|
| 1 |
|
| Naye ku ebyo ebiweebwa eri ebifaananyi: tumanyi nga “tulina fenna okutegeera.” Okutegeera kuleeta okwekulumbaza, naye okwagala kuzimba. |
|
| 2 |
|
| Omuntu bw'alowoozanga ng'aliko ky'ategedde, aba tannategeera nga bwe kimugwanira okutegeera; |
|
| 3 |
|
| naye omuntu bw'ayagala Katonda, amanyibwa Katonda. |
|
| 4 |
|
| Kale ku kulyanga ebiweebwa eri ebifaananyi, tumanyi nti “ng'ekifaananyi si kintu mu nsi,” era nga“ tewali Katonda mulala wabula omu.” |
|
| 5 |
|
| Kuba newakubadde nga waliwo abayitibwa bakatonda, oba mu ggulu, oba mu nsi; nga bwe waliwo“ bakatonda” abangi “n'abaami” abangi; |
|
| 6 |
|
| naye gyetuli waliwo Katonda omu, Kitaffe, omuva byonna, naffe tuli ku bw'oyo; ne Mukama waffe omu, Yesu Kristo, abeesaawo byonna, era atubeesaawo ffe. |
|
| 7 |
|
| Naye okutegeera okwo tekuli mu bantu bonna: naye abalala, kubanga baamanyiira ebifaananyi okutuusa kaakano, balya ekiweereddwa eri ekifaananyi, kubanga omwoyo gwabwe munafu, gusigala mu kwonoona. |
|
| 8 |
|
| Naye eky'okulya tekitusiimisa eri Katonda, era bwe tutalya tetulina kye tusubwa, era bwe tulya tetulina kyetweyongerako. |
|
| 9 |
|
| Naye mwekuumenga eddembe lyammwe lireme okufuuka enkonge eri abanafu. |
|
| 10 |
|
| Kubanga omuntu omunafu bw'akulaba ggwe alina okutegeera ng'otudde ku mmere mu ssabo ly'ekifaananyi olya, omwoyo gwe bwe guba omunafu, teguliguma kulya ebiweebwa eri ebifaananyi? |
|
| 11 |
|
| Kale ow'oluganda oyo omunafu, Kristo gwe yafiirira, abula olw'okutegeera kwo. |
|
| 12 |
|
| Era bwe kityo, bwe mwonoonanga ab'oluganda, era ne mufumita omwoyo gwabwe, bwe guba nga munafu, nga mwonoona Kristo. |
|
| 13 |
|
| Kale, oba ng'eky'okulya kyesittaza muganda wange, siiryenga nnyama emirembe gyonna, nnemenga okwesittaza muganda wange. |
|
|
|
|