kristo mbifuule bitundu by'omwenzi? Kitalo. |
|
| 16 |
|
| Oba temumanyi ng'eyeegatta n'omwenzi gwe mubiri gumu? kubanga ayogera nti Bombiriri banaabeeraaga omubiri gumu. |
|
| 17 |
|
| Naye eyeegatta ne Mukama waffe gwe mwoyo gumu. |
|
| 18 |
|
| Mwewalenga obwenzi. Buli kibi kyonna omuntu ky'akola kiri kungulu ku mubiri; naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye: |
|
| 19 |
|
| Oba temumanyi ng'omubiri gwammwe ye yeekaalu y'Omwoyo Omutukuvu ali mu mmwe, gwe mulina eyava eri Katonda? nammwe temuli ku bwammwe; |
|
| 20 |
|
| kubanga mwagulibwa na muwendo: kale mugulumizenga Katonda mu mubiri gwammwe. |
|
|
|
|