Luganda Bible
|
| 1 |
| Naye ku ebyo ebiweebwa eri ebifaananyi: tumanyi nga tulina fenna okutegeera. Okutegeera kwegulumizisa, naye okwagala kuzimba. |
| 2 |
| Omuntu bw'alowoozanga ng'aliko ky'ategedde, nga tannategeera nga bwe kimugwanira okutegeera; |
| 3 |
| naye omuntu bw'ayagala Katonda, oyo ategeerwa ye. |
| 4 |
| Kale ku kulyanga ebiweebwa eri ebifaananyi, tumanyi ng'ekifaananyi si kintu mu nsi, era nga tewali Katonda omulala wabula omu. |
| 5 |
| Kuba newakubadde nga waliwo abayitibwa bakatonda, oba mu ggulu, oba mu nsi; nga bwe waliwo bakatonda abangi n'abaami abangi; |
| 6 |
| naye gye tuli waliwo Katonda omu, Kitaffe, omuva byonna, naffe tuli ku bw'oyo; ne Mukama waffe omu, Yesu Kristo, abeesaawo byonna, era atubeesaawo ffe: |
| 7 |
| Naye okutegeera okwo tekuli mu bantu bonna: naye abalala, kubanga baamanyiira ebifaananyi okutuusa kaakano, balya ng'ekiweereddwa eri ekifaananyi; n'omwoyo gwabwe, kubanga munafu, gubeera n'empitambi. |
| 8 |
| Naye ekyokulya tekitusiimisa eri Katonda: era bwe tutalya tetuweebuuka: era bwe tulya tetweyongerako. |
| 9 |
| Naye mwekuumenga mpozzi obuyinza bwammwe obwo bulemenga okuba enkonge eri abanafu. |
| 10 |
| Kubanga omuntu bw'akulaba ggwe alina okutegeera ng'otudde ku mmere mu ssabo ly'ekifaananyi; omwoyo gw'oyo, bw'aba nga munafu, teguliguma kulya ebiweebwa eri ebifaananyi? |
| 11 |
| Kubanga omunafu abula olw'okutegeera kwo, ow'oluganda Kristo gwe yafiirira. |
| 12 |
| Era bwe kityo, bwe mwonoonanga ab'oluganda era ne mufumita omwoyo gwabwe, bwe guba nga munafu, nga mwonoona Kristo. |
| 13 |
| Kale, oba ng'ekyokulya kyesittaza muganda wange, siiryenga nnyama emirembe gyonna, nnemenga okwesittaza muganda wange. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/1corinthians/008.mp3
16
8